TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omubaka gwe yazaalamu omwana n'agaana okumuwa obuyambi g'akaaba g'akomba

Omubaka gwe yazaalamu omwana n'agaana okumuwa obuyambi g'akaaba g'akomba

Added 20th September 2018

Omubaka wa palamenti agaanye okuwa obuyambi omuwala gwe yaggya mu bbaala n’amuzaalamu omwana-yeekubidde enduulu ewa sipiika Kadaga.

 Ainambabazi n'omwana ku kkooti ku Lwokusatu. Ku ddyo, ye Gideon Onyango omubaka wa Samia Bugwe North mu palamenti eyagaana okulabirira omwana gwe yazaala mu muwala.

Ainambabazi n'omwana ku kkooti ku Lwokusatu. Ku ddyo, ye Gideon Onyango omubaka wa Samia Bugwe North mu palamenti eyagaana okulabirira omwana gwe yazaala mu muwala.

Omuwala Juliana Ainambabazi (30) ensi emufundiridde omubaka wa palamenti eyamuganza okuva mu bbaala emu mwe yali akola e Mukono n’atuuka n’okumuzaalamu omwana ate bwe yagaana okumuwa obuyambi nga kati omwana awezezza omwaka gumu n’ekitundu.

Ainambabazi alumiriza omubaka w’essaza lya Samia Bugwe North, Gideon Onyango okumuganza okumala ebbanga lya myaka 5 n’atuuka okumuzaalira omwana omuwala kyokka bwe yaweza emyezi 9 n’amumuwambako nga n’okuyonka akyayonka kye yawakanya era n’addukira ku poliisi eyamuwaliriza okumumuddiza.

“Onyango yankwana nga nkola mu bbaala eriko n’ekirabo ky’emmere mu kibuga ky’e Mukono ne twagalana okumala emyaka mingi. Mu kiseera ng’amaze okunfunisa olubuto yagenda e Busia okunoonya akalulu ka palamenti era bwe yava mu kampeyini ng’akomyewo ne mmutegeeza nga bwe nnali ndi olubuto lwe n’alwegaana.

Bwe nnazaala, yaggya ne yeekebejja omwana okuva ku kaviiri ku mutwe okutuuka ku kagere akasembayo era n’afundikira ng’anzigye mu kazigo ke nnali mbeeramu e Mukono n’antwala e Bweyogerere n’ampangisirizza n’ennyumba ya mitwalo 40.

Ainambabazi n'omwana ku kkooti ng'amaziga gamuyitamu olw'ennaku omubaka Onyango gy'amulabizza.

Bwe waayita emyezi mwenda, y’ajja n’omusirikale ewaka mu kiro ssaawa 7:00 n’anteeka ku mpingu olwo n’atwala omwana, omusirikale n’ansumulula naye n’agenda.

Natya nnyo nga n’ekikolwa ekyali kikoleddwa kinneewunyisa n’ebigendererwa ebyali biwambisizza omwana nga sibitegeera kuba yali akyali muto nga n’okuyonza akyayonka. Naddukira ku poliisi y’e Bweyogerere mu kiro ekyo wabula ne bansaba nsooke nzire ewaka okutuusa ng’obudde bukedde nzireyo nkole siteetimenti.

Wabula enkeera ku Lwokutaano nazirika ne banzirusa mu ddwaliro nga simanyi bigenda mu maaso ku nsi. Nadda engulu ku Ssande era ku Mmande ne nzira ku poliisi okubuuza we baali batuuse n’okunoonya Onyango n’omwana wange.

Mba ndi ewaka nga December 14, 2017, ne bampita ku poliisi ya CPS e Kampala ne banziriza omwana. Okuva kw’olwo n’okutuusa olwaleero Onyango taddangamu kumpa buyambi bwa mwana.

Nga wayise emyezi esatu nga tatuwuliza, namukubira amasimu naye nga tagakwata. Mu mwezi gw’okutaano omwaka guno, nnamulemerako ng’ankuba essimu ye nga takwata ne mmuweereza mmessegi oluvannyuma n’akuba.

Wabula namutegeeza nti nze maama w’omwanawe naye n’anneegaana nti n’omwana yali tamumanyi. Nagendanga mmukubira era lumu n’ansuubiza okumpeereza emitwalo 40 naye teyaziweereza n’okutuuka kati.

 Ainambabazi ng'ali ku kkooti bimusobedde.

Mu mwezi gw’omukaaga bwe nnamukubira yannyombesa n’andabula nneesonyiwe essimu ye era n’ampemula awo we nasalirawo okugenda ku poliisi y’e Mukono ne mmuwawaabira nga njagala awalirizibwe alabire omwanawe.

