TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ababaka beemulugunya ku mivuyo mu nsasula ya pensoni

Ababaka beemulugunya ku mivuyo mu nsasula ya pensoni

Added 28th September 2018

ABABAKA ba palamenti beemulugunyizza ku mivuyo egiri mu nzirukanya y’ensimbi z’akasiimo k’abaali abakozi ba gavumenti ne bawummula (pensoni).

Bino baabituseeko oluvannyuma lw’okukyalira disitulikiti z’omu bukiikakkono bwa Uganda okuli Yumbe, Apac, Omoro, Otuke ne Adjuma  ne bagamba nti ensimbi ezitamala ezissibwa mu bajeti y’emisaala n’ebintu ebirala bye bimu ku byekiise mu ntereeza y’okusasula pensoni.

Ssentebe w’akakiiko ka palamenti akavunaanyizibwa ku gavumenti z’ebitundu Godfrey Onzima yategeezezza nti okusunsula abawebwa akasiimo kutwala ekiseera kino. Era nti abakozi ababa bakawummula emirimu basanga obuzibu okussibwa ku nkalala okusasulirwa pensoni.

Omubaka wa Mukono South,  Johnson Muyanja Ssenyonga yagambye nti abavunanyizibwa ku bakozi ba gavumenti abamu emirimu bagikola mu ngeri ya gadibe ngalye ne kizibuwaza eby’ensasula ya pensoni.

Ababaka bagambye nti gavumenti olumu erwawo okusindika ssente z’okusasula pensoni ne kiziretera okwetuuma. Ne bagamba nti beetaaga okwogera ne minisitule y’ensimbi okulaba ng’ebintu bitereera.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...

Lubega

Ebikonde sibyevuma - Lubega

OMUGGUNZI w'ehhuumi, Joey Vegas Lubega annyuse ebikonde oluvannyuma lw'emyaka 23 bukya alinnya kigere kye ekisooka...

Donald Trump

Trump alemeddeko ku by'akal...

EBY’AKALULU ka ssaayansi byongedde Donald Trump n’ategeeza nga bw’ali omusajja omukulu atayinza kukkiriza kuleka...

Paapa eyawummula Joseph Aloisius Ratzinger

Paapa Joseph Aloisius Ratzi...

PAAPA Benedict XVI eyawummula ng’amannya ge ag’obuzaale ye Joseph Aloisius Ratzinger muyi. Ratzinger 93 obulwadde...

Abaabadde balambula ppaaka ekolebwa.

Abakola ppaaka enkadde bale...

Bakansala ba KCCA abatuula ku kakiiko akateekerateekera ekibuga n’okuzimba nga bali wamu n’abakugu baalambudde...