TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Msgr. Katende alaze okutya ku ba LDU abatendekebwa

Msgr. Katende alaze okutya ku ba LDU abatendekebwa

Added 10th October 2018

OMUWANDIISI w’essaza lya Kampala yennyamidde ku ba LDU abalondeddwa okukuuma ebyalo n’agamba nti bayinza okutigomya abatuuze.

 Abayizi n’abakulira essomero lya St Joseph of Nazareth nga Msgr. Katende (mu gganduula) abasabira.

Abayizi n’abakulira essomero lya St Joseph of Nazareth nga Msgr. Katende (mu gganduula) abasabira.

Msgs Wynand Katende, alaze okutya nti abavuvabuka abatendekeddwa okukuuma ebyalo (LDU) bayinza okuva ku bigendererwa by’okukuuma abantu ate ne babatigomya olw’engeri embi gye baakuzibwamu.

Bino Msgr Katende abyogeredde ku ssomero lya St. Joseph of Nazareth e Kavule mu mmisa gye yakulembeddemu ng’abasabira abayizi abagenda okukola ebigezo bya S.4 ne S.6 n’alabula abazadde okukuza abaana baabwe mu mpisa.

Abavubuka abataakuzibwa mu ddiini be bafuukidde Pulezidenti ekyambika nga beekalakaasa n’okwonoona ebintu by’abantu.

Abazadde bwe mutaakole buvunaanyizibwa bwammwe mu kukuza abaana n’okubatwala mu masomero g’empisa eggwanga lyaffe ligenda mu katyabaga, bwatyo Msgr. Katende bwe yategeezezza.

Yayongeddeko nti abantu beeraliikirivu kuba LDU abatendekebwa okukuuma ebyalo kubanga tebalina bwesigwa mu bavubuka b’ennaku zino, engeri gye beeyisamu nga kino kivudde ku bazadde abatabakuza bulungi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ab'e Korea batandise kampey...

AB’E Korea bali mu kugaba musaayi okumala ennaku ttaano okutaasa bannaabwe abakwatibwa ekirwadde kya Corona.

Omubaka Amelia Kyambadde nga yeegasse ku batuuze okukola bulungibwansi

Abakulembeze mwongere amaan...

EKIBIINA ky'obwannakyewa kikulembeddemu abatuuze b'e Mpambire ne bakola bulungibwansi omubaka Amelia Kyambadde...

Omugenzi Maj. Gen. Eric Mukasa

Kabaka atenderezza munnamag...

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II akungubagidde omugenzi Maj.Gen. Eric Mukasa gwayogeddeko ng’omu ku bavubuka abazira...

Ebiragiro by'akakiiko k'ama...

EBIRAGIRO by'akakiiko k'amasaza bitemyemu abaddukanya ttiimu ezenjawulo ng'abamu babiwagira ,ate ng'abalala bawera...

Aba akeedi bawanjagidde Gav...

ABAKULEMBEZE ba KACITA balabudde nti bavudde ku nkola y'akakiiko akassibwaawo okulambula akeedi mu Kampala okukakasa...