TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Poliisi ekubye amasasi okugumbulula abaagala okwokya essomero

Poliisi ekubye amasasi okugumbulula abaagala okwokya essomero

Added 10th October 2018

POLIISI ye Matugga ekubye amasasi mu bbanga n’omukka ogubalagala okugumbulula abazadde b’essomero lya Springs of Hope Primary School nga baagala okulyokya nga balumiriza dayirekita waalyo okukuba omuzadde gw’asanze mu kibanja kye.

 Atwala poliisi e Matugga, Kirya ng’ayogera eri abatuuze.

Atwala poliisi e Matugga, Kirya ng’ayogera eri abatuuze.

Dayirekita n’omuzadde balina enkaayana ng’owessomero agamba nti ettaka lirye era omuzadde ali ku kibanja mu bukyamu era ayagala aveewo.

Budallah Hussein 47, y’agambibwa okukubwa dayirekita w’essomero lino, Kassiano Kasiime oluvannyuma ly’okumusanga mu kibanja kye ng’alima.

Abazadde bano nga bakulembeddwaamu, Moses Kiberu baategeezezza nga Kasiime bw’asusse okutulugunya omuzadde ono ng’ate ku ssomero alinako abaana era nti aludde ng’ayagala okutwala ekibanja kye kyokka nga kitaawe kati omugenzi ye yakigula.

Bano bamaze ebbanga nga bakaayanira ettaka lino nga Kasiime ye nnannyini ttaka ate nga ye Hussein ali ku kibanja agamba nti tayinza kukkiriza kugobwa nga taliyiriddwa, Kasiime ky’atakkaanya nakyo.

Ettaka eribakaayanya liwerako yiika ttaano. Hussein yagambye nti yabadde agenze kulima mu kibanja wabula Kasiime bw’amulengedde n’amuwendulira abakozi be ne bamukuba ekitabudde abatuuze n’abazadde ne baagala okwokya essomero nga beekalakaasa.

Embeera bwe yatabuse, Kasiime ne yeesibira mu ofi isi n’akubira poliisi y’e Matugga n’ejja okugumbulula abatuuze.

Abapoliisi baasoose kwogera n’abatuuze okubakkakkanya kyokka bwe beeremye kwe kukuba amasasi mu bbanga ne ttiyaggaasi ne babuna emiwabo.

Hussein agamba nti Kasiime bwe yamuyita okuteesa, yali ayagala ave mu kibanja nga tasasuddwa.

Kasiime yagambye nti ettaka lirye era alina ekyapa ate nga Hussein talina kiwandiiko kyonna kiraga bwe yafuna ekibanja.

Atwala poliisi y’e Matugga, ASP Bright Steven Kirya yasabye abazadde okubeera abakkakkamu nga bakuuma eddembe

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuwala atanneetuuka gwe baafunyisizza olubuto.

Abapoliisi basattira ku by'...

ABASERIKALE ba poliisi mu disitulikiti y’e Hoima babiri basattira olw’okuyimbula omusajja eyafunyisa omwana atanneetuuka...

Pallaso ku poliisi. Pallaso ng’alaga empingu gye yadduse nayo

Pallaso yeetutte ku poliisi...

MZEE Gerald Mayanja, kitaawe w’omuyimbi Pallaso asiitaanidde ku poliisi e Katwe okugikkirizisa okuyimbula mutabaniwe...

Omukazi lwe yeeronda n'atam...

ABASAJJA abamu babeera mu maka nga bali ku maggwa olw’abakazi abeeronda ku buli nsonga. Ab’engeri eno mu kiseera...

Akena ng’alayizibwa ku bwapulezidenti bwa UPC.

Akena alayiziddwa n'awera k...

ABA UPC baayisizza ekiteeso ekikakasa Jimmy Akena ng'omukulembeze wa UPC omuggya ekyongedde okutabula abamuwakanya....

Endabika ya Rema ecamudde a...

BAATANDISE ku Lwakutaano ku Idd, ng'amba abawagizi nga beebuuza engeri sereebu waabwe gy’ajaguzaamu olunaku engeri...