TOP

Omulabirizi atutte e Namirembe enjiri ya ssente

Added 24th September 2018

OMULABIRIZI wa Ankole yakubiddwa emizira ng’abuulira enjiri y’okukola n’okufuna ssente e Namirembe ku mikolo gy’okufundikira emyaka 10 egy’okubuulira enjiri egya “Decade of Mission”.

 Omulabirizi wa South Ankole, Bp Nathan Ahimbisibwe (ku kkono), Omulabirirzi Luwalira ne mukyala we Faith.

Omulabirizi wa South Ankole, Bp Nathan Ahimbisibwe (ku kkono), Omulabirirzi Luwalira ne mukyala we Faith.

Bya Peter Ssaava
 
OMULABIRIZI wa Ankole yakubiddwa emizira ng’abuulira enjiri y’okukola n’okufuna ssente e Namirembe ku mikolo gy’okufundikira emyaka 10 egy’okubuulira enjiri egya “Decade of Mission”.
 
Rt Rev. Nathan Ahimbisibwe owa South Ankole yeewaddeko obujulizi ng’omusajja omulimi alina yiika z’ennaanansi mukaaga.
 
N’agamba nti buli kibatu kya ngalo za muntu, ye tulakita ye era ebiseera by’ebibatu z’enguudo za tulakita.
 
Yabadde abuulira n’ayita abaagala okubawa ku ssente bajje era abantu ne
bamukunhhaanirako n’aggyayo akavangata buli muntu n’amugabira 20,000/-,
ku ssente z’akola.
 
Omukolo gwajjumbiddwa abantu abajjuzza ebimuli ku Lutikko e Namirembe eggulo abaasanyusiddwa kkwaaya ez'enjawulo n’okusaba kw’okusumululwa okwakulembeddwa Maama Faith Luwalira muk’omulabirizi w’e Namirembe.
 
Namirembe yalangirira okubuulira enjiri okumala emyaka 10, okwatongozebwa mu 2008. Abantu bangi baalokose.
 
Ssaabadinkoni w’e Ntebe, Jonnathan Kisawuzi yagambye nti abantu bwe bategedde Katonda, n’okuwaayo ssente mu makanisa kweyongedde.
 
Omulabirizi Kityo Luwalira yayogedde ku mize eginafuyizza ekkanisa okuli obwenzi n’abantu okwonoona ssente mu binyumu ate bwe bamala okuzonoona ne bakaaba obwavu.
 
Akulira okubuulira enjiri, Rev. Samuel Muwonge yalangiridde okuzimba ekizimbe kya “Mission House” n’agamba nti baakasonda obukadde 243.
 
Akulira olukiiko lw’okubuulira enjiri era omukulu w’essomero ly’e Mengo SS, Fred Kazibwe yagambye nti okutongoza okuzimba kujja kubaawo nga November 13.
 
Ekizimbe kya myaliiro mukaaga. Kijja kumalawo obuwumbi mwenda (akawumbi kalimu obukadde 1,000).
 
Abakristaayo era baawereddwa obujjanjabi obw'obwereere mu lusiisira lw'ebyobulamu nga muno baakebereddemu n'endwadde ez'enjawulo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dr. Okello Kalule.

Omulimi by'olina okukola ok...

MU Uganda mulimu ebika by'ebinyeebwa ebisukka mu 26 nga buli kimu kisobola okudda kumpi mu buli kitundu kya ggwanga...

Kigoonya.

Nze nnindiridde buwanguzi -...

Bya Vivien Nakitende Angella Kigoonya Namyalo eyeesimbyewo ku bwameeya bwa munisipaali y'e Lubaga ku kaadi ya...

Mberaze aleebya Ssebuggwaawo.

Ebya Mmeeya Ssebuggwaawo bi...

We buzibidde ng'okubala obululu mu bitundu bya Lubaga South eby'enjawulo kulaga nga Munna NUP, Zachy Mawula Mberaze...

Nga bateeka omulambo gwa Bisaka (ku ddyo) mu nnyonyi okugutwala e kapyemi. Eyeeyita Katonda alese ebyafaayo.

Eyeeyita Katonda alese ebya...

ENTEEKATEEKA z'okuziika Owobushobozi Bisaka ziri mu ggiya. Omulambo gwe okuva e Nairobi gwaleeteddwa mu nnyonyi...

Ggaadi eziwedde okukola.

Okwokya ggaadi za bodaboda ...

BW'OZITUNUULIRA kungulu oyinza okulowooza nti ziggyibwa bweru wa ggwanga olw'endabika yaazo ennungi. Ggaadi zino...