TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omwana afiiridde mu nkuba e Lubya, amayumba n'amasomero gasigadde ku ttaka

Omwana afiiridde mu nkuba e Lubya, amayumba n'amasomero gasigadde ku ttaka

Added 27th September 2018

Abatuuze ku mwalo gw’e Kirewe mu tawuni kanso y’e Lubya mu disitulikiti y’e Buvuma baaguddemu encukwe, omwana ow’emyezi omunaana bwe yafiiridde mu nnamutikwa w’enkuba eyabaddemu kibuyaga amanyiddwa ng’ensoke ng’era ono yatikkudde n’obusolya ku mayumba ssaako amasomero mu miruka egy’enjawulo.

 Omwana afiiridde mu nkuba e Lubya, amayumba n’amasomero gasigadde ku ttaka

Omwana afiiridde mu nkuba e Lubya, amayumba n’amasomero gasigadde ku ttaka

Gad Onyango, kkansala akiikirira tawuni kanso y'e Lubya ku disitulikiti yagambye nti muwala w'omutuuze Fred Wanyama ow'emyezi omunaana ye yakubiddwa ebifunfugu n'afa oluvannyuma lwa kibuyaga okugitikkulako akasolya. Wanyama mutuuze ku mwalo gw'e Kirewe.

Onyango yagambye nti n'abatuuze abalala 3 ku mwalo gw'e Kirewe baafuna ebisago eby'amaanyi ne baddusibwa mu malwaliro ng'embeera yaabwe ssi nnungi.

Ssentebe wa tawuni kanso y'e Lubya, Yusuf Mbuubi yagambye nti kibuyaga ono yagoya amasomero asatu okuli erya Kirewe P/S, Namiti P/S ne Lubya P/S ssaako amayumba g'abatuuze agaali gakunukkiriza mu 40.

Mbuubi yakubidde be kikwatako omulanga okudduukirira abantu abatakyalina we basula ssaako amasomero agaatikkulwako obusolya n'ebizimbe n'ebireka ku ttaka.

James Osege, omusomesa ku ssomero lya Namiti P/S erimu ku gaakubibwa ensoke yagambye nti mu kadde kano tebakyalina we bayinza kusomeseza bayizi ng'ebibiina babiteeka wansi wa miti.

Ono yagambye nti beekubidde enduulu ku tawuni kanso ne ku disitulikiti nga basaba badduukirirwe wadde nga kibadde tekinnasoboka.

Abasomesa ku masomero agaakosebwa kibuyaga baalaze okunyolwa okulaba ng'amasomero gaabwe mu kadde kano nga gali mu mikono gya gavumenti tegalina zi kaabuyonjo ng'abayizi n'abasomesa beeyambira mu nsiko kye bagamba nti ssinga tekikolebwako mangu batuuse okufuna endwadde eziva ku bukyafu omuli cholera n'ebiddukano.

Ye omukulu w'essomero lya Kirewe P/S Christopher Obulu yategeezezza nti wadde nga ne kibuyaga nga tannabakuba ng'abayizi ebibiina tebibamala era nga bagatta ebisukka mu kimu, mu kiseera kino embeera yaabwe mbi nnyo olw'obutaba wadde n'emiti egiyinza okukola ebisiikirize ne basomesezaamu abayizi.

"Kati twekukuutiriza mu kkanisa abayizi bonna mwe tubasomeseza eky'okukola tetukirina era tusaba okusaba kwaffe kutunulwemu mangu," Obulu bwe yannyonnyodde.

Ssentebe wa disitulikiti y'e Buvuma, Alex Mabiriizi yategeezezza nti kyannaku okulaba nga disitulikiti ebadde mu kaweefube wakunoonya ensimbi okusimbira amasomero gano agaakatwalibwa gavumenti omwaka guno ebibiina ate kibuyaga n'asuula n'ebyo ebibaddewo sso nga zzo ssente ezibazimbira ebibiina ebipya tebannazifuna.

Mabiriizi yasabye woofiisi ya Ssaabaminisita wa Gavumenti, minisitule y'ebigwa bitalaze ne minisitule y'eby'enjigiriza okudduukirira abantu b'e Buvuma mu kaseera kano akazibu ke balimu.

Wabula ye omubaka wa palamenti omukyala ow'e Buvuma, Jennifer Nantume Egunyu yasobodde okudduukirira amasomero agaakoseddwa n'eminwe gy'amabaati 40 ku buli limu ssaako ensimbi enkalu akakadde kamu n'ekitundu nga zino yalagidde bazigulemu bbulooka bwe kinaggwa abaweereze sseminti basobole okuzimba waakiri ku buli ssomero ekizimbe kya bibiina bibiri abayizi basomeremu.

Nantume yategeezezza nti ebbanga ddene nga bakubira gavumenti omulanga ebataase ku bintu ebiyinza okusitula omutundo gw'eby'enjigiriza ku masomero omuli okubazimbira ebibiina ssaako zi kaabuyonjo wadde nga kibadde tekinnasoboka n'asaba abakwatibwako ku mulundi guno basitukiremu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omumyuka wa Pulezidenti wa FDC Joyce Ssebuggwawo (ow’okubiri ku ddyo) ng’atongoza akakiiko k’ekibiina akagenda okuyigga obululu bwakyo mu Kampala ne Wakiso.

FDC etongozza akakiiko akan...

FDC etongozza akakiiko akagenda okunoonyeza abantu baayo akalulu mu Kampala ne Wakiso n’etegeeza nti Col. Kiiza...

Shakira Bagume ng'ayonsa bbebi we

Laba okusoomooza bamaama ab...

Okuyonsa abaana kyankizo nnyo eri abaana abawere era Maama yenna ateekeddwa okuyonsa kino kisobozese omwana okukula...

Aba LDU bazzeemu okukola eb...

ABASERIKALE b’eggye ekkuuma byalo erya LDU, bazzeemu okukola ebikwekweto okufuuza abateeberezebwa okubeera abamenyi...

Poliisi ng'eggyawo omulambo gwa Mukiibi

Omusuubi w'e Nakulabye yeek...

OMUSUUBUZI w’e Nakulabye omututumufu aguze amafuta ga petulooli ne yeekumirako omuliro mu kinaabiro emisana ttuku...

Abeegwanyiza entebe y'obwap...

EBBUGUMU lyeyongedde ku kitebe ky’akakiiko k’ebyokulonda abantu abeegwanyiza entebe y’obwapulezidenti bw’eggwanga...