TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Museveni awadde famire ya Kirumira obukadde 20

Museveni awadde famire ya Kirumira obukadde 20

Added 26th September 2018

TAATA w’omugenzi Kirumira eggulo yakimye ssente okuva ewa Pulezidenti. Zaamukwasiddwa omuyimbi Catherine Kusasira ku kifo kya bandi ya Golden Band e Makindye ku Calendar.

Sophia Nayiga ssenga w’omugenzi, Kawooya ne Kusasira (ku ddyo).

Sophia Nayiga ssenga w’omugenzi, Kawooya ne Kusasira (ku ddyo).

Yamuwadde ssente 20,000,000/- ng'amataaba n'amwetondera olw'okutabukatabuka okwabaddewo ku Mmande, Abubaker Kawooya Mulaalo bwe baamuyise ate ne batazimuwa.

Ye Kawooya yagambye nti ng'omuzadde bw'ofiirwa omwana alinga Kirumira ekintu kino kikuggya mu mbeera era y'embeera naye gye yabaddemu ku Mmande kyokka ne yeebaza Pulezidenti okumudduukirira n'amuweereza ensimbi zino.

Kyokka yayongedde okulaajanira Pulezidenti nti obwetaavu akyalina bungi omuli amabanja ge yasigaza mu kuziika ga bukadde 11, bajeti y'omulmbe obukadde 25, okutegekera bamulekwa ekintu mwe banaggya fiizi n'ebirala.

Yagambye nti edduwa yaakubaawo nga October 21,2018. Yayongeddeko nti talina kakuubagano konna ne Gavumenti kuba muwagizi wa NRM era n'akiddamu nti abaana akyalina Pulezidenti bw'aba aliko b'ayagala asobola okumwongera.

Yagambye nti abaana b'omugenzi tagenda kubatwala ku musaayi ng'abasinga bwe babadde bamusaba n'agamba nti ye waakulabirira buli mwana gwe banaaleeta ebisigadde abirekedde Allah.

Yasuubizza okuggulawo akawunti y'abaana ng'era akyasaba obuyambi okuyita ku 0703 878544 ne 0772394982 eziri mu mannya ge.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

   Jane Nnabukeera eyasudde bbebi mu kabuyonjo

Wuuno maama eyasudde bbebi ...

Poliisi egamba nti Nnabukeera ng'amaze okusuula omnwana we mu kaabuyonjo yaddayo n'abikira abatuuze nga bwe yamufiiriddeko...

Mutumba eyakumye ku nnyumba ye omuliro ne mufiiramu bbebi we Nambooze

Akumye ku famire ye omuliro...

Ronald Mutumba okuva mu mbeera kiddiridde okukubira nga mukyala we Annet Mirembe amasimu nga tagakwata ate ng'olumu...

Abakulembeze mu Kawempe ben...

ABAKULEMBEZE ba LC mu Kawempe balaze obwennyamivu eri balandiroodi abasusse okugobaganya abapangisa nga babanja...

"Abatakisi bafunye obukodyo...

POLIISI erabudde nti egenda kukola ekikwekweeto ku batakisi abasiize endabirwamu z’ebidduka byaber langi nga bagenderera...

Gav't ekkirizza abagwiira 1...

UGANDA ekkirizza abagwiira 165 abaali basiibirwa muno ng’eggadde ensalo olw’obulwadde bwa COVID 19 okudda ewaabwe....