TOP

Enteekateeka z'okuziika Peter Nyombi ziwedde

Added 10th October 2018

ENTEEKATEEKA z’okuziika eyali Ssaabawolereza wa gavumenti, Peter Nyombi kwa nkya e Nakasongola.

 Omugenzi Peter Nyombi

Omugenzi Peter Nyombi

BYA BENJAMIN SSEBAGGALA, ERIA LUYIMBAAZI NE SAMUEL KANYIKE

Olwaleero waliyo okusaba mu Lutikko e Namirembe bwe bavaayo omulambo gutwalibwe mu Palamenti, akawungeezi bagende basule gye bagenda okuziika.

Henry Mayega, muganda w’omugenzi yategeezezza nti enkyukakyuka zino zaakoleddwa olw’entegeka ya Gavumenti okukungubagira Nyombi mu butongole.

Akawungeezi ku Lwokubiri waabaddeyo okusaba mu maka g’omugenzi e Buziga.

Olwaleero okusaba kutandika ku ssaawa 3:00 ku makya e Namirembe, ssaawa 8:00 omulambo bagutwale mu palamenti oluvaayo boolekere Nakasongola.

Abakulembeze mu gavumenti eya wakati ne Mmengo bongedde okukungubagira eyali Ssaabawolereza wa Gavumenti Peter Nyombi eyafudde obulwadde bw’omutima.

Omwami w’essaza ly’e Buluuli, Gerald Kimbugwe Kyanjo, yagambye nti Nyombi alese eddibu ddene mu Buluuli.

Nnamwandu Juliana Kyegimbo Nyombi ng’ali mu maka gaabwe e Buziga, yategeezezza nti bba teyanyiigira Pulezidenti Museveni ng’amuggye mu kifo ekyo mu 2015.

Bannabyabufuzi abalala ng’omubaka omukazi owa Nakasongola mu Palamenti, Margaret Komuhangi yagambye nti Nyombi w’afi iridde abadde mu kuwolereza Baluuli abasoba 2,000 abaagobwa e Lango gavumenti esobole okubaliyirira.

Yannyonnyodde nti mu byobufuzi Nyombi abadde tavvoola bavuganya nabo era nga tayagala ntalo za byabufuzi.

Abadde yawummula ebyobufuzi mu 2015 n’adda mu kulima ng’alina faamu e Nakasongola.

Abadde yasigaza emirimu gye egy’amateeka mu kkampuni ye eya Nyombi and Co. Advocates mw’abadde n’abaana be okuli Patricia Nakyambadde ne Andrew Peter Makanga Kiggyo.

Nyombi yabadde akuηηaanye n’abooluganda mu maka ga muganda we, Henry Mayega e Ntinda ku Ssande, obulwadde gye bwatabukidde ne bamutwala ku SAS Clinic gye yafi iridde.

Nyombi afiiridde ku myaka 64, alese abaana 4 okuli Patricia Nakyambade,Anna Grace Nambaziira, Andrew Peter Makanga ne Solomon Kyeyune.

OKUSOOMOOZEBWA KW’AYISEEMU

Mayega yategeezezza nti muganda we abadde n’obulwadde bwa sukaali n’entunnunsi.

Ekiseera waabeeredde Ssaabawolereza wa Gavumenti ayise mu kusoomoozebwa okwatuusizza Bannamateeka 15 abaakulemberwa, Jude Mbabaali okumutwala mu kibiina ekigatta bannamateeka ekya Uganda Law Society ne bamukubako akalulu okumuggyamu obwesige.

Bano baali bamuvunaana okuwabya pulezidenti bwe yamuwabula okuddamu okulonda Benjamin Odoki ku bwa Ssaabalamuzi n’okuwa pulezidenti Museveni amagezi okulonda Gen. Aronda Nyakayirima ku bwa pulezidenti nga talekulidde mu magye.

Nyombi yadduka mu kkooti okuwakanya okumusindiikiriza era mu 2014, Omulamuzi Stephen Musota n’asazaamu eky’okumugoba ng’agamba nti abaakikola baali tebalina buyinza kukikola.

Okusoomoozebwa okulala yakusanze nga Godfrey Magezi amuwazeewaze okumutwala mu kkooti ya East Africa ng’amulanga kukola mirimu mu ngeri eya gadibe ngalye n’atuusa okubuza ssente obuwumbi 50 n’ebirala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulimu gw'okuddaabiriza Nk...

Abaasomerako ku ssomero lya Nkumba P/S bayingidde omutendera ogw'okusatu mu kuddaabiriza ebizimbe ku ssomero lino...

UGANDA EKWATA KISOOKA MU AF...

OMUWANDIISI w'enkalakkkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dr Diana Atwine abugaanye essanyu oluvanyuma lw'okufuna...

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu