TOP

Kuuma olulimi obutatta bufumbo bwo nga tomanyi

Added 6th October 2018

TARAKA kye kifundikwa omusajja ky’asumulula oba ky’aggya ku mukyala we mu bufumbo obuli mu mateeka nga baawukanye.

 Abagole Aminah ne Muhammad Kamoga ku mukolo gwabwe ogw’okwanjula.

Abagole Aminah ne Muhammad Kamoga ku mukolo gwabwe ogw’okwanjula.

Taraka ekolebwa musajja ate ku mukazi kiyitibwa Iddah ekitegeeza okweyambula munno.

Sheikh Sulaiman Gugwa, Imaam ku Masjid Faibah ku Luwum Street annyonnyola ku nsonga eno: Taraka si kiwandiiko ng’abantu abamu bwe bayinza okulowooza, wabula ekyo ky’oyisa ku lulimi ng’okigamba munno, era ensangi zino abafumbo bangi baayawukana dda okusinziira ku mateeka g’Obusiraamu (Sharia).

Sheikh Salim Bbosa, omu ku basseeka abatuula ku kakiiko ka Sharia mu Kampala agamba nti, abantu abamu nga tebategedde basobola okuggyawo obufumbo bwabwe era ebbanga omu ly’amala ng’ayogera eri munne nti, ‘nkukyaaye, ontamye’ n’ebirala ng’ebyo, ‘taraka’ ebeera emaze okunywera.

“Abantu newankubadde si bafumbo mu mateeka, abamu bayinza okukozesa enjogera nga nkugobye, nkukyaaye, ontamye n’ebirala ebyekuusa kw’ekyo era kasita omusajja ebigambo ebyo abiyisa ku lulimi lwe emirundi esatu olwo babeera bamaze okumalawo obufumbo bwabwe,” Sheikh Bbosa bw’annyonnyola.

Taraka si nnungi eri abafumbo kubanga omubaka Muhammad (S.A.W) yagamba mu ku Surat Twalaq aya 1, Allah yategeeza omubaka Muhammad (S.A.W) okugamba abagoberezi be nti bwe mubanga muwadde abakyala bammwe ‘taraka’ mugibawe oluvannyuma lwa ‘Idda’.

Surat Bakara Aya 229, Allah agamba nti, ‘Taraka za mirundi ebiri, omusajja okusigala ne mukyala we mu bulungi era bw’oba omutadde omusajja tokkirizibwa kumuggyako ebyo bye yamuwa.” Mu hadith emu, Omubaka Muhammad (S.A.W) yagamba nti mu byonna bikkirizibwa ‘sharia’ okutaηηana wakati w’abafumbo kye kisinga obukyawe mu maaso ga Allah.

Kino kitegeeza nti, Allah tayagalira ddala bantu baawukana ne bannaabwe era ng’omwami tannasalawo kutalaka mukyala we, kirungi ne basooka batabagana nga babuulirirwa ku nsonga yonna.

Sheikh Bbosa ayongerako nti, ‘sharia’ egamba omwami bw’aba atadde mukyala we, omukyala alina okutuula mu nnyumba okumala emyezi esatu ng’amulabirira nga bwe babadde mu nnyumba mu buli kimu.

Omusajja talina kumufulumya nju okuggyako ng’amukwatidde mu bikolwa ebikyamu ebyesittaza okugeza obwenzi, omu ku bombi eddiini ye okukendeera, empisa z’omuntu okukyuka nga munne takyayinza kuzigumira n’ensonga endala.

OBUKWAKKULIZO BWA TARAKA

1 Omwami alina kumala kwatula emirundi esatu nga bw’abeera atadde mukyala we olwo ne baawukana obutaddiηηana.

2 Ssinga omwami ata mukyala we omulundi ogusoose n’ogwokubiri, aba akyalina ebbeetu okumweddiza mu bbanga ly’okulindirira (Idda) nga terinnaggwaako. Era ssinga ebbanga ly’okulindirira liggwaako, wabula bombi ne basiima baddiηηane ekyo kibakkirizibwa awatali ngassi yonna.

3 Kyokka, ssinga omusajja atalaka mukyala we emirundi esatu olwo aba takyakkirizibwa kumweddiza mu ‘Idda’ era baba tebakyayinza kufumbiriganwa okuggyako ng’omukyala amaze kufumbirwako musajja mulala naye n’amuta mu kyeyagalire.

Mu Surat Bakara aya 230, Allah agamba nti, omusajja bw’awa mukyala we ‘taraka’ omulundi ogwokusatu aba tali ‘halaal’ gy’ali okutuusa ng’afumbiddwa awalala nayo ne bamuta olwo omusajja aba asobola okuddamu okumwogereza era n’omukyala alina okuddamu okusaba ‘amahare’ amapya.

4 Omukyala ali mu kiseera ky’okulindirira nga yalabagana ne bba mu nsonga z’obufumbo aba ateekwa okusooka okutukula entukula ssatu. Okumuta ng’avudde mu nsonga ez’ekikyala n’okukakasa nti tali lubuto.

5 Omukyala awasiddwa kyokka n’ateebwa nga tebannalabagana ne bba kawasa talina ‘Idda’ era waddembe okufumbirirwawo nga baawukanye ne bba.

6 Omukyala afi iriddwaako bba asaanye kumala emyezi ena n’ennaku kkumi olwo n’addamu okufumbirwa.

7 Ssinga omukyala abeera lubuto omusajja n’amutalaka omusajja alina okusigala ng’alabirira omukyala ono ng’ali mu nnyumba eyo yennyini.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oba Daddy Andre ne Nina Roz...

Getwakafuna ge g’omuyimbi ow’erinnya Daddy Andre alabikidde mu bifaananyi ku mukutu gwa Twitter ng’ali n’omuyimbi...

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Omusomesa eyakubiddwa ttiya...

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako...

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...