TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bp. Kaggwa avumiridde enjawukana mu booluda oluvuganya Gavt.

Bp. Kaggwa avumiridde enjawukana mu booluda oluvuganya Gavt.

Added 30th September 2018

Omusumba w'essaza lya Masaka, John Baptist Kaggwa avumiridde enjawukana eziri mu bibiina by'obufuzi ebiri ku ludda oluvuganya gavumenti.

BYA PHIONA NANYOMO

Omusumba Kaggwa asinzidde ku kiggwa ky'omujulizi Bruno Sserunkuuma ku ssaza e Masaka mu kulamaga okubeerawo  buli mwaka.

Omusumba agambye nti okweyagaliza, obulyake, obutalowooza ku balala kyonoonedde  ddala eggwanga nga n'olwekyo abakulembeze basaanye beekubemu ttooki okulaba nga beemalamu empisa embi.

Omusumba avumiridde  n'abakulembeze abakozesa abantu kyokka ne bagaana okubasasula ekyo kye baba bakoleredde. 

Omusumba asabye Abakristu okulabira ku mujulizi Bruno Sserunkuuma eyeeresa buli kimu okuli omwenge n'abakazi n'aweereza Katonda.

Okulamaga kuno kwetabiddwako bannabyabufuzi abenjawulo okuli omubaka wa Palamenti ya East Africa, Fred Mukasa Mbidde, omubaka wa munisipaali y'e Masaka Mathias Mpuuga, meeya w'e Masaka; Godfrey Kayemba, ssentebe wa Masaka, Jude Mbabaali, Omubaka wa Kyotera omukyala, Robinah Ssentongo n'abalala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mwesigwa eyagudde mu bazigu mu Kampala ne bamukuba ne bamubbako n'essimu

Eyakedde mu Kampala bamukub...

POLIISI mu Kampala etandise omuyiggo okuzuula abavubuka abateega n'okukuba abantu abakeera mu kibuga okuyiiya....

Dr. George Kiwanuka

E Gomba bazuddeyo omulwadde...

ABATUUZE b'e Gomba basattira oluvannyuma lw'okuzuula omusuubuzi abadde abasuubulako ebirime ng'alina ekirwadde...

 James Kasozi Muwonhe ne muzzukulu we Allan Kazibwe

Omwana atemyetemye kitaawe ...

Omwana akkidde kitaawe n'amutemaatema ng'amulanga kugaana kumuwa mugabo gwe.

Minisita Anywar atya okutam...

AMAZZI g'ennyanja Nalubaale eyabooga ne gasalako oluguudo katono galemese Minisita okutuuka ku mwalo gw'e Kamuwunga...

Omusumba atonedde Poliisi e...

Ne yeeyama okwongera okuteekawo enkolagana eyamaanyi wakati wa poliisi n'omuntu wa bulijjo.