TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ssewungu ayagala n'abakozi abalala bongezebwe omusaala

Ssewungu ayagala n'abakozi abalala bongezebwe omusaala

Added 9th October 2018

OMUBAKA wa Kalungu West mu palamenti, Joseph Ssewungu, agambye nti waakufuba okulaba ng'alemesa Gavumenti okuteeka mu nkola ekiragiro kya Pulezidenti eky'okwongeza bannassaayansi bokka omusaala kubanga n'abakozi abalala nabo bagasa kye kimu eggwanga.

 Abayizi b’e Bwanda nga balaga Ssewungu (owookubiri ku kkono) engeri gye balokesa emmwaanyi.ro

Abayizi b’e Bwanda nga balaga Ssewungu (owookubiri ku kkono) engeri gye balokesa emmwaanyi.ro

Bya JOHN BOSCO SSERUWU
 
OMUBAKA wa Kalungu West mu palamenti, Joseph Ssewungu, agambye nti waakufuba okulaba ng'alemesa Gavumenti okuteeka mu nkola ekiragiro kya Pulezidenti eky'okwongeza bannassaayansi bokka omusaala kubanga n'abakozi abalala nabo bagasa kye kimu eggwanga.
 
Ssewungu yaweze nti, naddala ku ludda lw'abasomesa naye gy'agwa waakuluma n'ogw’engulu mu kuziyiza be kikwatako baleme kusoosowazaako ba ssaayansi bokka kubanga bonna bakolera wamu okugunjula omwana w'eggwanga.
 
Gye buvuddeko Pulezidenti yalagidde nti bannassaayansi bonna mu ggwanga batandike okusasulwa omusaala oguli ku ddaala ly'ensi yonna, Ssewungu ky'agamba nti takkiriziganya nakyo era waakukunga babaka banne abalala mu palamenti ensonga eno bagisimbire ekkuuli.
 
Yabadde ku ssomero lya St.Theresa Girls SS, e Bwanda mu Kalungu ku gimu ku mikolo egyakulembedde ekijaguzo ky'okuweza emyaka 100 bukya litandikibwawo. Abayizi kwe baayoleserezza obukugu mu kuteeka mu nkola ebintu eby'enjawulo bye bayiga naddala eby'emikono n'obulimi.
 
Omukulu w'essomero, Sr. Juliet Nannyonjo yagambye nti kibanguyiza nnyo obulamu nga bamalirizza emisomo gyabwe.
 
Wabula Sr. Nannyonjo mu bubaka bwe yatisse akulira ebyenjigiriza e Kalungu, David Mukasa Bbaale, yalaze okusoomoozebwa okuva eri Gavumenti obutafaayo kuyamba masomero g'obwannannyini mu bintu ebimu nti wadde nago gawa emisolo. DEO Bbaale yasuubizza obubaka okubutuusa eri abakwatibwako.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Walukagga ne muwala we e Maya.

Omuyimbi Walukagga awonye o...

Omuyimbi Mathias Walukagga alula. Ku Mmande, Walukagga yasiibye ku kitebe kya poliisi e Bukoto ekya Crime Intelligence...

Fr. Mugisha

Faaza w'e Masaka ayongedde ...

FAAZA Richard Mugisha eyagugumbula abanene mu Gavumenti nga bw'awaana Bobi Wine azzeemu okuta akaka n'alabula...

Omubaka Allan Ssewanyana ng'awayaamu ne bannamateeka be.

Omubaka Ssewanyana ayimbuddwa

OMULAMUZI wa kkooti y'e Makindye Jude Okumu ayimbudde omubaka wa Makindye West, Allan Ssewanyana n'abawagizi be...

Omugenzi Takia Namijumbi.

Eyali RDC w'e Mityana afudde

HAJATI Takia Namijumbi eyaliko omubaka wa Pulezidenti (RDC) e Mityana n'e Mpigi afudde enkya ya leero. Waafiiridde...

Omugenzi Omulangira Jjuuko

Eyali ssentebe w'omu Kiseny...

OKUZIIKA kw'Omulangira Jjuuko Mutebi abadde ssentebe wa NRM mu Muzaana zzooni mu Kisenyi mu Kampala era eyaliko...