TOP

Baagala kwezimbira poliisi

Added 9th October 2018

ABATUUZE ku kyaalo Kabaale mu ggombolola y’e Lwamaggwa mu Rakai betaandikiddewo kaweefube w’okuzimba ekitebe kya poliisi mu kitundu kyabwe. Abatuuze bagamba nti kino bakikoze olw’okwagala okukwaa­tizaako Gavumenti okuny­weeza ebyokwerinda mu kitundu kino.

 Gyaviira (ku ddyo) ng’awaayo loole ya sseminti ow’okuzimba poliisi.

Gyaviira (ku ddyo) ng’awaayo loole ya sseminti ow’okuzimba poliisi.

 Bya JOHNBOSCO MULYOWA

ABATUUZE ku kyaalo Kabaale mu ggombolola y’e Lwamaggwa mu Rakai betaandikiddewo kaweefube w’okuzimba ekitebe kya poliisi mu kitundu kyabwe. Abatuuze bagamba nti kino bakikoze olw’okwagala okukwaa­tizaako Gavumenti okuny­weeza ebyokwerinda mu kitundu kino.

Kaweefube ono baamu­taandikidde mu kabuga k’e Kabaale ku luguudo oluva e Rakai okudda e Lyantonde nga basonda ensimbi okwezimbira poliisi.

Ettakka awanazimbibwa poliisi eno lyaweereddwaayo eyali Minisita w’ebyensimbi, Gerald Ssendawula naye omutuuze mu kitundu kino ng’abantu abawerako baawad­deyo obuyambi okwaabadde n’omusuubuzi, Gyaviira Ssem­wanga eyawaddeyo mmotokka ya Semiinti n’ensimbi obu­kadde butaano .

Ssemwanga enzaalwa y’omu kitundu kino, obuyambi buno yabukwaasiza RDC w’e Rakai, Charles Mubiru, Ssentebe wa disitulikiti, Robert Benon Mugabi ne DPC wa Rakai, SP Nuwagaba.

RDC Mubiru yategeezezza nti afuna alipoota eziwerako nga ziraga nti eggombolola y’e Lwamaggwa yesinga okutulu­gunya abaana n’abakazi mu

 maka n’agamba nti bino tebagenda ku biganya.

Yasiimye abatuuze olwokuk­waatizaako Gavt.ku mulimu gwe yandikoze.

Mugabi yategeezezza nti obwetaavu bwa poliisi mu kitundu kino bubadde bwetaagibwa nnyo olwa amakubo ag’enjawulo agayitamu oku­genda mu disitulikiti endala.

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Walukagga ne muwala we e Maya.

Omuyimbi Walukagga awonye o...

Omuyimbi Mathias Walukagga alula. Ku Mmande, Walukagga yasiibye ku kitebe kya poliisi e Bukoto ekya Crime Intelligence...

Fr. Mugisha

Faaza w'e Masaka ayongedde ...

FAAZA Richard Mugisha eyagugumbula abanene mu Gavumenti nga bw'awaana Bobi Wine azzeemu okuta akaka n'alabula...

Omubaka Allan Ssewanyana ng'awayaamu ne bannamateeka be.

Omubaka Ssewanyana ayimbuddwa

OMULAMUZI wa kkooti y'e Makindye Jude Okumu ayimbudde omubaka wa Makindye West, Allan Ssewanyana n'abawagizi be...

Omugenzi Takia Namijumbi.

Eyali RDC w'e Mityana afudde

HAJATI Takia Namijumbi eyaliko omubaka wa Pulezidenti (RDC) e Mityana n'e Mpigi afudde enkya ya leero. Waafiiridde...

Omugenzi Omulangira Jjuuko

Eyali ssentebe w'omu Kiseny...

OKUZIIKA kw'Omulangira Jjuuko Mutebi abadde ssentebe wa NRM mu Muzaana zzooni mu Kisenyi mu Kampala era eyaliko...