TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omusuubuzi bamugobye mu katale k'e Nalukolongo: Bamulanze bulogo

Omusuubuzi bamugobye mu katale k'e Nalukolongo: Bamulanze bulogo

Added 23rd September 2018

ABASUUBUZI mu katale k’e Kitawuluzi e Nalukolongo bavudde mu mbeera ne batabukira munnaabwe nga bakimussaako nti bamuteebereza okuba omulogo.

 Nanteza (ayimiridde) nga yeewozaako mu lukiiko.

Nanteza (ayimiridde) nga yeewozaako mu lukiiko.

Becky Nanteza nga musuubuzi mu katale kano ye yakiguddeko abasuubuzi bwe baamututte mu lukiiko nga bamulaga okubaloga n’okubawemulanga nga n’abaana bawulira.

Abasuubuzi bano nga bakulembeddwaamu Nassir Kasule baalese ekiwandiko nga kuliko emikono 110 nga baagala ssentebbe w’akatale Rashind Lugambwa agobe Nanteza amanyiddwa ennyo nga Maama Obama mu katale.

Abasuubuzi baagambye nti Nanteza alina akalimi kuba buli kyayogera kituukirira naddala ebibi ku basuubuzi banne.

Kasule yagambye nti yagula pikipiki 6, nga Nanteza yayina okukwata ssente aba pikipiki ze baakolanga kyokka bwe yamuggyako okusolooza ssente, Nanteza tekyamusanyusa n’amutegeeza nti pikipiki zino zonna zigenda kufuna ebizibu era mu bbanga ttono zaggwawo.

Mu lukiiko luno mwabaddemu akulira poliisi y’oku Railway, African Magezi eyategeezezza nti yafuna amawulire nti waliwo omusuubuzi asuza banne ku tebuukye bwe yamutuukirira bagonjoole ensonga ze Nanteza namuvuma ebigambo ebisogovu.

Omusuubuzi omu, Safina Nalukenge yalaze okugulu okumuluma nga yakitadde ku Nanteza nti yamulaalika nti ajja kulaba ekijja era oluvannyuma n’akwatibwa ettalo.

Bwe yamulumba okugonjoola obuzibu bwe ne Nanteza yamugamba kimu nti tonnaba era okyalaba.

Mu kwewozaako Nanteza yategeezezza nti basuubuzi banne bamuwalana kuba atunda nnyo.

Abasuubuzi nga bakulembeddwaamu ssentebe Lugambwa baasazzewo nti Nanteza awummuzzibwe okumala wiiki bbiri ng’okunoonnyereza bwe kugenda maaso.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mukyala Nsegumire nga yeetondera Mboize.

Aba NRM mu Kampala beeyuliz...

Olukiiko olwayitiddwa okutabaganya abeesimbyewo ku kkaadi y’ekibiina kya NRM mu Kampala Central n’abo baamegga...

Mwine Mukono

Mwine alina emisango mu kkooti

OMUBAKA wa munisipaali ya Mityana, Francis Zaake yaloopa DPC Mwine Mukono ne banne okuli RPC Kagarura n’abalala...

Mwine ng'ayogera eri abatuuze b'e Mityana abaali beekalakaasa.

Ebikolobero ebizze birondoo...

ABADDE aduumira Poliisi y’e Mityana, Alex Mwine Mukono eyaduumidde abaakubye ttiyaggaasi mu bannaddiini n’abeekika...

Ssentamu ng'asiiga langi ku ddame.

Bayize okukola ebitimbibwak...

HADIJAH Ssentamu akozesezza ekiseera ky’obulwadde bwa ssennyiga omukambwe okugatta obwongo n’abaako ky’ayiiya....

Ono oluggya yaluteekamu ebitebe abantu we bawummulira.

Engeri gy'osobola okukola s...

Oluggya bwe lusukka mu lumu ziba ziyitibwa empya era ebimu ku byafaayo byalwo mu Uganda lubadde lwakwewunda nga...