TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abamu ku bafamire ya Kawuma bakkirizza ssente za Museveni

Abamu ku bafamire ya Kawuma bakkirizza ssente za Museveni

Added 25th September 2018

Abamu ku bafamire ya Yasin Kawuma eyattibwa mu mmotoka ya Bobi Wine batuukiridde Catherine Kusasira n’abawa ssente obukadde 20 ezaabaweereddwa Pulezidenti Museveni.

 Kusasira ng’akwasa Hajji Ssebabi, taata wa Kawuma ensimbi eggulo. Ku kkono ye Annet Nansubuga, omu ku bannamwandu abaafunye ku ssente zino.

Kusasira ng’akwasa Hajji Ssebabi, taata wa Kawuma ensimbi eggulo. Ku kkono ye Annet Nansubuga, omu ku bannamwandu abaafunye ku ssente zino.

Bya JOSEPH MUTEBI
 
Abamu ku bafamire ya Yasin Kawuma eyattibwa mu mmotoka ya Bobi Wine batuukiridde Catherine Kusasira n’abawa ssente obukadde 20 ezaabaweereddwa Pulezidenti Museveni.
 
Ssente zaakwasiddwa Hajji Ssebabi Salaamata abeera e Mpigi eyategeezezza nti ye
taata wa Kawuma. Yabadde ne bannamwandu ba Kawuma bana, abaawakanyizza ekya
ssente okuziwa ssezaala waabwe nga bagamba nti ayinza obutazibawa.
 
Kyokka Ssebabi yagambye nti y’avunaanyizibwa ku baana ba Kawuma era ayagala kubagulira kibanja abazimbireko ennyumba w’anaabakuliza.
 
Omu ku bannamwandu Annet Nansubuga yatemye omulanga nti ssente bazibagabire
kubanga Pulezidenti okuzibawa ye Nansubuga ne bannamwandu babiri- Alice Mwesigwa alina abaana basatu ne Florence Nakibuule alina omwana omu baasoose kugenda ku Ttivvi nga basaba obuyambi.
 
Nansubuga yeevulunze mu ttaka nga bw’abuuza Kusasira: Owaddeyo ssente zaffe Muzeeyi azirye? Muzeeyi yabaze obukadde bubiri n’azimuwa.
 
N’amulabula: Tokomyangawo omwana wo ne bw’aliba afunye kizibu.
Bannamwandu ba Kawuma abalala nabo abaagabanye ku ssente obukadde 20. Ku kkono ye Florence Nakibuule ate akutte omwana ye Beatrice Nakigudde.

 

 
Yalabye bannamwandu abalala nabo batabuse buli omu n’amuwa obukadde bubiri,
zonna awamu obukadde munaana. Endala obukadde 12 yagenze nazo. Baabadde ku Calendar e Makindye eggulo.
 
Bino biddiridde Kusasira okutwala ssente zino mu maka ga Kawuma mu Lusanja okumpi ne Kiteezi ku Ssande kyokka abafamire ne bazimuziririra.
 
Kyokka Hajji Ssebabi bwe yalabye amawulire ku Bukedde Ttivvi ag’okuzira ssente n’akubira Kusasira essimu azimuwe.
 
Hajji Ssebabi yeebazizza Museveni okubawa ssente z’amataaba ze yagambye nti zijjidde mu kiseera ng’atubidde kubanga Kawuma yamulaga nnamwandu omu n’abaana basatu.
 
Kyokka bwe yafudde bannamwandu ne bajja musanvu n’abaana 11.
 
Muzeeyi Kawooya

 

TAATA WA KIRUMIRA
Taata Muhammad Kirumira ayitiibwa Abubaker Kawooya Mulaalo eggulo naye
yavudde mu mbeera bwe yagenze ku Calendar okunona ssente obukadde 20 kyokka n’atazifuna. Kusasira yabadde asazeewo ssente zino aba Kawuma ze baasoose okuzira, aziwe taata wa Kirumira era n’amuyita ne nnamwandu.
 
Kyokka we yatuukidde nga famire ya Kawuma esazeewo okuzitwala.
 
Kusasira yasazeewo kuziwa famire ya Kawuma n’agumya Hajji Kawooya nti ezize zijja.
 
Kino kyaggye Kawooya mu mbeera olw’okumutambuza ne nammwandu wa Kirumira. Kyokka yagambye nti amanyi nga Museveni ajja kumuwa ezize.
 
Bw’ataamuwe abazirakisa bajja kumuwa ku ssimu: 0703 878544 ne 0772 394982.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bugembe ng'abuulira enjiri mu kusabira omugenzi Yiga.

Jjengo tolwana ntalo za kit...

Omusumba w'Ekkanisa ya Worship House e Nansana akubirizza Omusumba w’Ekkanisa ya Revival Christian Church Kawaala,...

Abakuumaddembe nga bakunguzza omuvubuka.

Abaabadde bakola effujjo mu...

Abavubuka abaagenze mu kuziika omugenzi Pasita Yiga Abizzaayo e Kawaala ku Lwomukaaga kyokka ne badda okunoonyeza...

Abatuuze nga basobeddwa mu lusuku lwa munnaabwe olwasaayiddwa.

Abantu ab'ettima basaayidde...

ABANTU ab'ettima abatannaba kutegeerekeka bakakkanye ku lusuku lw'omutuuze Jane Namakula 45, ow'e Kyassenya oluwezaako...

Katikkiro Mayiga awabudde a...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga awabudde Abasumba b'Abalokole okukomya okwerumaaluma. Yabadde agenze...

Abakyala nga bagabana ssente ze bazze batereka.

Omuntu anaakulaakulana alin...

ABAKUGU bagamba nti omuntu anaakulaakulana alina okweresa n’afissa ku ssente z’afuna n’atereka okusobola okugaziya...