TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Embeera ya maama w'omuwala eyattibwa ne Kirumira eyongedde okwonooneka

Embeera ya maama w'omuwala eyattibwa ne Kirumira eyongedde okwonooneka

Added 4th October 2018

Okusinziira ku mukulu w’omugenzi Mbabazi, Florence Nabateregga, batandise kaweefube w’okunoonya ssente ezitwala maama waabwe mu ddwaaliro afune obujjanjabi oluvannyuma lw’okugaana okulya ng’alogootana muwala we, Mbabazi gwe bagamba nti gw’abadde asinga okukolagana naye.

 Mayinja ne maama w'omgenzi Mbababazi eyalwala omutwe (ku ddyo) ne muwala we Nabateregga e Mpanga mu Gomba.

Mayinja ne maama w'omgenzi Mbababazi eyalwala omutwe (ku ddyo) ne muwala we Nabateregga e Mpanga mu Gomba.

FAMIRE  y’omuwala eyattibwa ne Kirumira bali mu kunoonya ssente zitwala maama w’omugenzi Resty Mbabazi mu ddwaaliro olw’embeera ye eyeeyongedde okuba obubi.

Embeera ya Frediana Kyalimpa maama w’omugenzi Resty Nnalinya Mbabazi, 25 eyattibwa n’eyali DPC wa Buyende, Muhammad Kirumira yeeyongedde okubeera embi ekiwalirizza aboolugandalwa nga bakulembeddwaamu bba, Alozio Kaitale (Taata w’omugenzi) n’abaana be okusalawo okumutwala mu ddwaaliro ly'abalwadde b’emitwe afune obujjanjabi.

Okusinziira ku mukulu w’omugenzi Mbabazi, Florence Nabateregga, batandise kaweefube w’okunoonya ssente ezitwala maama waabwe mu ddwaaliro afune obujjanjabi oluvannyuma lw’okugaana okulya ng’alogootana muwala we, Mbabazi gwe bagamba nti gw’abadde asinga okukolagana naye.

Baategeezezza nti asula ababanja omwana we wabula ekyasinze okubatiisa kwe kugaana emmere ng’agamba nti babala kumulaga muwala we Mbabazi alyoke addemu okulya ekibeeraliikirizza nti naye ayinza okubafaako. Kaitale kitawe w’omugenzi asabye abazirakisa okubadduukirira ku mbeera eno n’ategeeza nti embeera eno evudde ku muwala we Mbabazi eyali abayamba okujjanjaba nnyina kufa.

Gye buvuddeko omuyimbi Ronald Mayinja yaddukirira famire eno n’ebikozesebwa mu bulamu obwabulijjo okuli sukaali, sabbuuni, omuceere n’ebirala n’abawa ne ssente zibayambeko okujjanjaba maama w’omugenzi.

Mayinja yasabye gavumenti n’ebitongole ebigabi by’obuyambi okudduukirira famire eno nga bwe bazze bakola ku famire z’abantu abazze battibwa nga Mbabazi,  kubanga yaleka abaana babiri nga beetaaga okusoma gattako maama w’omugenzi ayalwala omutwe nga kati ali mu mbeera mbi.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

NEZIKOOKOLIMA

▶️ Abaana abakoze ebibuuzo ...

▶️  NEZIKOOKOLIMA: Abaana abakoze ebibuuzo ebyakamalirizo musigale nga mukyali baana awaka.  

Ssempijja ng'asomesa abalimi.

Okugattika ebirime kye kiku...

MINISITA w'obulimi obulunzi n'obuvubi, Vincent Ssempijja asinzidde mu disitulikiti y'e Bukomansimbi n'ategeeza...

Abakristaayo lwe basabira wabweru ku Ssande.

Obulabirizi bw'e Namirembe ...

OBULABIRIZI bw'e Namirembe buyingidde mu nkaayana z'ettaka ly'ekkanisa e Kyanja n'ebugumya Abakristaayo  okusigala...

Jonathan McKinstry (wakati) ng'abuulirira Khalid Aucho (ku kkono) ne Mike Azira (ku ddyo).

Micheal Azira naye annyuse ...

MICHEAL Azira agucangira mu kiraabu ya New Mexico United yeegasse ku bassita ba Cranes babiri abakannyuka omupiira...

Nyombi ng'alaga olubuto mw'afulumira.

Afulumira mu kapiira alaajanye

OMUVUBUKA ow'emyaka 32 alaajana oluvannyuma ly'okumulongoosa ekyenda n'atawona nga kati yeetaaga obukadde butaano...