TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Paasita abadde akozesa abaana obupakasi e Nyendo akwatiddwa

Paasita abadde akozesa abaana obupakasi e Nyendo akwatiddwa

Added 26th September 2018

Paasita abadde akozesa abaana obupakasi e Ntyendo akwatiddwa: Babadde batembeya magi nga buli omu amusasula 2000/- buli lunaku

 Paasita Bukenya ng'atwalibwa mu kaduukulu ka Poliisi

Paasita Bukenya ng'atwalibwa mu kaduukulu ka Poliisi

Poliisi e Kyotera ekutte Paasita Joseph Bukenya owa Amazing Life Miracle Center esangibwa e Kayirikiti mu Nyendo e Masaka ng'ono abadde akozesa abaana abato emirimu gy'obupakasi nga bamutundira amagi amafumbe ku nguudo z'ekibuga Nyendo ne Masaka.     

Okukwatibwa kwa Paasita Bukenya kyaddiridde abaana babiri okuli; Newton Matovu 12 asoma P. 6 ne Micheal Kikonyogo 11 asoma P. 2 okubula ku ssomero lya Kyotera Infant Primary School era nga bamaze wiiki nnamba nga poliisi n'abeebyokwerinda abalala babayigga okutuuka bwe baabakwaatidde mu Nyendo nga batembeya amagi ne bategeeza nti ga Paasita Bukenya abadde abasasula 2000/=buli lunaku.   

Paasita aggaliddwa ku kitebe kya poliisi e Kyotera ng'okunoonyereza bwe kugeenda mu maaso. 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Agugulana ne KCCA atiisizza...

HAJJI Rashid Ssenyonjo Musisi atiisizza okukung'anya famire ye batuule mu luguudo ompi n'amayumba ge e Lweza...

Trump anywezezza ebyokwerin...

Abaserikale abamukuuma beebulungudde White House okuva mu ggye erimanyiddwa nga The Washington, DC National Guard,...

 Mwamula Juma, the UPTU General Secretary speaking the press in Kampala. Looking on is a member of UPTU. Courtesy photo

Uganda Private Teachers Uni...

Mwamula Juma, the UPTU General Secretary said the government directive is more of a populist voice than a realistic...

 Kayiwa

Munnamakolera asabye Gav't ...

MUNNAMAKKOLERO Steven Kayiwa nga y'akiikirira Bannamakkolero mu lukiiko lwa Buganda olukulu asabye gavumenti eyawakati...

Bagabidde abakozi b'Abachin...

MINISITULE y'ebyobulamu egabidde abakozi mu b'omu nnimiro z'abachina abalimira omuceere mu Lwera n'abavubi b'oku...