TOP

Babateze obutwa mu busera, omu mufu

Added 25th September 2018

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Katuulo mu ggombolola y'e Kyazanga mu disitulikiti y'e Lwengo omuntu atanamanyika bwatadde obutwa mu busera naleka omu ng’alusuddemu akaba ate abalala 10 basigadde nga bataawa. Bano baddusiddwa mu Kyazanga Health Centre IV.

 Annet Nabaasa ku kitanda.

Annet Nabaasa ku kitanda.

Bya FLORENCE TUMUPENDE

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Katuulo mu ggombolola y'e Kyazanga mu
disitulikiti y'e Lwengo omuntu atanamanyika bwatadde obutwa mu busera naleka omu ng’alusuddemu akaba ate abalala 10 basigadde nga bataawa. Bano baddusiddwa mu Kyazanga Health Centre IV.
    Afiiridewo  ye Sayidat Kyohirwe 50, abalala okubadde Beatrice Nshemerirwe 54, Agaba Ferista 25, Rovensi Kabatesi 29, Lillian Nagasha
 4, Linnet Amumpiire 2, Angel Ayinembabazi 54,Sharon Natukunda 9
Geofrey Mugisha 19, Laban Niwagaba 20, ne Annet Kyohirwe batwaliddwa mu

Laban Niwagaba ne Geofrey Mugisha ku Kitanda.

 


ddwaaliro nga bali mu mbeera mbi.

          EYAKOZE OBUSERA AYOGEDDE.
Beatrice Nshemerirwe oluvannyuma lw'okudda engulu yategeezezza nti balina ekibiina eky'okulima ky'abantu 12 era yakoze obusera bw'okuwa banne abazze okumulimirako nga bulijjo bwakola.
  

Natadde ekidomola ky'obusera ku ntandikwa, era bwe twaluggusiza twatudde wamu ne tunywa.

 Twayagadde tunone olulimbi olulala wabula twabadde twakalimako
akantu katono munnaffe Kyohirwe kati omugenzi nakaaba nti awulira
olubuto lumulumirira.

Beatrice Nshamerirwe ngali ku kitanda.

 

Amangu ago yatandise okusesema naffe enjoka
nezitandika okutuluma kwossa n'embiro okutuyitamu ng'enze okudda
engulu nga ndaba ndi wano mu ddwaaliro.


Nshemerirwe kino akitadde ku muntu eyamulabiriza we yatadde ekidomola ky'obusera nti oba olyawo yakozeseza omukisa gw'okubalungiramu obutwa okujjawo obulamu bwabwe.


    Yetondedde banne bwe n'abenganda zaabwe wabula nasaba poliisi enoonyereze ku mutemu eyamwonoonedde erinnya n’okubaagaliza okufa.

    Omusawo Betty Nabukenya yategeezezza nga we baabaletedde abalwadde bano nga bapooca.

Omwana Linnet Amumpiire tanadda ngulu.

 

Baasobodde okubawa obujjanjabi obwetagisa kw'ossa n'okubajjako omusaayi,ebisesemye,embiro n'obusera bwe banywedde ebyatwaliddwa e Masaka boongere okuzuula ekituufu ekyaviiriddeko omuntu omu okufa n'abalala okukwatibwa.
   

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Katebalirwe

'Gavumenti yabadde ntuufu o...

AKAKIIKO k'eddembe ly'obuntu kayise ba agenti b'abeesimbyewo abaakwatiddwa oba okutaataaganyizibwa ku lunaku lw'okulonda,...

Ssebunnya

Ssebunnya alambuludde ebyas...

OMUWABUZI wa Pulezidenti Museveni ku nsonga za Buganda, Robert Ssebunnya avuddeyo n'ayogera ku mbeera y'ebyokulonda...

Nabirah.

Omuliro mu kalulu ka Bammeeya

BANNAKAMPALA basuze mu keetereekerero okulonda Loodi Meeya wabula ekibuuzo ekiri mu bantu kiri kimu: Erias Lukwago...

Bano baabadde ku boodabooda nga batwala omulwadde mu ddwaaliro.

Basonze ku kyasuddeMuseveni...

ABATUUZE mu disitulikiti y'e Mayuge n'abakulembeze boogedde lwaki Robert Kyagulanyi Ssentamu ‘Bobi Wine' owa NUP...

Cranes eyasamba Congo Brazaville e Kumasi .

Cranes lwe yasimattuka okuf...

EMIZANNYO gizze gigwamu ebikangabwa eby'amaanyi ne mufiiramu abazannyi. Ebimu ku bino bwe bubenje bw'ennyonyi okugeza;...