TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Faaza akaabidde ku kituuti ng'asiibula Abakristu

Faaza akaabidde ku kituuti ng'asiibula Abakristu

Added 25th September 2018

ABADDE bwanamukulu w’e Kigo kye Rugazi Fr. Vincent Tumwebaze atulise n’akaaba wakati mu kitambiro ky’emmisa kye yayimbye ng’asiibula Abakristu b’ekigo kino.

 Fr. Tumwebaze (ku kkono) ne Abigato Mubangizi.

Fr. Tumwebaze (ku kkono) ne Abigato Mubangizi.

Bya ALI WASSWA
 
ABADDE bwanamukulu w’e Kigo kye Rugazi Fr. Vincent Tumwebaze atulise n’akaaba wakati mu kitambiro ky’emmisa kye yayimbye ng’asiibula Abakristu b’ekigo kino.
 
Fr. Tumwebaze amaze emyaka musanvu e Rugazi nga we yatumibwa okuva lwe yafuna obusosodooti.
 
Fr. Tumwebaze yategeezezza nti, emyaka omusanvu gy’amaze e Rugazi asobodde okuzza abantu abaali bafuuse abakafiiri mu Klezia era ng’asobodde okubatiza abaana abasoba mu 4,000, n’okugatta emigogo gy’abagole egisoba mu 800.
 
Yagambye nti nga baakamugaba mu kigo kino, yasooka kutya, olw’embeera embi gye kyalimu, omwali ebisulo byabannaddiini okuba mu mbeera embi n’entalo ezaali mu Bakristu.
 
Wano nga Faaza akaaba

 

Wabula olw’okukkiriza kwe yalina yasobola okuzza obumu mu Bakristu n’okusakira ekigo kino obuyambi, ekimusobozesezza okuzimba ebizimbe omukolerwa emirimu n’okutandika pulojekiti ezivaamu ssente eziyimirizaawo ekigo.
 
Fr. Tumwebaze era yeebazizza abakulembeze bannabyabufuzi ng’omubaka omukyala Kasande Bataringaya gwe yagambye nti abadde amuyambako mu mirimu gy’Eklezia ate nga yeenyigira mu nkulaakulana y’ekitundu. Yabasabye obuteggyaako bakulembeze nga bano.
 
Mu mmisa eno yabatirizzaamu abaana 10 n’okugatta omugogo gumu ogw’abagole.
 
Amawulire g’okukyusibwa kwa Fr. Tumwebaze, gennyamiza Abakristu b’e Rugazi nga bagamba nti waakiri yandirekeddwaawo n’amaliriza pulojekiti ez’enjawulo z’abadde atandise.
 
Waliwo n’ebigambibwa nti abadde alina obutakkaanya n’omu ku basosodooti nga kyandiba nga kye kyavuddeko okukyusibwa kwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oba Daddy Andre ne Nina Roz...

Getwakafuna ge g’omuyimbi ow’erinnya Daddy Andre alabikidde mu bifaananyi ku mukutu gwa Twitter ng’ali n’omuyimbi...

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Omusomesa eyakubiddwa ttiya...

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako...

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...