TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bakutte aba UMEME nga bagezaako okubba tulansifooma

Bakutte aba UMEME nga bagezaako okubba tulansifooma

Added 20th September 2018

Habib Kakulu omukozi wa UMEME yakubiddwa omukuumi amasasi mu mukono ekiro ku ssaawa nga 7:00. Bano baggyidde mu mmotoka ya UMEME UAN 832X.

 Abakozi ba UMEME abaakwatiddwa nga bali ku poliisi e Mpigi.

Abakozi ba UMEME abaakwatiddwa nga bali ku poliisi e Mpigi.

ABAKOZI ba UMEME abaabadde babba tulansifooma ekiro, omukuumi abakubyemu amasasi ne galumya omu ababiri ne babakwata poliisi n’ebaggalira.

Habib Kakulu omukozi wa UMEME yakubiddwa omukuumi amasasi mu mukono ekiro ku ssaawa nga 7:00. Bano baggyidde mu mmotoka ya UMEME UAN 832X.

Okusinziira ku poliisi, Kakulu ne banne okuli Francis Kagame ne Edison Mugula baalinnye emiti gy’amasannyalaze e Nsujjuwe mu ggombolola y’e Kiringente mu Mpigi nga bagezaako okubbayo tulansifooma. Baabadde mu byambalo bya kkampuni ya UMEME wabula omukuumi w’ekifo kino n’abalabuukirira n’abalagira okukka wansi. Bwe baavuddeyo ne basalawo okudduka  n’abawereekereza amasasi ne gakwatako omu eyatwalibwa e Mulago ng’ataawa.

Omwogezi wa poliisi mu Katonga, Joseph Musana ategeezezza nti wiiki ewedde abantu abataategeerekeka babba waya z’amasannyalaze mu kitundu kino,  kkampuni ya UMEME n’esalawo okuteekayo omukuumi w’emmundu kyokka kibeewuunyisizza okulaba ng’abakozi ba kkampuni eno bennyini be baakwatiddwa nga bagezaako okubba tulansifooma.

Edison Mugula ne Francis Kagame abaakwatiddwa, eby’okubba tulansifooma baabyegaanyi nti baabadde balina kye batereeza.  Bano bakyakuumirwa mu kaduukulu ka poliisi nga munnaabwe Kakulu bw’ajjanjabibwa oluvannyuma bavunaanibwe ng’okunoonyereza kuwedde.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sosimu Twesiga

Abalima ebikozesebwa mu kus...

ABALIMA ebikozesebwa mu kusogola omwenge balaajanidde gavumenti ne bagisaba okuddiriza ku mateeka g'omuggalo ku...

Rtd. Sgt. Kyazike

Owa UPDF gwe baafera asobeddwa

EYALI omuserikale w'eggye lya UPDF abafere baamulimba okumuguza enju oluvannyuma ne bamwefuulira ne bamukuba kalifoomu...

Museveni

Obuwumbi 11 ez'abasomesa mmye

ABASOMESA balojja ennaku gye bayitamu oluvannyuma lwa ssente pulezdienti ze yawa SACCO yaabwe bwe zabbibwa ne bamusaba...

Aba bodaboda ku siteegi y’e Makerere nga bajjuza obukonge bwa Gabula Ssekukkulu, Ku ddyo ye Donozio Ssempeebwa ssentebe waabwe.

Bukedde bw'agabula tewali a...

ABAVUZI ba bodaboda nabo beegasse ku bantu abalala okukunga bannaabwe okwetaba mu kujjuza akakonge ka Gabula Ssekukkulu...

Pulezidenti Museveni ng’atuuka ku mukolo gw'okukuyega abakulembeze mu Mbale.

Ab'e Mbale basabye Museveni...

MUSEVENI bwe yabadde mu Bugisu baamubuulidde ebintu ebikulu bye baagala akole olwo basobole okumuyiira obululu...