
Ssaabawolereza wa Buganda, Daudi Mpanga ng'aliko by'atangaaza bannamawulire oluvannyuma lw'okubasisinkana ku nsonga z'omusango gw'ettaka Kabaka gw'awangudde nga October 1, 2018.
SSAABAWOLEREZA wa Buganda, Daudi Mpanga agambye nti enkola ey’okutwalanga Kabaka mu kkooti enzungu esaanye ekomezebwe kubanga Obwakabaka bulina enteekateeka z’ennono eziyitibwamu okugonjoola obutakkaanya bwonna obubeera bubaluseewo.
Mpanga yanokoddeyo kkooti ya Kisekwa ekozesebwa okutawulula abalina enkaayana z’ebika n’agamba nti tewali nsonga etwala muzzukkulu wa Buganda mu kkooti enzungu ng’eno weeri era yerina obumanyirivu ku nsonga z’ebika.
Enkola endala gye yanokoddeyo, ye y’okuyita mu bakulu mu bika, amasaza ssaako ne baminisita okutuusa ensonga ezitali zimu ezibanyiga.
Bino yabyogedde oluvannyuma lwa kkooti ejulirwamu okugoba okusaba Kkooti Enkulu kwe yali ewadde Munnamateeka Mabiriizi Kiwanuka nti aweebwe akawunti okuterekebwa ensimbi eziva mu ttaka ly’Obwakabaka.
“Mabiriizi munnaffe nga yeddira Kkobe, atutte emisango mingi mu kkooti ng’awawaabira Kabaka ku nsonga ez’enjawulo kyokka nga tulina engeri eziwerako omuntu okwemulugunya kwonna awatali kugenda mu kkooti nzungu. Kino kityoboola ekitiibwa kya Kabaka n’Obwakabaka okutwalira awamu era tusaba ekintu ky’okulaba Kabaka mu kamwa kikome. Yenna alina ensonga emunyiga esaanye akozese emikutu gy’ennono gye tulina okutuusa ensonga ze,” Mpanga bwe yategezezza.
Ensala y’Abalamuzi Egonda Ntende, Hellen Obura ne Ezekiel Muhanguzi gye baafulumizza ku Mmande yalaze nti ebiwandiiko Mabiriizi by’asaba tebirina ngeri gye bikwataganamu n’omusango gwe yawaaba kuba n’omusango gwe yawaaba nti Kabaka anyigiriza abantu bw’abasaba ssente ku ttaka ly’Obwakabaka ng’ate akuuma likuume, tegulimu kinyusi kubanga talaga baani banyigirizibwa ng’era be bamutuma okubakiikirira.
Ku kino Mpanga we yasinzidde n’ategeeza nti ebiseera bingi ebyonooneddwa ssaako n’ensimbi mu kuwoza ensonga ennyingi Mabiriizi ze yayingiza mu musango omukulu ogw’ettaka nga zino zisukka 20 ng’ate wandibaddewo ebirala bingi ebyandibadde bikolebwa.
Kkooti enkulu esuubirwa okuddamu okuwuliriza emisango emirala Mabirizi gye yawaabira Kabaka ku ttaka wakati wa October 22 ne 24, 2018.