TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Engeri kamera gye zaakwata abatta Muhammad Kirumira

Engeri kamera gye zaakwata abatta Muhammad Kirumira

Added 4th October 2018

ABASAJJA abaakuba Muhammad Kirumira amasasi tebaategeera nti ku kizimbe ekiriraanye we baamuttira kiriko kkamera! Ekizimbe kino ekitunda ebizimbisibwa (Hardware) kiriko kkamera bbiri ku mwaliiro ogusooka nga zitunudde mu luguudo.

 

Emu ekwata ebiva e Kampala okudda e Mityana ate endala ebiva e Mityana okudda e Kampala.

Omugenzi Kirumira yali abuzaayo mmita nga 20 okutuuka ku kizimbe kino n’ayimirira.

Wano omuwala Resty Naalinya Mbabazi we yamusanga era aba yaakalinnya emmotoka ne babakuba amasasi, abatemu ne babulawo.

Omutemu omu eyali ayambadde ekkanzu yakutama ku bboneti y’emmotoka ya Kirumira nga yeefudde agikanika omulala n’afukirira abaali munda amasasi.

Bino okugenda mu maaso nga kkamera etunudde mu lidda e Kampala ekwata buli kigenda mu maaso.

Abatemu olwamaliriza baabuukira pikipiki abaabalaba gye bagamba nti yali efaanana n’eya poliisi ne beeyongerayo ku lidda e Kampala.

Bambega okuva mu kitongole ky’amagye ekya CMI bwe baatuuka mu kifo kino ekiro ekyo beetegereza nga waliwo kkamera ku mabbali ne bamanya nti omulimu gugenda kubanguyira.

Ensonda mu bambega zaategeezezza nti baatandika okunoonya nnyini kizimbe kino era enkeera ne bamufuna. Baamulagira okubawa ebifaananyi byonna kyokka baagenda okuzuula ng’ebimu byasanguddwa.

Kigambibwa nti nnyini kizimbe kino yakissaako kkamera okumuyamba okulondoola bizinensi ye kuba tatera kubaawo nga byonna ebigenda mu maaso aba abirabira ku ssimu ye ng’ayita ku kkamera zino.

Wabweru w’ekizimbe kino waliwo ebizimbisibwa omuli emitayimbwa n’ebirala ebisula wabweru naye teri abikwatako olw’okutya kkamera zino.

Bambega eggulo bwe baatutte omu ku bagambibwa okwenyigira mu lukwe lw’okutta Kirumira, yabatutte mu bifo bisatu okuli we battira Kirumira okumpi ne kalina, ku kifo we booleza emmotoka n’okuzisimba ekiyitibwa Dannis ssaako ne ku nkulungo y’e Busega ku ssundiro ly’amafuta eriyitibwa Mogas awagambibwa nti abatemu bwe baamala okutta, awo we baasibira ne beesaanya ng’awatali kibaddewo ne badda ku byabwe.

Mu kutambuza omusajja ono, bambega baatutemezzaako nti oluvannyuma lw’okufuna ebifaananyi bya kkamera, baabitwala mu tekinologiya asingako ne bakomyawo ebyo ebyali bisanguddwa olwo ne beetegereza ne balaba bino:

Obudde bulaga nga bwali buzibye era ng’abantu tebalabika nnyo okuggyako amataala g’emmotoka ezaali ziyitawo n’agali ku bizimbe ebiriraanyewo.

Waliwo abasajja abaatuukira ku pikipiki ennene ng’atudde emabega ayambadde ekikooti ekiwanvu ng’atadde akakookolo ku mutwe. Ono mu misoni yonna tategeerekeka era ye yakuba amasasi. Bambega baakamufunako erinnya limu lya Hamza.

Eyali amuweese ng’ali mu kkanzu n’ekkooti yali talina kye yeebisse era ono alabika kyokka si bulungi nnyo.

Abeebyokwerinda balumiriza nti ono ye Mutabbuliiki Abdul Kateregga eyattiddwa e Namung’oona.

Waliwo n’abalala abalabika okutambulira ku bodaboda nga beebikkiridde ebikooti oluvannyuma ne babulirayo kkamera n’ebabulwa.

Bambega bagamba nti omu ku bano y’oyo Muzamiru Kiyemba eyatwaliddwa ku Mmande mu kifo kino abaddiremu bye yalaba ku lunaku Kirumira lwe yattibwa.

Ensonda mu CMI zigamba nti ebifaananyi bye baafunye ku katambi kano yadde tebinnabatuusa ku yakubira ddala masasi, kye bibatuusizzaako waliwo essuubi nti abatemu bali kumpi kubamalawo.

BALAZE KATEREGGA BYE YAKOLA MU ‘MISONI’ ENO

Omu ku bakwatiddwa ku by’okutta Muhammad Kirumira yabuulidde abaserikale engeri gye baalukamu olukwe n’omulimu buli omu gwe yakola.

Muzamiru Kiyemba ku Mmande bwe yatutte abaserikale okuli abapoliisi ne CMI e Bulenga mu kifo we baakubira Kirumira amasasi, kigambibwa nti yabagambye nti baamala ebbanga nga balondoola entambula za Kirumira.

