TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bakutte owa Flying Squad omulala ku by'okutta Kirumira

Bakutte owa Flying Squad omulala ku by'okutta Kirumira

Added 10th October 2018

OKUKWATA abagambibwa okwenyigira mu lukwe lw’okutta Kirumira kwongedde okugaziwa, bwe bakutte omusajja omulala agambibwa okuba owa Flying Squad nga kiteeberezebwa nti emmundu ye yeemu ku zaakozesebwa mu butemu.

Bamulumiriza nti emmundu eno yagipangisa abatemu ne bamuwa ensimbi era oluvannyuma lw’okumaliriza ‘misoni’ ne bagimuddiza n’agikweka.

Abeebyokwerinda kati bamutaddeko akazito nga bamubuuza kimu: Emmundu eriwa? Godfrey Tamale eyakwatiddwa ayogerwako ng’abadde akolera mu Flying Squad ku mulembe gwa Herbert Muhangi eyali akulira ekitongole kino mu biseera nga Gen. Kale Kayihura ye muduumizi wa poliisi.

Enkyukakyuka bwe zaakolebwa, Tamale y’omu ku baasuulibwa wabula bamulumiriza nti alina emmundu gy’ataawaayo era abadde agyeyambisa mu bumenyi bw’amateeka.

Emmundu eyo yeemu ku ze bateebereza ezaakozeseddwa mu kutemula eyali omuduumizi wa poliisi mu disitulikiti y’e Buyende, ASP Muhammad Kirumira mu kiro ky’Olwomukaaga nga September 8, 2018 ne bamutta n’omuwala gwe yali naye Resty Naalinya Mbabazi e Bulenga ku lw’e Mityana.

Tamale yakwatiddwa okuva mu maka ge e Ndejje okumpi ne Namasuba ku luguudo oluva e Kampala okudda e Ntebe.

Omu ku bali ku kakiiko ka LC I, yagambye nti oluvannyuma abaserikale baamukomezzaawo ku kyalo ng’ali ku mpingu ne baaza ennyumba mw’abadde abeera, naye tebalina kye baggyeemu.

Nti baabadde baaza okulaba oba bazuula emmundu eyogerwako. Mu kumukwata kwabaddeko amagye n’aba Flying Squad.

Amaka w’abeera tegali wala kuva ku maka ga Abubaker Kalungi eyakwatibwa era wiiki ewedde n’asimbibwa mu kkooti e Wakiso ne bamusomera omusango gw’okutta Kirumira n’omulala ogw’okutta Naalinya era n’asindikibwa ku limanda mu kkomera.

TAMALE YAKWATIBWAKO N’AYIMBULWA

Abeebyokwerinda baakizudde nti Tamale yali yakwatibwako n’atwalibwa mu kkomera e Luzira ng’avunaanibwa kubbisa mmundu ya Gavumenti mu kiseera we yabeerera omuserikale wa poliisi ng’akolera wansi wa Flying Squad.

Kigambibwa nti yaggalirwa mu 2013, wabula nti yayambibwako abamu ku baserikale ba Flying Squad ne bamuggya e Luzira mu ngeri erimu ebibuuzo era ne baddamu okukola naye.

Ensonda mu poliisi zaategeezezza nti Tamale bwe yayimbulwa, baserikale banne baatya okumuzza mu Flying Squad mu butongole, wabula kye baakola kwe kumuwandiisa ku lukalala lw’abantu abayambako ekitongole mu bikwekweto eby’enjawulo era ky’ekifo mw’abadde akolera okutuusa enkyukakyuka mu poliisi lwe zaakoleddwa mu May w’omwaka guno.

Baasoose kumusibira Katwe oluvannyuma ne bamuzza ku CPS mu Kampala.

Wabula omu ku baduumira Flying Squad yagambye nti omusajja ono babadde tebamumanyi nga mukozi mu kitongole era bw’aba abadde alina abaserikale b’akolagana nabo babadde bakikola ku lwabwe.

Oluvannyuma ofiisa ono ataayagadde kwatuukirizibwa yajuliza omwogezi wa poliisi nti y’ayinza okulambulula ebisingawo.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano C/ ASP Luke Owoyesigyire yategeezezza Bukedde nti mu kiseera kino si kyangu kukakasa oba Tamale yaliko omuserikale wa Flying Squad kubanga abagikulira abasinga bapya.

N’agattako nti: Tujja kusooka kwebuuza ku kitebe kyaffe ekikulu ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango okuzuula oba Tamale yaliko omuserikale waffe oba nedda.” Bwatyo bwe yategeezezza.

Waliwo owa Flying Squad omulala Deus Byaruhanga eyasooka okukwatibwa ku by’okutta Kirumira era ono baasooka kumusibira Mbuya ne bamuzza e Makindye.

Baamukwata ne C/ASP Ismael Ssennono eyali aduumira ebikwekweto ku poliisi ya Old Kampala.

Ku baakwatibwa kuliko: Ahmed Kamada Sebuufu, ow’e Mutundwe, Amir Musisi Ssentongo ow’e Nabbingo, Ahmada Ssebina 40, ow’e Namungoona, ssaako Mariam Kasujja Nnamwandu wa Kateregga eyattiddwa amagye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Akulira UNEB Dan Odongo.

UNEB be yasunsudde okutegek...

Bya Benjamin Ssebaggala  AKAKIIKO akagaba n'okusunsula abakozi mu minisitule y'ebyenjigiriza (Education Service...

Omusawo ng'agezesa bwe balongoosa.

''Mukebere abalwadde endwad...

AKULIRA eddwaaliro ly’e Mulago, Dr. Byarugaba asabye abasawo abalongoosa endwadde nga kkansa w’omu byenda essira...

Abamu ku baabadde mu lukiiko.

Ababadde basolooza busuulu ...

ABATUUZE beekubidde enduulu mu boobuyiinza babayambe obutatundirwa mu bibanja byabwe okubafuula emmomboze. Kiddiridde...

Omusajja ng'afuuyira mu ntebe z'omutuuze.

Balimwezo ne KCCA baggudde ...

Ekitongole kya KCCA nga bali wamu ne Balimwezo Community Foundation batongozza okufuuyira ebiku n’ebiyenje nnyumba...

Mwanje eyabula.

Omusajja eyabula yeeraliiki...

Ssande Mwanje 37, ow'e Gganda yeeraliikirizza mukyala we Aisha Nakanjako 28. Ono yamulekera abaana bana: omukulu...