TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abamerika bongedde okussa akazito ku Gavt. ku bya Bobi Wine

Abamerika bongedde okussa akazito ku Gavt. ku bya Bobi Wine

Added 26th September 2018

ABABAKA babiri aba Palamenti ya Amerika (House of Representatives) bawandiikidde omubaka wa Uganda mu Amerika nga baagala Gavumenti emenyewo emisango egyaggulwa ku mubaka Bobi Wine ne banne bwe baakwatibwa ku by’akalulu akaali mu Arua.

Omubaka wa Kyadondo East mu Palamenti, Robert Kyagulanyi Ssentamu

Omubaka wa Kyadondo East mu Palamenti, Robert Kyagulanyi Ssentamu

Karen Ruth Bass 64 ne Bradley James Sherman bombi ab’ekibiina kya Democrats nga bakiikirira essaza ly’e California mu Palamenti ya Amerika (House of Representatives) baawandikidde omubaka wa Uganda mu Amerika, Mull Katende nga balabula ku bigambibwa nti, Gavumenti etulugunya bannabyabufuzi abooludda oluvuganya n’okutyoboola eddembe ly’obuntu.

Kyokka Gavumenti ya Uganda esoomoozezza ababaka bombi nti bakole kye bakola kubanga Uganda nsi eyeefuga ,kikafuuwe okuzinira ku ntoli z’ensi endala.

“ Abo beeyita ki okutuuka okutuwa ebiragiro”, omumyuka w’omwogezi wa gavumenti Col. Shaban Bantariza bwe yategeezezza.

Yagambye nti Uganda erina amateeka n’enkola zaayo era by’ejja okutambulirako awatali kufuna biragiro okuva ku muntu oba ensi endala.

Guno mulundi gwakubiri ng’omubaka Katende afuna ebbaluwa ku bikwata ku Bobi Wine ng’eyasooka yamuwandiikirwa omubaka Sherman August 23, 2018 nga Bobi Wine akyali mu kkomera e Makindye gye yali yaggalirwa okuva nga August 13 lwe yakwatibwa.

Mu bbaluwa eyasooka, omubaka Sherman yasaba Gavumenti okuyimbula Bobi Wine, Francis Zaake ne bannaabwe n’okunoonyereza ku bigambibwa baali batulugunyiziddwa amagye agakuuma Pulezidenti.

Bobi Wine bwe yabadde mu Amerika ng’agenze okujjanjabwa, yasisinkanye omubaka Sherman nga September 6, 2018 n’amusaasira embeera gye yayisiddwaamu n’avumirira eby’okumusiba n’okumutulugunya.

Wabula ebbaluwa eri Katende gye baawandise nga September 21, 2018, Sherman ne Bass baasabye Gavumenti okumenyawo emisango gyonna ku Bobi Wine, babaka banne abana n’abantu abalala bwe baakwatibwa mu bya Arua.

Bobi Wine ne banne 33 bawerennemba n’emisango egy’okulya mu nsi yaabwe olukwe era asuubirwa okudda mu kkooti ku ntandikwa y’omwezi ogujja. Emisango gino singa gibakka mu vvi ekibonerezo ekisingayo kuba kuwanikibwa ku kalabba.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ba Kansala ku district e Ki...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Emitimbagano gya Vision Gro...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Ensonga za Brian White ez'o...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Engeri akasaawe k'e Mulago ...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

 Poliisi n’abatuuze nga bateeka omulambo gwa Mukiibi ku kabangali.

Afiiridde mu kibanda kya fi...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono