TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Muntu ayise olukung'aana lw'abaamawulire okwanja enteekateeka empya mu byobufuzi

Muntu ayise olukung'aana lw'abaamawulire okwanja enteekateeka empya mu byobufuzi

Added 27th September 2018

MAJ. GEN. Mugisha Muntu okuva mu FDC kirese bammemba ba FDC abamu basobeddwa era abamu okuli n’abakulembeze naddala ku mitendera egya wansi ne basalawo okwegatta ku kisinde kya Bobi Wine ekya People Power.

 Muntu ne Kiiza nga bali mu lukung'aana olumu gye buvuddeko

Muntu ne Kiiza nga bali mu lukung'aana olumu gye buvuddeko

Olwaleero Muntu lw’ayise bannamawulire okubategeeza ky’azzaako, wabula abamu ku bawagizi be basuubira ebintu bibiri; okulangirira nga bw’agenda okukolera awamu ne Bobi Wine (Robert Kyagulanyi Ssentamu – Kyaddondo East) ate ekyokubiri okulaga enteekateeka z’okutandika ekibiina ky’ebyobufuzi ekinaakolagana ne bannabyabufuzi bonna ku ludda oluvuganya ne gavumenti nga n’aba FDC mwebali.

Bamusuubira n’okulaga entegeka z’okuzimba emisingi egivuganya gavumenti nga baviira ddala ku byalo kubanga yeemu ku nsonga eyamuwalirizza okuva mu FDC ng’alaba abagikulembera bakkiririza mu kimu “Difaayansi” (okuguguba) ye ky’agamba nti tekimala kuwangula NRM.

Akalulu ka 2021 (kkooti bw’eneeba terina ky’ekyusizza) abooludda oluvuganya gavumenti kati batunuulidde abantu basatu okuli Muntu, Besigye ne Bobi Wine; wabula bonna tekuli yaalangiridde nti agenda kwesimbawo.

Muntu olwaleero era asuubirwa okubugirizibwa abamu ku bakungu ba FDC naddala ababaka ba Palamenti abaludde nga bamukkiririzaamu era abasuubirwa okumwegattako mu 2020 kubanga bwe bakikola ng’ebbanga eribulayo okumalako ekisanja lisukka mu mwaka, bafiirwa ebifo bya Palamenti.

Muntu yagambye nti emyezi 9 gy’amaze nga yeetooloola eggwanga nga yeebuuza ku ba FDC mu disitulikiti ez’enjawulo, wonna w’abadde agenda nga bamusemba ayabulire FDC.

Meddie Musisi nga y’akulira FDC mu Makindye era eyakulidde abavubuka abaalumbye olukiiko lwa Muntu ne Pulezidenti w’ekibiina Patrick Oboi Amuriat yategeezezza nti Gen. Muntu avudde mabega ng’atabula ekibiina n’okulengezza bakulembeze banne ne yeewuunya lwaki yaweereddwa n’omukisa okwanjula ebiri mu lipoota gye yeekolera, nga FDC temuwangako buvunaanyizibwa bwa kukuhhaanya birowoozo mu bammemba ba kibiina.

Ensonda zaategeezezza nti Muntu yali yasalawo dda okuva mu FDC okuva lwe yawangulwa mu November 2017 nga bakimutaddeko nti mbega mu kibiina era nti akolera NRM.

Kino baakimuteekako n’abamu ku babaka abalala abaali bamuwagira ennyo era ababaka abamu nga Nabilah Naggayi Ssempala ne baddiza Besigye omuliro nga bagamba nti y’atabula ekibiina kubanga akifuga Abavudde mu FDC bazze wa Bobi Farouk Mubiru, Nakawa; Muntu yali wa NRM okumala emyaka mingi, tosuubira nti abadde asobola okukyusa FDC, era akoze bulungi okuvaayo.

Kino kiraga nti tabadde na mutima gwa kibiina wabula abadde alina ky’abala. Umar Ngula; Enkyukakyuka nnungi naddala mu byobufuzi, era kano kabonero k’omukulembeze ayagaliza, atali nnakyemalira. Singa n’abalala bakola nga Muntu eggwanga lyaffe lijja kugenda mu maaso. Naye abamu balemera mu bifo.

Ben Musoga, Nakawa; FDC kye kibiina ky’oludda oluvuganya ekisinga amaanyi era bwe kibeeramu emivuyo kitegeeza, oludda oluli mu buyinza lukyatufuga nnyo. Bave mu katemba kubanga balinga abakolera NRM esigale ku ntikko.

Denis Sserwadda, Bweyogerere; Muntu tavudde mu byabufuzi, wabula nze ndowooza yakizudde nti omuliro n’amaanyi Bobi Wine by’asitudde byandireka ebibiina byobufuzi ebirala ku ttaka.

Nsuubira ayagala kwegatta ku Bobi. Siraje Nkwanga, Nakawa; Ebyobufuzi muzannyo gwa katemba.

Buli ayagala okuzannya yaalinnya siteegi. Nze ndaba nga Mugisha Muntu atuzannyira ku bwongo waliwo ekirala ky’abaza.

Balekere awo okuzannyisa ffe abalonzi. Abantu bye bagamba ng’afuga amaka ge nga y’ayagala asalewo buli atwala ekifo mu FDC.

Nabilah yagambye nti bamaze emyaka nga 10 nga bali mu bugugulano obw’amaanyi mu FDC nti era kino kyava mu 2008 Muntu bwe yeesimbawo ne Besigye, abamu ne basalawo ne bawagira Muntu era awo we waava okubayita bambega abakulirwa Muntu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

UGANDA EKWATA KISOOKA MU AF...

OMUWANDIISI w'enkalakkkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dr Diana Atwine abugaanye essanyu oluvanyuma lw'okufuna...

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu

Namasole wa Ssekabaka Mwang...

OLWALEERO Mariam Nampewo omusika wa Majeeri Lunkuse Namasole wa Mwanga II lwe bamuyingizza mu Lubiri lwe e Mpererwe...