TOP

Amagye gakutte owa Flying Squad ku bya Kirumira

Added 20th September 2018

AMAGYE gakutte omuserikale wa Flying Squad agambibwa okuba mu by’okutemula Afande Muhammad Kirumira.

 Omugenzi Kirumira Muhammad

Omugenzi Kirumira Muhammad

Deus Bamwesigye akolera ku kitebe kya Flying Squad ku CPS, yakwatiddwa ku Lwokubiri ekiro.

Yakwatiddwa n’omuserikale omulala akolera ku poliisi ya Old Kampala. Kigambibwa nti amaka g’obwapulezidenti ge gaalagidde okukwatibwa.

Pulezidenti Museveni yennyini yeenyigidde mu kubuuliriza kuno oluvannyuma lw’okugenda e Bulenga ku lunaku Kirumira lwe yattibwa n’abaako abatuuze abaaliwo ng’obutemu bukolebwa be yatwala e Ntebe ne babaako bye bamubuulira.

Kyategeezeddwa nti ttiimu ya bambega okuva mu maka g’obwapulezidenti nga bano Museveni yabawa ebiragiro okulondoola ensonga eno be baavuddeko okukwatibwa kw’abaserikale abo. Kirumira yakubwa amasasi n’omuwala Resty Naalinya Mbabazi e Bulenga ku Lwomukaaga nga September 8.

Pulezidenti yagenzeeyo ekiro ekyo n’asuubiza okukwata abatemu. Kyokka ensonda zaategeezezza nti eyali omuserikale wa Flying Squad agambibwa nti ye yaluka olukwe lw’okutemula Kirumira ye tannakwatibwa.

Amagye nga gayambibwako poliisi ya Old Kampala ne Flying Squad baasoose kukwata Bamwesigye oluvannyuma ne bazingako Ismael Ssenono abadde aduumira ebikwekweto ku poliisi ya Old Kampala.

Ensonda zaategeezezza nti ekiragiro okukwata Ssenono ne Bamwesigye kyaweereddwa mukama waabwe, Charles Nsaba.

Kyokka teyasobose kufunika kubaako by’atangaaza ku nsonga eno. Bino biddiridde okukwata Omutabbuliiki ku muzikiti gw’e Nakasero ayitibwa Ahmed Kamada Ssebuufu eyaggyiddwa mu maka ge e Mutundwe mu Munisipaali y’e Lubaga.

Kigambibwa nti naye alina ky’amanyi ku kutemula Kirumira. Omwogezi wa poliisi Emilian Kayima yagambye nti ekiseera ekituufu okwogera okunoonyereza we kutuuse tekinnatuuka.

N’agamba nti bwe banaaba batuusizza bajja kutegeeza eggwanga okubuuliriza we kutuuse.

Kigambibwa nti Bamwesigye ne Ssenono babadde balabibwa n’omuserikale wa Flying Squad agambibwa okukola olukwe lw’okutta Kirumira.

Waliwo omuserikale omulala eyategeerekeseeko erya Sserugga gwe babadde banoonya.

Kigambibwa nti yasangiddwa ku poliisi ya Old Kampala era amagye gaabadde gamutwala kyokka eyabakulidde n’awabula bagira bamuleka bongere okwetegereza.

Sserugga naye yali mu Flying Squad n’avaayo nadda mu kitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) era kati akolera ku poliisi ya Old Kampala.

Ebikwekweto okunoonya abasse Kirumira bikulirwa Brig. Abel Kandiho aduumira CMI, Col. Frank Kaka Bagyenda owa ISO gattako Flying Squad ng’ekolaganira wamu n’aba CID abakulirwa Grace Akullo.

OMUTABBULIIKI EYAKWATIDDWA E MUTUNDWE BAMUSIBIDDE MBUYA

Omwogezi w’abatabbuliiki Sheikh Siraje Kifampa yategeezezza nti Hajji Kamada Ssebuufu bamusibidde ku kitebe kya bambega b’amagye aba CMI e Mbuya.

Kifampa gwe twasanze ku muzikiti e Nakasero yagambye nti yeewuunyizza ekyakwasizza munnaabwe ye gw’amanyi nti talina buzibu bwonna.

Yagambye nti okutulugunya n’okukwata Abasiraamu buli lwe wabaawo omuntu atemulwa kirina okukoma.

Yagambye nti Luke Owoyesigyire omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano yabagategeezezza nti yakwatiddwa CMI era beesitudde ne bagenda ku kitebe kya CMI e Mbuya ne babakakasa nti be bamulina naye bwe baba baagala okumulaba balina okukola enteekateeka bayite mu makubo amatuufu.

Yagambye nti baagezezzaako okubuuza omusango ogwamukwasizza ne babategeeza nti bajja kubabuulira babe bagumiikiriza era omuntu waabwe ali mu mbeera nnungi.

Omu ku bakyala ba Ssebuufu yategeezezza nti bba amumanyi ng’omusajja omukkakkamu era talina kintu kikyamu kye yali amuwuliddeko.

Ssebuufu akolera ku Ham Shoping Center. Levis Kibuuka akulira ebyokwerinda e Mutundwe ku Luyinja, Ssebuufu gy’abeera yagambye nti amumanyi ng’omutuuze omukkakkamu era ayanguyira buli muntu.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mukyala Nsegumire nga yeetondera Mboize.

Aba NRM mu Kampala beeyuliz...

Olukiiko olwayitiddwa okutabaganya abeesimbyewo ku kkaadi y’ekibiina kya NRM mu Kampala Central n’abo baamegga...

Mwine Mukono

Mwine alina emisango mu kkooti

OMUBAKA wa munisipaali ya Mityana, Francis Zaake yaloopa DPC Mwine Mukono ne banne okuli RPC Kagarura n’abalala...

Mwine ng'ayogera eri abatuuze b'e Mityana abaali beekalakaasa.

Ebikolobero ebizze birondoo...

ABADDE aduumira Poliisi y’e Mityana, Alex Mwine Mukono eyaduumidde abaakubye ttiyaggaasi mu bannaddiini n’abeekika...

Ssentamu ng'asiiga langi ku ddame.

Bayize okukola ebitimbibwak...

HADIJAH Ssentamu akozesezza ekiseera ky’obulwadde bwa ssennyiga omukambwe okugatta obwongo n’abaako ky’ayiiya....

Ono oluggya yaluteekamu ebitebe abantu we bawummulira.

Engeri gy'osobola okukola s...

Oluggya bwe lusukka mu lumu ziba ziyitibwa empya era ebimu ku byafaayo byalwo mu Uganda lubadde lwakwewunda nga...