TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Mmotoka ya seminti endala etomedde ey'omusenyu ddereeva n'afiirawo: Abalala 5 balumiziddwa

Mmotoka ya seminti endala etomedde ey'omusenyu ddereeva n'afiirawo: Abalala 5 balumiziddwa

Added 23rd September 2018

LOOLE ya seminti endala eyingiridde ey'omusenyu ku luguudo lw'e Masaka ddereeva waayo n'afiiriwo ate abalala 5 ne baddusibwa mu ddwaliro nga bataawa kyokka abadduukirize ne bagufuula mugono okubba seminti yenna.

Akabenje kano kagudde Kalagala - Mpigi ku luguudo lw'e Masaka  ku ssaawa nya ez’ekiro ky'Olwomukaaga, ddereeva wa loole nnamba UAS 432S ebadde ettise seminti ng'eva Kampala okudda e Mbarara bw'eyingiridde loole y’omusenyu nnamba UBB 170E, ebadde eva mu Lwera ng'edda Kampala ne ziotomeregana bwenyi ku bwenyi.

Afudde ye Wasswa Lumala omutuuze w'e Mukungwe Masaka ng'ono esensebuse omutwe era mu mmotoka omulambo batemyemu muteme, abalala b'abadde nabo; Hassan Kakumba amenyese emikono, Abdu Ssebugwawo ow'e Masaka n'amenyeka mu kifuba, Faisal Matovu ow'e Namungoona naye afunye obuvune obwamaanyi mu kifuba ne mu mugongo gattako ddereeva wa loole y'omusenyu ataategeerekese mannya olw'embeera embi gye yabaddemu nga bano bonna baddusiddwa mu ddwaliro lya Double Cure e Kalalaga okufuna obujjanjabi.

Abamu ku baabaddewo bagamba nti akabenje kaavudde ku mugoba wa loole ya seminti eyabadde ku misinde egya yiriyiri ku kaserengeto k'e Kalalagala mmotoka n'eyabika n'erumba ginnaayo ey'omusenyu ne zitomeregana bwenyi ku bwenyi.

Poliisi y'ebidduka e Mpigi etuuse mangu mu kifo awaagudde akabenje kyokka abadduukirize abaabadde abangi baabazizza abasirikale nga bali bizze okutemamu abaabadde bawagamidde mu mmotoka ya seminti olwo ne banyagulula seminti mu loole kujula kugikaliza olwo ate poliisi n'edda mu kugobagana nabo okubasuuza omunyago. 

Akabenje kano okugwawo wabadde waakayitawo ennaku kumpi ttaano zokka bukya mmotoka ya seminti endala etomera mmotoka bbiri mu kitoogo kya Kibukuta era abantu bataano okuli ne ddereeva waayo ne bafiirawo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

UNEB ewadde abayizi wiiki 5...

MINISITULE y’ebyenjigiriza ewadde abazadde n’abayizi omwezi gumu okusasula ssente z’ebigezo n’okwewandiisa okukola...

Trump ne Biden

Omugagga asasulidde abasibe...

OMUSAJJA bifeekeera, omu ku basinga obugagga mu Amerika akutte doola obukadde 16 n’asasulira abasibe 32,000 engassi...

Abawagizi ba Rukutana nga bajaganya

Engeri ebya Rukutana gye bi...

EBY’OBULULU bw’e Rushenyi bikyuse minisita Mwesigwa Rukutana bw’alangiddwa ng’eyawangudde akalulu k’essaza lino...

Omuyimbi Pia Pounds yeekokk...

Sheilah Gashumba kirabika kati ye yeekwatiramu mu kukuba ebifaananyi

Malokwezza ne mukazi nga bajaganya

Tofiri Malokweza (92): Ayog...

Bw’OLABA omuntu ow’emyaka 92 tolemwa kutendereza Katonda ate ng’eno bwe weebuuza ekyama kye ekimusobozesezza okuwangaala....