TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bamalaaya banyaze munnansi wa Ethiopia ddoola 700 ne baleka nga bamwambudde

Bamalaaya banyaze munnansi wa Ethiopia ddoola 700 ne baleka nga bamwambudde

Added 24th September 2018

POLIISI ekoze ekikwekweeto mu loogi z’oku William Street n’ekwata abakazi mukaaga abakola obwa malaaya abagambibwa okusikambula omusajja enzaalwa ya Ethiopia ne bamubbako ssente n’ebiwandiiko bye.

 Bamalaaya abaakwatiddwa.

Bamalaaya abaakwatiddwa.

Bya Eria Luyimbazi

POLIISI ekoze ekikwekweeto mu loogi z’oku William Street n’ekwata abakazi mukaaga abakola obwa malaaya  abagambibwa okusikambula omusajja enzaalwa ya Ethiopia  ne bamubbako ssente  n’ebiwandiiko bye.

 Bino bya baddewo ku Ssande abaserikale okuva ku poliisi ya CPS mu Kampala bwe baakutte abakazi bano oluvannyuma omusajja Teijje Tereje enzaalwa ya Ethiopia okwekubirayo enduulu.

  Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigyire yagambye nti poliisi yatemezeddwaako abantu abaalabye abakazi nga basikambula Teijje nga bamuyingiza loogi ku kifuba oluvannyuma ne bamwambulamu engoye ne bakuulita nazo, ng’okuvaayo mu loogi yezingiridde mu ssuuka.

“Tukutte abakazi mukaaga nga bano kigambibwa nti babbye omusajja gwe baasikambudde ku kifuba ne bamuyingiza loogi oluvannyuma ne bamubba nga bino byabadde mu loogi eriraanye ebbaala ya Top Pub “ Owoyesigyire bwe yategeezezza.

Yagambye nti ku bakwate kuliko, Jesca Karungi, Sharon Nakasi, Joy Apondo, Shamim Nabatanzi, Jovia Nabukeera n’omulala eyategerekeseeko erya Aisha.

Teija eyabbiddwa.

 

Oweyesigyire yategezezza nti poliisi yayazizza loogi mwe baatutte Teijje n’esangayo engoye ze, paasiport ye ate bbo abakazi abamu ne bakomyawo emitwalo 35 kyokka doola 700 ne balemwa okuzizza nga kigambibwa nti waliwo munnaabwe eyabuzeewo nazo.

Abakazi bano abakuumirwa ku CPS bagguddwaako omusango oguli ku fayiro SD 10/23/09/2018 ng’okunoonyereza bwe kugenda mu maaso.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaana nga bagumbye ku

Bakubye ssengaabwe mu mbuga...

ABAANA batutte ssengabwe mu kakiiko k'eggombolola y'e Kyazanga nga bamulumiriza okubawuddiisa ne yezibika obukadde...

Komakech n'ebizibiti bye ku poliisi y'e Kawanda.

Abadde yakayimbulwa e Luzir...

Komakech ategeezezza nga bwabadde agenda okufa enjala nga yali asiiga njala z’abakazi wabula okuva bwe bayimiriza...

Testing video to see if it ...

aojdjadjdadojajdndn

Omusajja yansuulawo ng'omwa...

Nze Scovia Twetise 28, mbeera Bulamu-Gazaya, Texas. Mu 2005, nalina emyaka 15 omusajja yantuukirira n’ahhamba nti...

Eyagenda okusoma ddiguli e ...

Talina mpapula kw’akolera era agamba tasobola kudda kubanga bw’adda taddayo