TOP

Bakutte Omutabbuliiki ku by'okutta Kirumira

Added 19th September 2018

Omutabbuliiki ku muzikiti gw’e Nakasero akwatiddwa ebitongole by’Ebyokwerinda nga kigambibwa nti yali ku by’okutta Muhammad Kirumira.

 Mayengo (mu ssaati enzirugavu) oluvannyuma lwa poliisi okumutaasa ku batuuze b’e Bulenga.

Mayengo (mu ssaati enzirugavu) oluvannyuma lwa poliisi okumutaasa ku batuuze b’e Bulenga.

Ahmed Kamada Ssebuufu yakwatiddwa okuva mu maka ge e Mutundwe mu Munisipaali y’e Lubaga ku Ssande.

Yakwatiddwa abaserikale abapoliisi, ISO ne CMI era baasoose kweyanjula ku poliisi y’e Mutundwe.

Kirumira yatemuddwa ku Lwomukaaga nga September 8, e Bulenga ku lw’e Mityana. Yattiddwa n’omuwala Resty Naalinya Mbabazi.

Ensonda zaategeezezza nti bambega bazze balondoola obujulizi ne sitatimenti ezikoleddwa abantu abenjawulo okuli mikwano gya Kirumira n’abalala b’azze abuulira bw’ali mu kutya nti ekiseera kyonna bayinza okumutta.

Kyategeezeddwa nti amawulire ge baafunye baagalondodde ne gabaako be gasongako ku muzikiti e Nakasero.

Baayongedde okubuuliriza ne balondoola amawulire ne gabatuusa e Mutundwe ku Ssebuufu gwe baakakasizza nti asaalira Nakasero.

Mukazi we yakakasizza okukwatibwa kwa bba n’agamba nti abaserikale baabalumba kiro ku Ssande ne bamusika mu buliri nga bwe bamugamba nti bamukutte ku bya kutta Kirumira.

Yayongeddeko nti baagenze okumutuusa mu luggya nga kabangali ya poliisi emulinze ne bamuteekako ne bamutwala.

Poliisi y’e Mutundwe yategeezezza nti bambega baagyeyanjulidde era ne bawandiika mu kitabo okukakasa nti be batutte Ssebuufu.

Okuva ku Ssande, famire ye tennamuwuliza wadde okumanya gy’ali. Eggulo abafamire baagenze ku CPS ne bawaayo okwemulugunya ku kukwatibwa kw’omuntu waabwe. Kyokka poliisi yabasindise mu CMI.

BAMUKUTTE NE PISITO WE BATTIRA KIRUMIRA

Mu kiseera kye kimu waliwo omusajja eyasimattuse okuttibwa eggulo, e Bulenga mu kifo kyennyini we baatemulira Kirumira. Yabadde mu mmotoka enzirugavu ng’eriko ennamba z’ebweru.

Yagisimbye we battira Kirumira, abantu ne bakuhhaana. Baagenze okumwetegereza ng’alina pisito ne bamutabukira.

Wakati mu kumukaza nga baleekaanira waggulu nti “wuuno eyatta Kirumira” nga nabo baagala okumukolako, waliwo abaakubidde poliisi essimu eyasitukiddemu.

Omusajja baamukutte ne bamwaza ne bamuggyako pisito. Baamututte ku poliisi e Bulenga gye yategeerezza nti emmotoka yabadde emufuddeko.

Kyokka baamusanze n’ennamba z’emmotoka endala ze yagambye nti emmotoka bwe yamufuddeeko n’aziggyako. Poliisi ekyabuuliriza.

Kyokka kyategeezeddwa nti ye Francis Mayengo era musuubuzi. Emmundu eno yategeezezza nti yagifuna mu butuufu.

Yennyonnyoddeko nti musuubuzi wa sipeeya w’emmotoka e Lubowa ku lw’e Ntebe okumpi ne Roofings. Mu kiseera kye kimu makanika.

Yakoze sitatimenti ku mmundu n’ennamba za mmotoka. Mu maaso kwabaddeko nnamba z’ebweru 50 90-50; ate emabega nga waliyo 50 10 -29 nga tezifaanagana.

Ate munda mu mmotoka mwabaddemu UAB 368J ne kaadi za mmotoka ezenjawulo.

RDC w’e Wakiso Maj David Matovu ng’ali ne DISO bazze ne beekebejja emmotoka. Oluvannyuma nayo baagitutte ku poliisi e Bulenga ng’okunoonyereza bwe kugenda mu maaso.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ensujju ezibadibiridde.

Bbeeyi y'ensujju esattiza a...

ABALIMI n'abasuubuzi b'ensujju batabuddwa oluvannyuma lw'akatale okubeera akatono ddala ate nga bazirina mu bungi....

Gen.Tumukunde asiimye abaga...

ABADDE avuganya ku bwapulezidenti mu kalulu akaakaggwa, munnamagye eyawummula, Lt. Gen Henry Tumukunde agambye...

Abavubuka nga beetisse omulabo gwa munnaabwe okugwetoolooza tawuni y’e Kiyunga.

Owa NUP eyattibwa aziikiddwa

ABANTU bangi beetabye mu kuziika omuvubuka Rogers Ssemakula 25, eyali ow’ekibiina kya NUP, eyabuzibwaawo abantu...

Omuyimbi Geosteady asiramuse

OMUYIMBI Geosteady ng'amanya amatuufu ye George Kigozi asiraamuse kati ye Hassan Kigozi era ne bamutooza ne Shahaduh...

Rebecca Kadaga awadde Gavum...

SIPIIKA wa Palamenti Rebeeca Kadaga awadde gavumenti amagezi okwongera amaanyi mu bamusiga nsimbi enzalwa eza wano...