TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abooluganda lw'eyayiiriddwa butto batabukidde poliisi

Abooluganda lw'eyayiiriddwa butto batabukidde poliisi

Added 2nd October 2018

ABOOLUGANDA lw’omuvubuka omukazi gwe yayiiridde butto n’amwokya omubiri gwonna bagumbye ku poliisi y’e Kira oluvannyuma lwa poliisi okulemwa okumutwala mu kkooti avunaanibwe.

 Kiyemba apooca mu ddwaaliro e Kiruddu.

Kiyemba apooca mu ddwaaliro e Kiruddu.

Bya LAWRENCE KITATTA
 
ABOOLUGANDA lw’omuvubuka omukazi gwe yayiiridde butto n’amwokya omubiri gwonna bagumbye ku poliisi y’e Kira oluvannyuma lwa poliisi okulemwa
okumutwala mu kkooti avunaanibwe.
 
Teopista Nyadoi yakwatibwa poliisi y’e Kireka ku Lwokusatu nga kigambibwa nti yayiira bba Hasan Kiyemba gw’alinamu n’omwana butto ayokya.  Bombi batuuze mu zooni ya Kireka C.
 
Abooluganda lwa Kiyemba nga bakulembeddwa Shafi c Kasasa ku Mmande baakedde ku kkooti y’e Kira oluvannyuma lw’okufuna amawulire nti omukyala eyatuusa
ku muganda waabwe ekibambulira atwalibwa mu kkooti, wabula baakanze kulinda nga tebamulabako.
 
Oluvannyuma lw’okulindira ebbanga nga tebamulaba beesitudde ne bagenda mu ofiisi y’omuwaabi wa Gavumenti naye atuula e Kira kyokka bwe baatuuseeyo
ne babategeeza nti fayiro y’omusango yabadde tannaba
kugifuna.
 
Bano olwavudde ku kkooti baagenze ku poliisi ya Kira Divizoni kyokka bwe baatuuse we babuuliza abaserikale ne babategeeza ng’omusibe gwe baagala okulaba bw’ataliiwo ekyabaggye mu mbeera ne babategeeza nga bwe batagenda kuva ku poliisi okuggyako nga bafunye ekituufu ekigenda mu maaso ku musango gwabwe.
 
OMULWADDE ALAAJANYE
Hasan Kiyemba ali mu kujjanjabibwa e Kiruddu gye yasangiddwa ku Mmande yategeezezza nti muganzi we Nyadoi okumuyiira butto yamusanga ku kitanda kwe yali yeebase n’omwana waabwe.
 
Agamba nti yamumuyiira omubiri gwonna era ekyamuyamba amaaso obutavaamu yali azibirizza.
 
Yategeezezza nti olwamala okumuyiira butto yadduka mangu n’asibawo oluggi.
Kiyemba yakuba enduulu bamudduukirire ng’omukazi ali wabweru aleekaanira waggulu nga bba bw’abadde ayagala okumukuba.
 
‘ Yansibira mu nnyumba olwo abaali bazze okumpa obuyambi ne baddayo’. Oluvannyuma muliraanwa n’abakakiiko baatuukawo kyokka n’atayambibwa.
 
Kiyemba yasabye aboobuyinza n’abalwanirira eddembe ly’obuntu okuvaayo bamuyambe asobole okufuna obwenkanya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Joe Biden ng'alayira nga pulezidenti wa Amerika owa 46.

Joe Biden alayiziddwa nga ...

WASHINGTON Amerika Munna DP, Joe Biden alayiziddwa nga pulezidenti wa Amerika owa 46,  n'asikira Donald Trump...

Omusumba eyawummula John Baptist Kaggwa

Kitalo! Omusumba w'Essaza l...

Kitalo! Omusumba w'Essaza ly'e Masaka eyawummula John Baptist Kaggwa afudde Corona. Omusumba Kaggwa abadde amaze...

Omusumba w'Abasodookisi any...

Mu bantu abatenda ssennyiga omukambwe mwe muli Omusumba w’Abasodookisi Silvestros Kisitu atwala kitundu ky’e Gulu...

Eddwaaliro lya Mukono ng’abalwadde balindiridde obujjanjabi.

Omujjuzo mu ddwaaliro e Muk...

Abalwadde n’abajjanjabi mu ddwaaliro e Mukono beeraliikirivu olw’omujjuzo oguyitiridde gwe bagamba nti gwandibaleetera...

okulonda e Lwengo tekujjumb...

OKULONDA mu bitundu bye Lwengo kubadde kw'abitege nga ebifo ebironderwamu abalondesa babadde bakonkomalidde mu...