TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omubaka Kiiza yeeraliikiridde abamulondoola ne bba

Omubaka Kiiza yeeraliikiridde abamulondoola ne bba

Added 25th September 2018

Kiiza omubaka omukazi owa Kasese mu Palamenti yeegasse ku babaka abalala abavuddeyo ne bategeeza nti obulamu bwabwe buli mu katyabaga olw’abantu ababalondoola be beekengera nti balabika baagala kubatemula.

 Winnie Kiiza

Winnie Kiiza

Bya MUSASI WAFFE
 
ABADDE akulira oludda oluvuganya mu Palamenti Winnie Kiiza asattira olw’abantu abatategeerekeka b’alumiriza nti baagala kumutta ne bba era famire ye eri mu kutya okw’amaanyi .
 
Kiiza omubaka omukazi owa Kasese mu Palamenti yeegasse ku babaka abalala abavuddeyo ne bategeeza nti obulamu bwabwe buli mu katyabaga olw’abantu ababalondoola be beekengera nti balabika baagala kubatemula.
 
Ababaka ba Palamenti babiri; Connie Nakayenze (Mbale) ne William Nzoghu (Busongora North) be basooka okuvaayo ne bawanjaga nti waliwo abantu abatategeerekeka ababalondoola era bali mu kutya nti bayinza okutemulwa nga Muhammad Kirumira n’omubaka mnnaabwe Ibrahim Abiriga bwe baatemulwa.
 
Nakayenze ye yasooka okwekubira enduulu mu Palamenti bwe yategeezezza nti waliwo abantu abatambulira mu mmotoka ne pikipiki abamulondoola buli w’alaga era ye ne famire bali mu kutya okutagambika.
 
Mu lutuula lwa Palamenti olwaddako, n’ omubaka Nzoghu yategeeza Sipiika Rebecca Kadaga nti kyenkana asula atunudde olw’obubonero bw’afuna nga bulaga nti waliwo abateekateeka okumuggya mu budde.
 
Nzoghu yannyonnyola nti waliwo abamulondoola awaka, mu kkubo na buli waagenda n’agamba Sipiika Kadaga nti asobeddwa obulamu era tamanyi waakuddukira era alina okutya nti ayinza okuttibwa essaawa yonna.
 
Omugenzi Abiriga naye yasooka kwekubira nduulu enfunda eziwera nti waliwo abantu abamulondoola abaagala okumutta kyokka tewali kyakolebwawo kumwongera bukuumi.
 
Omubaka Kiiza eyakomyewo mu ggwanga ku Lwokuna ne mubaka munne Kyagulanyi Sentamu (Bobi Wine) nga bava mu Amerika yategeezezza nti ekiro ekyakeesezza Mmande yasuze ku tebukye olwa bamukwatammundu abeebunguludde amaka gaabwe e Kiburara mu Kasese nga kirabika baabadde ku misono yaakutta bba Yowasi Bihande Bwambale.
 
Bba, Bihande eyaliko ssentebe wa LC e Kasese era omubaka wa Bukonjo East yasangiddwa alina w’atambuddeko mu Kasese nga tali waka mu kiseera bamukwata mmundu we baazindidde amaka gaabwe ate ye Kiiza ng’ali Kampala.
 
“Baliraanwa baffe be baakubidde baze essimu ne bamulabula nataddayo waka,” Kiiza bwe yategeezezza n’agattako nti baliraanwa baasobodde okubalako abantu mwenda abaabadde babagalidde emmundu.
 
Kiiza yalumirizza nti ab’emmundu abaalumbye amaka baabadde mu byambalo by’amagye n’agamba nti singa ye oba bba battibwa, amagye gateekwa okunnyonnyola
Kyokka Omwogezi wa UPDF Brig. Richard Karemire yategeezezza nti tewali mujaasi wa UPDF yenna yaasindikiddwaako mu maka ga Kiiza oba bba Bihande.
 
Brig. Karemire yagambye nti amagye gaayingidde mu nsonga omubaka Kiiza amangu ddala nga yaakategeeza nti waliwo abaserikale abali mu maka era baayungudde tiimu eyagenze mu maka kyokka tewali mujaasi yenna yasangiddwaawo.
 
POLIISI EYOGEDDE
Omwogezi wa Poliisi mu ggwanga Emilian Kayima yategeezezza nti Poliisi egguddewo fayiro okunoonyereza ku bigambibwa nti waliwo abaagala okutuusa obulabe ku Kiiza ne bba Bihande.
 
Wabula yategeezezza nti ebyakazuulibwawo biraga nti tewali mujaasi oba muserikale yagenze mu maka ga Kiiza okumutusaako obulabe.
 
Kayima yagambye nti Poliisi yayungudde ttiimu y’Abaserikale ng’ekuliddwaamu omuduumizi wa Poliisi y’e Bwera mu Kasese ne bagenda mu maka ga Kiiza kyokka tewali kabonero konna kalaga nti waabaddewo abantu ab’emmundu.
 
Yagambye nti aba Poliisi baayogeddeko n’omu ku bakozi ba Kiiza ayitibwa Jimmy n’akakasa nti tewali wa mmundu yenna gwe baalabye waka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pulezidenti Museveni ng’atuuka e Sironko gye yasisinkanidde abakulembeze ba NRM okuva e Sironko ne Bulambuli ku ssomero lya Masaba SSS.

Museveni asuubizza okuyamba...

PULEZIDENTI Museveni asuubizza okussa mu bajeti y'eggwanga ssente ez'okudduukirira abasuubuzi ne bannannyini bizinensi...

Bobi wine ng'atambula n'abawagizi be e Nakasongola.

Abawagizi ba Bobi Wine aban...

Bobi Wine n'abawagizi batabuse ne poliisi oluvannyuma kw'okubawa ekifo ekyewala okukubiramu kampeyini olubigaanye...

Abakugu nga bakebera abavubuka.

Abavubuka babaleetedde akuu...

ABASAWO okuva mu ddwaaliro ly'e Kisugu n'abakungu mu kitongole kya Amerika ekya PEPFAR ne gavumenti batongozza...

Bazadde ba Amos Ssegawa 15, okuli Hajarah Nakitto ne taata we omuto Meddie Ssemugenyi nga bannyonnyola ow’akakiiko k’eddembe ly’obuntu Juliet Logose engeri gye baatemuddemu omwana waabwe.

Be battidde abantu baabwe m...

MAAMA w'omuyizi wa Lubiri SS- Buloba, Amos Ssegawa 15, eyakubiddwaa essasi ng'ayita mu kibuga wakati mu kwekalakaasa...

Abamasaaba okuva mu disitulikiti ya Sironko ne Bulambuli abaayanirizza Pulezidenti Museveni ku ssomero lya Masaba SSS.

Obujiji n'okubinuka mu kamp...

Kwabadde kubinuka wonna mu ggwanga ng'abeesimbyewo ku bwapuledidenti banoonya akalulu. Bano abawagizi baabwe baabalaze...