
Ssaabalamuzi Bart Katureebe
Bino babyogeredde mu kakiiko ka Palamenti akavunaanyizibwa ku by’amateeka nga bawaayo ebirowoozo byabwe ku tteeka eryaleetebwa minisita avunaanyizibwa ku by’amateeka erigenderera okulaba ng’ekitongole ekiramuzi gye kiyinza okunywezebwa n’okwetengerera.
Dr. Livingstone Ssewannyana yategeezezza nti, baagala akakiiko kano okwongera okunyweza ebbago eryaleetebwa.
Baagala Ssaabalamuzi y’aba akulira akakiiko akavunaanyizibwa ku nsonga z’abalamuzi.
Mu kiseera kino kali wansi wa Pulezidenti.