TOP

Ven. Kijjambu ayatulidde abakazi abeeraguza

Added 2nd October 2018

Ssaabadinkoni w’e Luzira, Ven. Isaac Membe Kijjambu yennyamidde olw’abakazi abeerabidde Katonda ne basalawo okweraguza nga banoonya ebyobugagga kye yagambye nti kye kimu ku bireese ebikolwa eby’ekko mu ggwanga.

 Rev. Fredrick Lubega ow’obusumba bw’e Kanyanya, Ven. Membe Kijjambu ne Rev. Muwonge nga basabira Abakristaayo e Kawanda.

Rev. Fredrick Lubega ow’obusumba bw’e Kanyanya, Ven. Membe Kijjambu ne Rev. Muwonge nga basabira Abakristaayo e Kawanda.

Bya PETER SSAAVA ne WASSWA B SSENTONGO
 
Ssaabadinkoni w’e Luzira, Ven. Isaac Membe Kijjambu yennyamidde olw’abakazi abeerabidde Katonda ne basalawo okweraguza nga banoonya ebyobugagga kye
yagambye nti kye kimu ku bireese ebikolwa eby’ekko mu ggwanga.
 
Ven Kijjambu yagambye nti abakazi bangi tebanyweredde mu ddiini gye baazaalirwamu ne basalawo okugenda mu ndala abamu ne basibira mu kusamira
ekintu ekikontana n’ebiragiro bya Katonda.
 
Bino yabyogeredde ku kkanisa ya St. James COU e Kawanda ku Ssande gye yakiikiridde omulabirizi we Namirembe Rt. Rev. Wilberforce Kityo Luwalira, ku
mukolo abakazi Abakristaayo aba CWF kwe baggaliddewo ebikujjuko by’okujaguza omuyima waabwe Maliyamu Mangdalen.
 
Yayongedde n’asoomooza abakazi ku nnyambala embi nga kati baagala engoye kumpi ne bayita bwereere.
Abamu ku bakazi Abakristaayo abeetabye mu kusaba kuno.

 

 
Era wano we yabasabidde okuba eky’okulabirako eri abakazi abalala ssaako n’abawala bakule nga batya Katonda ate nga bamuweesa ekitiibwa.
 
“Abazadde abamu bakugidde abaana baabwe okusembeza emitima gyabwe eri Katonda ne babaleetera okukyawa eddiini ne basalawo okukola ebikolwa
ebikyamu omuli obubbi, obutemu n’ebirala.
 
Bino biva ku butaba na nsonyi mu maaso ga Katonda.
 
Ye ssentebe w’abakazi Abakristaayo mu Bulabirizi bw’e Namirembe, Muky. Jane Male yennyamidde olw’obubenje obususse n’obutemu nga buva ku bugayaavu n’obutaba na kisa mu mitima gy’abantu.
 
Yagambye nti ekibiina ky’abakazi Abakristaayo kigenda kwongera okubuulira enjiri mu bantu basobole okweddako badde eri Katonda kuba y’ayinza byonna.
 
Mu kusaba kuno, Rev. Samuel Muwonge, akulira ebyenjiri mu Bulabirizi yasabidde abakazi abaayatudde obulokozi n’asaba Katonda abasobozese batambulire mu kkubo ettuufu kubanga ebisoomooza bingi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuzannyi wa Villa (ku kkono) n'owa Busoga United nga bagoba omupiira mu gwa liigi ogusembyeyo. Baagwa maliri, 1-1.

VILLA ETUNUZZA OMUDUMU MU UPDF

Leero (Lwamukaaga) mu Liigi (10:00); SC Villa - UPDF, Bombo Onduparaka - Vipers, Arua KCCA - Kitara, Lugogo Bright...

Cheptegei ng'ajaganya.

Likodi za Cheptegei zimweyi...

ENJOGERA egamba nti ‘Katonda nga yaakuwadde, n'ennume ezaala' etuukira bulungi ku muddusi Joshua Cheptegei. Ye...

Ivana Ashaba (mu maaso), owa Hippos ng'alemesa owa Burkina Faso okutuuka ku mupiira.

Hippos eyiseemu kavvu

ENKAMBI ya ttiimu y’eggwanga ey’abatasussa myaka 20 (Hippos), yeeyongeddemu ebbugumu, FUFA bwe baawadde doola 80,000...

Ttakisi mu paaka enkadde.

'Bbeeyi y'entambula esusse'

ABABAKA ba palamenti bennyamivu olw’ebisale by’entambula ebyeyongera okulinnya buli lukya ekinyigiriza abasaabaze....

Fr. Kabagira ne Fr. Mubiru nga baganzika ekimuli ku ntaana ya Ssaabasumba Joseph Kiwanuka mu Eklezia e Lubaga.

Bajjukidde Ssaabasumba Kiwa...

ABAKKIRIZA bajjukidde Ssaabasumba Joseph Nakabaale Kiwanuka eyafa nga February 22, 1966 n’aziikibwa mu Eklezia...