
Minisita Mukwaya ng'ayogera eri abakulembeze ne bammemba b'ekibiina ky'abakyala ekya Ffenna lye kkubo e Kyampisi. (EKif. Henry Nsubuga)
Bano abatuukidde mu kafubo n’abakozi ba gavumenti ku disitulikiti y’e Mukono ssaako bannabyabufuzi abeeyawuddemu ebibinja ne batandika okutalaaga amagombolola ag’enjawulo ku Lwokubiri.
Ekibinja minisita Mukwaya kye yabaddemu kyatandikidde mu ggombolola y’e Kyampisi ng’eno ssentebe w’eggombolola Ibrahim Kabambwe yatandise na kulaga kunyolwa olw’okuba ng’okuva omwaka gw’eby’ensimbi 2014-2015 enteekateeka ya YLP lwe yayanjulibwa e Mukono, eggombolola enol we yasembayo okuganyulwa mu nteekateeka ng’emyaka egizze giddirira ebibiina by’abavubuka okuva e Kyampisi bizze bisuulibwa mu kasero.
Wabula ono yabadde tannammaliriza ssentebe w’abavubuka ku disitulikiti Abdul Mutesaasira n’amulya ekimu ng’agamba nti ebibiina by’abavubuka ebisinga ebyava mu ggombolola eyo ensimbi byazibulankanya oluvannyuma lw’okuba nga byali bya bantu buntu abaakozesa obukozesa abavubuka abalala okusobola okufunirako ssente.
“Era nzize nneenyigira butereevu mu kukwata bammemba b’ebibiina ebyo naye nga batutegeeza lunye nga bwe bataafuna ku nsimbi. Eky’ennaku abamu ku baakola olukujjukujju okunyaga ssente bakulembeze bannaffe era kati ne bwe tubayita mu nkiiko tebakyajja,” Mutesaasira bwe yannyonnyodde.
Ne kalabaalaba w’enteekateeka ya YLP, Sultan Bagalaalina ng’asimbye mu mugongo gwa Mutesaasira yagambye nti ebibiina by’abavubuka ebyasinga okugotaanya enteekateeka by’ebyo ebyasookera ddala okufuna ensimbi mu mwaka 2014-15 bwe byategeeza ng’ensimbi ezo bwe zaabaweebwa ng’akasiimo k’okuwagira ekibiina kya NRM ne pulezidenti Yoweri Museveni.
Bagalaalina yalaze okunyolwa okulaba ng’ebibiina by’abavubuka mu disitulikiti endala okuli Wakiso ne Kampala ebyali bibulankanyizza ensimbi mu ngeri y’emu bbyo bwe baabiteekako amaanyi baagonda ne batandika okusasula naye ng’ab’e Mukono wadde nga babasibyeko ne mu makomera na buli kati bakyeremye.
Kigambibwa nti abamu ku bakulembeze mu bibiina ebyafuna ensimbi ku mulundi ogwo, abamu baazikozesa okwekubako enfuufu, abalala baawasaamu abakazi sso n’abamu okuli abava mu ggombolola y’e Kkoome baazikozesa okugoba ku bipapula ne bagenda ebweru w’eggwanga okukuba ebyeyo.
Ye ssentebe wa disitulikiti y’e Mukono, Andrew Ssenyonga yagalaze okunyolwa okulaba ng’ensimbi ezaali ziweereddwa abavubuka okwekulaakulanya n’okwejja mu bwavu ate bangi ku bano olw’okuzikozesa obubi zaabafuula baavu n’okusinga we baali nga kati ne bwe bakwatibwa ne basibibwa mu makomera tebalina gye bayinza kuziggya.
Wabula ye Mukwaya bano yabaanukudde n’agamba nti tayinza kukkiriza nti ensimbi z’abavubuka zabbibwa era n’abazibulankanya ne basigala nga bayinaayina.
“Ebibiina bino byava ku magombolola nga bassentebe bakakasizza nga bwe biriyo era nti bammemba mwebali, n’abakozi ba gavumenti ku magombolola okuli abasituzi b’embeera n’abaami ab’amagombolola ne bateekako emikono. Sisobola kukkiriza nti ebibiina ebyo byali byampewo. Njagala abakulembeze be bamu batwale obuvunaanyizibwa okunoonya abavubuka abo babanje ssente za gavumenti, bwe kinagaana mmwe mujja okuzisasula,” Mukwaya bwe yategeezezza.
Mukwaya yalambudde okusinga bibiina by’abakyala ebyafuna ensimbi mu nteekateeka ya UWEP ng’era bino byasangiddwa ng’ensimbi bye zaafuna ddala ziriko bye zaakola nga n’abamu bafunvubidde mu kuzisasula.
Mu ggombolola y’e Kyampisi Mukwaya yalambudde ebibiina okuli Ffenna lye kkubo Women’s Group abaagula ttenti n’obutebe nga kati bawola n’ensimbi, Women of Destiny Women’s Group ekirunda embizzi, Tukolere wamu women’s Group ekisangibwa ku kyalo Namubiru mu ggombolola y’e Nama ssaako eky’abavubuka kyokka ekya Misindye Victors Youth Group nga zino kyafuna obukadde 7 ezaali ez’okulunda enkoko.
Ssentebe waakyo, Jonah Buyinza yagambye nti oluvannyuma lw’enkoko okulumbibwa endwadde ne zifa, baasalawo obusente obutono bwe baali bafunye okubuzza mu kulunda embizzi ng’era waakiri zino zirina we zibatuusizza.
Yagambye nti baweza embizzi 37 nga n’ensimbi ze baafuna baakazzaayo obukadde 2.