TOP

Akabenje kasse 2 mu Lubigi

Added 9th October 2018

AKABENJE akalala kasse abantu babiri ku luguudo lwa Northern Bypass okumpi ne Lubigi okuliraana enkulungo y’e Namungoona.

 Wano aba bodaboda nga bazibye ekkubo awaatomerwddwa munnaabwe eggulo.

Wano aba bodaboda nga bazibye ekkubo awaatomerwddwa munnaabwe eggulo.

Bya PATRICK KIBIRANGO
 
AKABENJE akalala kasse abantu babiri ku luguudo lwa Northern Bypass okumpi ne Lubigi okuliraana enkulungo y’e Namungoona.
 
Bodaboda kwe baabadde baatambulira yayingidde mu mipiira gya tuleera era bonna
abaabaddeko ne bababetenta.
 
Akabenje kano kaabaddewo eggulo ku ssaawa 3:00 ez’oku makya bodaboda nnamba UED 360X eyabadde eva e Nansana ng’edda e Kampala bwe yakooneddwaako ginnaayo eyabadde egiva emabega n’eremererwa omugoba waayo n’egwa mu
mipiira gya tuleera 8369AE19.
 
Omugoba wa bodaboda Daniel Kasagga abadde akolera ku siteegi ye Busega ne
gwe yabadde aweeseeko Juliet Nakkazi bombi yababetense kyokka yo tuleerea n’esigala ng’e ekyagenda.
 
Olw’okuba poliisi yaluddewo okutuuka mu kifo kino, abatuuze n’aba bodaboda beekumywemu omuliro ne bateeka amayinja mu kkubo ne baliziba nga bagamba
nti poliisi teyalaze buvunaanyizibwa ate ng’eri kumpi n’awaagudde akabenje ekyaleesewo akalippagano k’ebidduka ku luguudo.
 
Wabula oluvannyuma poliisi yatuuse n’ekkakkanya abantu n’eggyawo emirambo n’egitwala mu ggwanika e Mulago olwo ne babakkakkanya.
 
Yo tuleera eyakoze akabenje kano baagikwatidde ku Kaleerwe era n’ekomezebwawo ku poliisi mu Lubigi w’ekuumirwa n’omugoba waayo Ndungo Kyamubyamo enzaalwa y’e Congo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuzannyi wa Villa (ku kkono) n'owa Busoga United nga bagoba omupiira mu gwa liigi ogusembyeyo. Baagwa maliri, 1-1.

VILLA ETUNUZZA OMUDUMU MU UPDF

Leero (Lwamukaaga) mu Liigi (10:00); SC Villa - UPDF, Bombo Onduparaka - Vipers, Arua KCCA - Kitara, Lugogo Bright...

Cheptegei ng'ajaganya.

Likodi za Cheptegei zimweyi...

ENJOGERA egamba nti ‘Katonda nga yaakuwadde, n'ennume ezaala' etuukira bulungi ku muddusi Joshua Cheptegei. Ye...

Ivana Ashaba (mu maaso), owa Hippos ng'alemesa owa Burkina Faso okutuuka ku mupiira.

Hippos eyiseemu kavvu

ENKAMBI ya ttiimu y’eggwanga ey’abatasussa myaka 20 (Hippos), yeeyongeddemu ebbugumu, FUFA bwe baawadde doola 80,000...

Ttakisi mu paaka enkadde.

'Bbeeyi y'entambula esusse'

ABABAKA ba palamenti bennyamivu olw’ebisale by’entambula ebyeyongera okulinnya buli lukya ekinyigiriza abasaabaze....

Fr. Kabagira ne Fr. Mubiru nga baganzika ekimuli ku ntaana ya Ssaabasumba Joseph Kiwanuka mu Eklezia e Lubaga.

Bajjukidde Ssaabasumba Kiwa...

ABAKKIRIZA bajjukidde Ssaabasumba Joseph Nakabaale Kiwanuka eyafa nga February 22, 1966 n’aziikibwa mu Eklezia...