TOP

Gavumenti okuleeta ebizibiti mu gwa Bobi

Added 2nd October 2018

OMULAMUZI Yunus Ndiwalana owa kkooti ento e Gulu alagidde bambega ba gavumenti abali mu musango gw’omubaka wa Kyadondo East, Robert Kyagulanyi (Bobi Wine) ne banne 35 okujja bannyonnyole kkooti amayitire g’ebizibiti ebyakwatibwa n’abawawaabirwa.

 Bobi Wine (ku ddyo) ng’atuuka ku kkooti e Gulu.

Bobi Wine (ku ddyo) ng’atuuka ku kkooti e Gulu.

BYA EDWARD LUYIMBAAZI
OMULAMUZI Yunus Ndiwalana owa kkooti ento e Gulu alagidde bambega ba gavumenti abali mu musango gw’omubaka wa Kyadondo East, Robert Kyagulanyi (Bobi Wine) ne banne 35 okujja bannyonnyole kkooti amayitire g’ebizibiti ebyakwatibwa n’abawawaabirwa.
 
Kino kyaddiridde looya w’abavunaanibwa, Asuman Basalirwa okwemulugunya eri kkooti n’agitegeeza ng’abajaasi mu ggye erikuuma pulezidenti erya SFC bwe baakozesa amasimu g’abawawaabirwa okuli ey’omubaka Kyagulanyi, omubaka wa Munisipaali y’e Jinja Paul Mwiru n’ey’omubaka wa Ntungamo Munisipaali, Gerald Karuhanga okukubira abantu ab’enjawulo nga beefuula bannannyini masimu.
 
Basalirwa yayongeddeko nti, abawawaabirwa bwe baali bakwatibwa baggyibwako ssimu zaabwe kyokka tezibaddizibwanga ssaako emmotoka y’omubaka Kyagulanyi ekika kya Tundra nayo yatwalibwa.
Kuno baagattako n’okutwala kompyuta z’ababaka ez’omu ngalo (ipad) ezaabaweebwa palamenti okubayambako mu kukola emirimu gyabwe, bwatyo n’asaba kkooti eragire ebintu ebyo okuddizibwa abawawaabirwa.
 
Wabula omulamuzi Ndiwalana agaanyi okukkiriza ebizibiti bino okuddizibwa abawawaabirwa n’alagira bambega abali mu kunoonyereza ku musango basooke bajje amale okuwulira oludda lwabwe olwo asooke asalewo ekiddako.
 
Kyokka, Basalirwa ayongedde okwemulugunaya nga bwe batakkirizibwa kulaba basibe okuli kanyama wa Bobi Wine, Edward Sebuwufu (Eddie Mutwe) ne Musa Ssenyange, amangu ago omulamuzi n’alagira ekitongole ky’amakomera e Gulu okukkiriza abasibe okulaba balooya baabwe.
 
Basalirwa ategeezezza kkooti nti, oludda oluwaabi okumala omwezi nga terunnaba kuleeta bujulizi mu kkooti kabonero akalaga nti tebalina bwetaavu kutwala musango guno mu maaso.
 
Wabula omuwaabi wa gavumenti Julius Ochen, yawakannyiza ebigambo bya Basalirwa n’agamba nti, bakyalina obujulizi bwe bakyanoonya n’asaba kkooti okubawaayo ekiseera bajjuze fayiro yaabwe.
 
Mu mbeera eno, Basalirwa we yasabidde kkooti ekiseera kino kibeera kya myezi esatu kubanga abawawaabirwa bava wala okujja mu kkooti okugeza e Kampala ne Arua, ssinga ekiseera kiba kimpi baba bajja kutaataaganyizibwa naddala mu ssente z’entambula.
 
Omulamuzi Ndiwalana yawuliriza okusaba kwa Basalirwa n’agwongerayo okutuusa nga December 03, 2018. Wabula Eddie Mutwe ne Ssenyange baagaaniddwa okweyimirirwa.
 
EBY’OKUDDA KWA ZAAKE
Ebyo nga bikyali awo, omubaka wa Mityana Munisipaali Francis Zaake takyakomyewo wiiki eno nga bwe kyabadde kisuubirwa.
 
Zaake eyagenda mu Buyindi okujjanjabibwa abadde asuubirwa okukomawo wiiki eno kuba alina okweyanjula ku kitebe kya bambega ba Poliisi e Kibuli ku Lwokuna nga October 3, 2018.
 
Lwe lunaku poliisi lwe yamuwa ng’emukkiriza okugenda okujjanjabibwa. Kyokka ensonda mu famire ya Zaake zaategeezezza nti, wadde baabadde baagala omuntu waabwe akomewo obutasukka Lwakusatu kyokka tekijja kusoboka.
 
Wadde ng’ekiseera kino omulwadde tali mu mbeera mbi, naye abasawo baamukebedde ne bawabula nti balindeko okutuusa October 9, 2018 lwe banaalaba oba ng’anaasiibulwa.
 
Olwo ensonga z’okweyanjula ku poliisi ne bazikwasa looya we okuzikolako.
Poliisi yaggula ku Zaake emisango ebiri okuli, okutoloka ku poliisi mu Arua awamu n’ogw’okulya mu nsi olukwe.
 
Zaake okugenda e Buyindi yasooka kugaanibwa poliisi nga bagamba nti abasawo ba Gavumenti balina kusooka kumwekebejja.
 
Oluvannyuma baamwekebejja kyokka ne bategeeza nti embeera y’obulami bwe yalina teyeetaagisa kutwalibwa bweru.
 
Famire ye yasalawo okumusasulira ssente z’obujjanjabi oluvannyuma lwa Gavumenti okugaana omuzimuwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu

Namasole wa Ssekabaka Mwang...

OLWALEERO Mariam Nampewo omusika wa Majeeri Lunkuse Namasole wa Mwanga II lwe bamuyingizza mu Lubiri lwe e Mpererwe...

Poliisi erung'amizza ku bib...

OMWOGEZI wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategeezezza nti poliisi ssi yaakukoma kuvunaana bantu abazzizza obusango...