TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ebyabadde mu lukiiko lwa bambega ku bya Kirumira

Ebyabadde mu lukiiko lwa bambega ku bya Kirumira

Added 7th October 2018

ABASERIKALE mu bitongole by’ebyokwerinda eby’enjawulo bakoonaganidde mu lukiiko lwe baatuuzizza okwekenneenya obujulizi ku bantu abaakwatibwa ku by’okutta Kirumira.

 Kiyemba (mu ssaati emmyuufu) lwe yatwala abaserikale we battira Kirumira (mu katono)

Kiyemba (mu ssaati emmyuufu) lwe yatwala abaserikale we battira Kirumira (mu katono)

Mu wiiki emu baatudde mu nkiiko bbiri ng’olwasoose baalutuuzizza ku Mmande ate olwazzeeko ne balutuuza enkeera ku Lwokubiri. Enkiiko zombi zaatudde ku kitebe kya poliisi e Naggulu.

Mu lukiiko olwasoose temwabaddemu nnyo kaleegabica kubanga ttiimu eyavudde mu kitongole ky’amagye ekikessi (CMI) ye yaweereddwa obudde obusinga okunnyonnyola ebikwata ku bantu omwenda abaakwatiddwa ku by’okutta ASP Muhammad Kirumira.

Mu lukiiko omwo mwe baasaliddewo okutwala Abubaker Kalungi 47, mu kifo we battira Kirumira n’omuwala Resty Naalinya Mbabazi nga September 8, omwaka guno e Bulenga ku luguudo lw’e Mityana.

Bambega bagamba nti Kalungi olumu abadde yeeyita Kabonge ate olulala ne yeeyita Muzamiru Kiyemba.

Mu lukiiko olwokubiri mwe mwabadde okusika omuguwa. Ttiimu ya poliisi yabadde ekulembeddwa akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango mu Kampala n’emiriraano Johnson Olal Dale.

Ensonda zaategeezezza nti olukiiko lwabaddemu ne bambega abaakiikiridde ekitongole ekiketta munda mu ggwanga ekya ISO.

Ensonda mu poliisi zigamba nti okusika omuguwa we kwatandikidde ng’aba CMI mu kulambika obujulizi bwe balina nga bwetooloolera ku bantu babiri:

Kalungi ne Abdul Kateregga ate nga Kateregga yattibwa bwe baali bamukwata mu kiro ky’Olwokutaano lwa wiiki ewedde e Namung’oona.

Awo bambega abamu we baatandikidde okulaga CMI obunafu obuli mu bujulizi bwe balina era ne batandika n’okubabuuza engeri gye baatuuka okutta Kateregga ate nga baali bamaze okukiraba nti yeetaagibwa nnyo mu musango guno.

Omu ku bambega yabuuzizza aba CMI bannyonnyole engeri gye baasobola okukuba Kateregga ebifaananyi ate oluvannyuma ne bamukuba amasasi nga bagamba nti yali adduka!

Yayongedde okubateeka ku nninga bannyonnyole lwaki tebaasooka kutaasa bulamu bwa Kateregga ne balyoka badda mu kwaza, kubanga okufa kwe bambega abamu baakulabye ng’okunafuya obujulizi.

Kateregga bwe baamukuba amasasi n’agwa ku ttaka, abaserikale baamukwata ne bamusitula okumuzza mu maka ge ne batandika okwaza.

Bwe baalaba omusaayi gumuvaamu mungi, ne basaba abaana ne baleeta amasuuka, abaserikale ne bagayuza ne bagasiba Kateregga mu kiwato n’amagulu amasasi we gaamukuba era nti oluvannyuma yabafaako nga bamutwala mu ddwaaliro era omulambo ne bagutwala mu ggwanika e Mulago.

Abooluganda eyo gye baagusanga nga gusaliddwaako n’ebirevu.

Mu lukiiko olwo, we baasaliddewo nti omuntu yekka aliko obujulizi obusobola okusobozesa oludda oluwaabi okumutwala mu kkooti ye Kalungi (Kiyemba) era eno y’ensonga lwaki ku bantu 9 be baakwata, Kalungi yekka ye yasimbiddwa mu kkooti ento e Wakiso ku Lwokuna era omulamuzi Martin Kirya n’amusomera emisango ebiri okuli ogw’okutta Kirumira n’omulala ogw’okutta Naalinya.

AKATTU KU BALALA 8 ABAAKWATIBWA

Abasibe abalala 8 abakuumirwa mu buduukulu obw’enjawulo okuli ne mu makomera g’amagye e Makindye ne Mbuya baabadde baagala batwalibwe mu kkooti, wabula bambega naddala aba poliisi ne bawabula aba CMI nti obujulizi obuli mu fayiro zaabwe tebusobola kwesigamwako kuweereza fayiro ew’omuwaabi wa gavumenti.

Baawadde aba CMI obuvunaanyizibwa okuziba ebituli ebiri mu bujulizi bwa buli muntu eyakwatibwa, balyoke batambuze fayiro.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu ggwanga Patrick Onyango yagambye nti abantu omunaana be balina bakyabanoonyerezaako ku musango gw’okutta Kirumira era abamu baakoze siteetimenti era nti ekiseera bwe kinaaba kituuse baakusimbibwa mu kkooti bavunaanibwe.

Wabula ensonda mu bitongole by’ebyokwerinda zaategeezezza nti aba CMI baabadde bakyali mu kattu kubanga obujulizi bwe balina ku bamu ku bantu abo butambulira ku mugenzi Kateregga.

Bambega abamu baabadde balina n’endowooza nti CMI yaddira buli kintu n’ekissa ku Kateregga kubanga yali amaze okufa nga takyasobola kwerwanako.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...