Ye (Muzamiru Kiyemba) omulimu gwe gwali gwa kuketta ntambula ya Kirumira ku lunaku olwo nga September 8, 2018 era yamulondoola okuva ku makya n’emikolo gy’okwanjula ebiri gye yaliko.

Ng’amaze okukakasa nti Kirumira bw’anaava ku mikolo gy’okwanjula ogwokubiri ku lw’e Ntebe, yali adda wuwe era bwe kyali.

Muzamiru kigambibwa nti yannyonnyodde nti Abdul Kateregga yalina emirimu ebiri okuli okuvuga mmotoka eyaliko ebiwoggana n’ennyimba eziyimbira waggulu nga kigambibwa nti yali ayagala kuwugula bantu obudde bwe buwungeera bagende mu bivvulu mu Bulenga mubeemu abantu batono.

Nti bwe yamala okuvuga mmotoka n’abaako w’agisimba n’alinda obudde okuziba. Bamulumiriza okuvuga pikipiki eyaliko omutemu era ne yeefuula akanika mmotoka ya Kirumira ng’abuzaabuza oluvannyuma era ye yavuga omutemu n’akomawo e Bulenga ku ssundiro ly’amafuta.

Kateregga eyakubiddwa amasasi abadde akolera ku Nakivubo Road gy’abadde avugira mmotoka ezeetikka ebyamaguzi (kabangali) era nga banne b’abadde akola nabo yali yabategeezaako nga bwe yali omuyeekera wa ADF wabula n’alokoka n’aweebwa ekisonyiwo.

Mu kutwala Kiyemba e Bulenga, aba CMI baasoose kumutwala ku CPS mu baserikale abanoonyereza ku buzzi bw’emisango mu ofi isi ya Kampala n’emiriraano n’akola siteetimenti oluvannyuma ne bamutwala mu bukuumi.

Tekinnakakasibwa oba Kiyemba bye yabuulidde abaserikale bituufu oba yabadde yeetaasa n’apangawo obujulizi ng’akitegedde nti byonna by’anaayogera ku Kateregga tewali ajja kubiwakanya kuba yabadde amaze okuttibwa.

Obutuufu n’obukyamu bw’ebigambo bya Kiyemba, CMI ekyabinoonyerezaako.

ABASSE KATEREGGA BAASOOSE KUMULAALIKA - MWANNYINA

Omu ku bannyina b’omugenzi Kateregga eyattiddwa amagye, ataayagadde kumwatuukiriza mannya yategeezezza Bukedde nti, omuntu waabwe yamala wiiki nnamba ng’atambulira mu kutya okutagambika olw’okutiisibwatiisibwa okuttibwa.

“Kateregga yantuukirira n’ampa amaloboozi ko n’obubaka bwe yakwata ng’abantu b’atamanyi bamwewerera okumutta essaawa yonna kyokka nga tebamubuulira nsonga ebaleetera kukola kino,” Mwannyina bwe yategeezezza.

Yayongeddeko nti, olw’okutya okungi, mwannyina yatuuka n’okwesonyiwa eby’okuvuga emmotoka ng’atya nti abatemu baali bayinza okumugwikiriza ne bamukuba amasasi nga bwe kyali ku mugenzi ASP Muhammad Kirumira, AIGP Andrew Felix Kaweesi, Maj. Muhammad Kiggundu, n’abalala.

Nti yagenze okufa ng’egimu ku mikwano gye, gyebuuza ekyamutuukako naye nga tabanyega ng’era abadde yasalawo kusiibanga ku dduuka lya mukazi we Mariam Kasujja, erisangibwa ku Luyinja e Namung’oona.

BAKUBA KATEREGGA EBIFAANANYI

Kigambibwa nti nga tebannamutta, bakkomando b’amagye okuva mu kitongole kya JATT, CMI, ISO ne poliisi baasoose kumusindikira bambega ku dduuka lya mukazi we we yabadde atudde ne bamukuba ebifaananyi by’obujulizi okukakasa nti ye muntu gwe baabadde baagala.

Ebifaananyi baabisindikidde bakama baabwe ne bakakasa nti ye Kateregga omutuufu. Amawulire g’okuttibwa kwa Kateregga olwafulumye abeebyokwerinda kwe kuddira ebimu ku bifaananyi bye baamukuba nga tannafa n’oluvannyuma ng’afudde, ne babiwa emikutu gy’amawulire egy’enjawulo.

AMAGYE GAYIGGA MUKAZI WE OMUTO

Kigambibwa nti, Kateregga abadde alinayo omukazi omulala gwe yapangisiza mu bitundu by’e Bwaise mu munisipaali y’e Kawempe mu Kampala, wabula nga batono ku booluganda lwe n’emikwano, abamumanyi.

Ensonda mu bambega ziraga nti, ono abadde yaakamuzaalamu abaana basatu. Basuubira okubaako ebyama bye bamuggyako.

Mmotoka abaserikale gye baayazizza. Kigambibwa nti okuva Kirumira lwe yattibwa, tevanga mu paakingi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...

Abazigu balumbye ekigo ne b...

Abazigu ababadde n'ebijambiya, emitayimbwa saako ennyondo bazinze ekigo kya Kabulamuliro Catholic Parish, ne bamenya...