Kyokka poliisi yamuyita enfunda eziwera teyalinnyayo. Bwe nnalemera ku poliisi ne bansidika eri ekitongole ekikola ku nsonga z’amaka n’abaana ku disitulikiti nga n’eno Onyango baamyita yagaana era ne bansindika mu kkooti.

Omusango gwasooka okuwulirwa mu maaso g’omulamuzi w’eddaala erisooka Pamela Bwomukama naye nayo teyalabikako. Ate kye yakola kwe kugenda mu kkooti e Busia n’aggulawo omusango ng’ayagala mmuwe omwana.

Kaakati looyawe ku Lwokusatu mu kkooti y’omulamuzi Bwomukama yategeezezza nti emisango giri ebiri egifaanagana mu kkooti bbiri okuli ey’e Mukono n’e Busia nti era kkooti y’e Busia yali eyisizza ekiwandiiko ng’ennetaaga ngendeyo wadde nga nze mbadde sifunanga kiwandiiko kyonna,” Ainambabazi bwe yannyonnyodde.

Looya eyagaanye okwogera amannya eri omusasi yasabye kkooti okuyimiriza omusango nti Ayinambabazi yabadde yeetaagibwa mu kkooti e Busia nga 25/9/2018. Omulamuzi Bwomukama naye yakkiriziganyizza ne looya n’asaba Ayinambabazi agende e Busia omusango gwe gye guba guwulirizibwa.

Wadde nga Ayinambabazi yategeezezza kkooti nga b’abeera e Mukono nga n’omubaka Onyango alina amaka e Mukono wadde nga mubaka akiikirira abantu b’e Busia mu palamenti nti era beekwanira Mukono n’okwagalana ne bakukolera Mukono nga n’olwekyo yabadde talina nsonga ate emutwala Busia kuwaaba musango eyo, omulamuzi teyamuwulirizza.

Ainambabazi n'omwana ku kkooti ng'amaziga gamuyitamu olw'ennaku omubaka Onyango gy'amulabizza.

Ayinambabazi kkooti yagifulumye akaaba maziga ng’agamba nti ekisooka kwe kuba nga talina ssente zinaamutwala Busia ng’ebbanga okuva mu December wa 2017 Onyango lwe yagaana okumuwa obuyambi y’atoba okulaba ng’afunira omwana eky’okulya wakati mu buguzi obw’ekitalo.

Yasinzidde wano ne yeekubira omulanga eri sipiika wa palamenti Rebecca Kadaga ne minisita w’Abavubuka n’abaana Florence Nakiwala Kiyingi bamudduukirire asobole okuyambibwa omubaka ave ku by’okwagala okumubbako omwana akyali omuto ekitakkirizibwa mu mateeka wabula awalirizibwe amuwe obuyambi obulabirira omwana.

Mu kwogerako n’omubaka Onyango ku ssimu, yagambye nti ensonga zino akageri gye ziri mu kkooti ye tayinza kuzoogerako ng’amateeka gaba gamukugira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Munnamateeka wa Kyagulanyi, Sseggona (wakati) ng’awayaamu n’omuwandiisi wa NUP, , Lubongoya  (ku ddyo) ku kkooti .

Buubuno obukwakkulizo gavum...

GAVUMENTI eyagala Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) alangirire nti tagenda kwetaba mu bikolwa bya kwekalakaasa...

Abantu nga balwana okutaasa ttaanibboyi eyabadde alaalidde mu byuma.

Ensiitaano y'okutaasa ttani...

POLIISI n'abadduukirize kyabatwalidde essaawa 11nnamba okutaasa ttanibboyi Abdu Sserunjogi ebyuma by'emmotoka gwe...

Loodi Meeya Lukwago.

Lukwago anaakolagana atya n...

MUNNAMATEEKA Erias Lukwago 50 asuubirwa okulayizibwa mu wiiki esooka eya June 2021 okutandika ekisanja ekyokusatu...

Kasasiro asuulibwa mu myala ne gizibikira.

15 beesowoddeyo okugonjoola...

ABEESOWODDEYO 15, banaasobola okumalawo ebizibu ebitawaanya abantu ba Kyengera Town Councli ebiremye Abdul Kiyimba?...

Rogers Mulindwa

'Manifesito ya NRM ebyemiza...

ROGERS MULINDWA - OMWOGEZI WA NRM Nsooka okwebaza bannabyamizannyo olw'obuwagizi era njagala okubagumya nti...