TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ssente z'amabugo ga Museveni zitabudde bannamwandu b'abadde ssentebe wa NRM e Wakiso

Ssente z'amabugo ga Museveni zitabudde bannamwandu b'abadde ssentebe wa NRM e Wakiso

Added 3rd October 2018

“Temugenda nga temutuwadde ssente zaffe kubanga tetumannyi binaddirira nga muvuddewo,” bannamwandu bwe baagambye.

BYA JOB NANTAKIIKA

ABADDE ssentebe w’ekyalo Naluvule era abadde ssentebe wa NRM mu ggombolola y’e Wakiso Mumyuka, Fred Mulindwa aziikiddwa mu bitiibwa by’ekibiina kya NRM.

Mulindwa yafa kibwatukira ku Lwomukaaga era waasooseewo okusaba mu kkanisa ya St. Paul’s Church of Uganda e Kayunga ku Lwokubiri.

Omukungubazi omukulu yabadde ssaabawandiisi w’ekibiina kino Justine Kasule Lumumba.

Lumumba yeetabye mu kusaba kuno nga yasinzidde wano n’ategeeza abantu nti omugenzi abadde ayagala ekibiina kye.

Yennyamidde kubanga olumbe olwatutte Mulindwa telwawa bantu be mukisa kumujjanjaba.

Mulindwa waakujjukirwa ng’omuntu abadde ayaniriza buli omu era Lumumba yasabye aba famire ye naddala abaana okumuyigirako.

Wabula Lumumba yalumbye bannabyabufuzi naddala abooludda oluvuganya abalwanira ku bafu.

Yasinziidde wano n’ayanjula amabugo ga bukadde 10 okuva ewa ssentebe w’ekibiina Pulezidenti Museveni.

Kyokka yalemereddwa okugaba ssente zino mu kkanisa olwa bannamwandu abangi nga yeewala okulwanagana okwandibaddewo.

Mulindwa yali musajja wa mpeta nga yagikuba mukyala we omukulu Idah Mulindwa wabula kuno yayongerako abakyala abalala mukaaga nga kuliko ne mukyala muto asigadde n’abaana abato.

OKUGABA SSENTE ZA MUSEVENI

Lumumba yalemereddwa okugaba ssente era yazikwasizza omwogezi w’ekibiina Rogers Mulindwa eyeegattiddwaako ssentebe w’ekibiina kino mu ggombolola y’e Wakiso Abdul Kiyimba, okukola omulimu guno.

Mulindwa yabadde ayagala ssente kuzikwasa omuntu omu owa famire, wabula kino kyatabudde bannamwandu ne basaba abakungu okuvaawo nga ssente zino zigabiddwa.

“Temugenda nga temutuwadde ssente zaffe kubanga tetumannyi binaddirira nga muvuddewo,” bannamwandu bwe baagambye.

Oluvannyuma buli nnamwandu yafunye ssente okusinziira ku baana be yazaala mu maka ga Mulindwa nga buli mwana yafunye emitwalo 506,000/=. Bannamwandu abaazaala abaana 4 baafunye obukadde obusukka mu 2. Bannamwandu abaalabidwaako baabadde 7 n’abaana 15 naye okusinziira ku muganda w’omugenzi Mulindwa Jr. basuubira bamulekwa okweyongerako.

Ssentebe wa NRM mu ggombolola y’e Wakiso Abdul Kiyimba yasabye abaana okubeera obumu baleme kwetaba mu njawukana za bannyaabwe.

Mulindwa yaziikiddwa ku kyalo Makoba e Busunju mu disitulikiti y’e Mityana.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...

Abazigu balumbye ekigo ne b...

Abazigu ababadde n'ebijambiya, emitayimbwa saako ennyondo bazinze ekigo kya Kabulamuliro Catholic Parish, ne bamenya...