
Museveni agamba nti omusujja gw’ensiri bulwadde obutta abantu musanvu buli kikumi mu ggwanga gusaanye okufumwa.
N’ategeeza nti wadde Bannayuganda 40 buli 100 abafa, bafa ndwadde zitasiigibwa (non communicable diseases) eby’okufa omusujja bisaanye okufumwa.
Yagambye nti amakubo mangi agakwatiddwa gavumenti okulwanyisa omusujja gw’ensiri omuli okufuuyira ebifo ensiri gye zizaalira, okugaba obutimba n’okukola langi ezizitta.
Bino Pulezidenti Museveni yabyogedde ali mu nsisinkano n’akakiiko ka Palamenti ya Bungereza akavunaanyizibwa ku kulwanyisa omusujja gw’ensiri akaakulembeddwa Alexander Trees akaabadde awamu n’aka Palamenti ya Uganda akavunaanyizibwa ku nsonga ze zimu akaakulembeddwa omubaka wa Jinja West , Moses Balyeku.
Ensisinkano yabadde mu maka g’obwapulezidenti e Ntebe. Omusujja gw’ensiri gusasaanyizibwa nsiri singa ziruma omuntu era obuwuka bwe zimusaamu bulumba ekibumba ne bwonoona obutafaali obukola omusaayi.
Museveni yagambye nti entegeka za gavumenti ez’okulwanyisa ensiri n’omusujja zeekulungulira ku bintu bingi kyokka tezissa nnyo ssira ku kukozesa ddagala lya DDT kuzifuuyira.
Ababadde mu nsisinkano basiimye Bungereza olw’okuwa Uganda obuwumbi 224 okulwanyisa omusujja guno.