
Alozio Kaitale 66, kitaawe wa Mbabazi yagambye nti, bwe kiba nga Kusasira yasobola okubayamba nabo omuntu waabwe eyakubwa ne Kirumira amasasi ajjukirwe famire ye eweebwe obuyambi, bamwegayiridde abatuusize eddoboozi ewa Museveni.
Kaitale yategeezezza nti, okuttibwa kwa muwala we kwabaleka bubi nga famire yonna kuba ye yali abalabirira gattako maama we Fredian Kyalimpa eyalwala omutwe nga kati tebakyalina nsimbi zimugulira ddagala buli wiiki nga muwala we bwe yali akola.
Yagasseeko nti, abaana ba Mbabazi tebali mu mbeera nnungi era omu gw’abadde aweerera takyasoma olw’ebbula lya ssente.
Ayongerako nti, muwala we yali mu nteekateeka okubazimbira ennyumba n’attibwa nga yaakagulako bbulooka zokka n’asaba abazirakisa okumuyamba naddala Gavumenti kubanga muwala we yattibwa masasi.
Kaitale agamba nti, abantu abazze battibwa mu ngeri muwala we gye yattibwaamu batera okuyambibwako Gavumenti kyokka yeewuunya okulaba ng’okuva lwe yaziika muwala we tewali yali avuddeyo kumanya buvunaanyizibwa muwala we bwe yaleka.
Lawrence Kalema, mukulu w’omugenzi Mbabazi yakukkulumidde Gavumenti olw’okubeerabira n’agamba nti kyewuunyisa okuba nga famire ya Kirumira efiiriddwaako ne bagiwa obuyambi obw’enjawulo kyokka ng’owaabwe teri amwogerako ng’ate naye yalina obuvunaanyizibwa n’abantu b’alabirira abaali bayimiriddewo ku ye, n’asaba Kusasira abatuusize eddoboozi lyabwe ewa Museveni.