TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Museveni akuutidde UWA ne Minisitule okutumbula ebyobulambuzi

Museveni akuutidde UWA ne Minisitule okutumbula ebyobulambuzi

Added 29th September 2018

Pulezidenti Museveni akuutidde Minisitule y’ebyobulambuzi wamu n’ekitongole Uganda Wildlife Authority (UWA) okulwana bw’ezizingirire batumbule ebyobulambuzi by’eggwanga.

Pulezidenti Museveni ng'ayisa abaserikale 487 abaakuguse mu kukuuma ebisolo

Pulezidenti Museveni ng'ayisa abaserikale 487 abaakuguse mu kukuuma ebisolo

Bino Museveni yabyogeredde ku ttendekero lya Paraa Ranger Training School erisangibwa mu ggombolola y’e Purongo mu disitulikiti y’e Nwoya ku mukolo kwe yasiibulidde abaserikale 487 abaakuguse mu kukuuma ebisolo.

“ Ebyobulambuzi byaffe mu makuumiro g’ebisolo ag’enjawulo tebifunye kutumbulwa kwa maanyi. Eno y’ensonga lwaki n’amawanga amatono agatalina kya kulaga eri balambuzi gatusingira wala kuba gafuna abalambuzi bangi. N’olwekyo Ministule y’Ebyobulambuzi wamu n’ekitongole kya UWA mukole kyonna ekisoboka okutumbula ebyobulambuzi nga mulaga ebyo ebyenjawulo Uganda by’esinza amawanga amalala,” Museveni bwe yategeezezza.

Yagambye nti Gavumenti egenda kukola enguudo zonna ezigenda mu makuumiro g’ebisolo okwanguyiza abalambuzi okutuuka wonna we baba baagadde okugenda awatali kutaataaganyizibwa.

Museveni yategeezezza nti ng’enteekateeka z’okuzzaawo entabula y’ennyonyi y’eggwanga ziwedde, abalambuzi tekijja kubeetaagisanga kusooka Ntebe , wabula bajja kugendanga butereevu e Gulu ne Soroti n’ebifo ebirala omuli amakuumiro g’ebisolo.

Yeebazizza aba UWA olw’amaanyi ge bataddemu okukuuma ebisolo n’okubitaasa ku bayizzi b’omu nsiko.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaana nga bagumbye ku

Bakubye ssengaabwe mu mbuga...

ABAANA batutte ssengabwe mu kakiiko k'eggombolola y'e Kyazanga nga bamulumiriza okubawuddiisa ne yezibika obukadde...

Komakech n'ebizibiti bye ku poliisi y'e Kawanda.

Abadde yakayimbulwa e Luzir...

Komakech ategeezezza nga bwabadde agenda okufa enjala nga yali asiiga njala z’abakazi wabula okuva bwe bayimiriza...

Testing video to see if it ...

aojdjadjdadojajdndn

Omusajja yansuulawo ng'omwa...

Nze Scovia Twetise 28, mbeera Bulamu-Gazaya, Texas. Mu 2005, nalina emyaka 15 omusajja yantuukirira n’ahhamba nti...

Eyagenda okusoma ddiguli e ...

Talina mpapula kw’akolera era agamba tasobola kudda kubanga bw’adda taddayo