TOP

Lipoota ku nfa ya Kaweesi eruma

Added 11th October 2018

LIPOOTA eyakoleddwa akakiiko akagatta ebitongole bya Poliisi, CMI ne ISO ku kuttibwa kwa Andrew Felix Kaweesi eraze okwewozaako kw’abaserikale ba poliisi 17 abaakwatibwa ku by’okuttibwa kwa Kaweesi, omukuumi we Kenneth Erau ne ddereeva we Godfrey Mambewa.

 Omugenzi Andrew Felix Kaweesi

Omugenzi Andrew Felix Kaweesi

Abaserikale ba poliisi 16 be baakwatibwa n’eyali mukama waabwe, Gen. Kale Kayihura okuweza omuwendo ogwa 17.

Bonna baakola sitetimenti okusinziira ku bujulizi obwali buweereddwa okusinga abajulizi babiri Kiiza Rwogamutyarize ne Frank Difas Nyindo.

Mu October 2017, ISO ne CMI baddamu okukwata abagambibwa okwenyigira mu kutemula Kaweesi.

Mu baakwatibwa, abasinga baserikale ba poliisi. Wadde baabakwata ku misango mirala, kyokka n’okutta Kaweesi bakubateekako.

Abaakwatibwa kuliko; SSP Nixon Agasirwe Karuhanga, Faisal Katende, Abel Tumukunde ate abalala baakwatibwa mwaka guno okuli ACP Herbert Muhangi, SSP Richard Ndaboine, Col. Nduhura Atwooki, SPC Abel Kitagenda, Moses Kasiba, Martin Kimbowa, Judas Tadeo Opendi, IP Peter Ayebare, Lt. Col. Peter Musherure, ASP Patrick Muramira, Wilson Atekateka ne Gen. Kale Kayihura.

Abalala abaggyibwako sitetimenti kuliko SSP Emilian Kayima, CP Frank Mwesigwa ne ASP Joseph Bakaleke.

GEN. KALE KAYIHURA, 64:

Lipoota eraga nti, Kayihura mu kumubuuza ebibuuzo mu maaso ga kkamera ne sitetimenti gye yakola yeegaana ebyokwenyigira mu lukwe n’okutta Kaweesi.

Akakiiko akalondemu aka National Security Council (NSC) baamuteerako akatambi akagambibwa nti mwe yabuuliza Muhangi oba Kaweesi yali attiddwa ne Muhangi n’amuddamu nti ‘ye kiwedde’, Kayihura n’addamu nti ‘weebale nnyo’ Lipoota eraga nti, Kayihura yategeeza akakiiko nti, akatambi kapangirire n’agamba nti ye teyeetabangako mu mboozi eri mu katambi. Agamba nti, amaloboozi magattirire.

Kayihura kigambibwa nti yakkiriza nti ekitundu ku ddoboozi lirabika nga lirye nti kyokka baali bagattiridde gattirire. Kayihura yategeeza akakiiko nti, okuttibwa kwa Kaweesi yakutegeera kuva ku Baroza n’akubira Muhangi.

Yagambye nti, n’eby’eyali omuyambi we Jonathan Baroza okuyoola omusaayi we battira Kaweesi yabitegeera Baroza amaze okumutegeeza nti baali baagala kugutwalira Sheikh omu e Mombasa abayambeko okunoonya abatemu.

Kayihura yamulagira eby’okutwala omusaayi babiveeko bagobe layini ya ssaayansi.

ACP HERBERT MUHANGI, 47:

Muhangi 47, yategeezezza nti nga March 17, 2017 ku makya ng’ali mu maka ge e Kasokoso, yafuna essimu okuva ewa Gen. Kayihura eyali mukama we ebiseera ebyo ng’amutegeeza ku kutemulwa kwa Kaweesi.

Yamulagira okukuhhaanya basajja be batandikirewo okuyigga abatemu.

Muhangi agamba mu lipoota nti, yakwatirawo ekkubo okugenda e Kulambiro we baali battidde Kaweesi gye yasanga Kayihura ng’ali n’abamu ku bajulizi abaali balabye abatemu.

Agattako nti ye, Baroza n’abajulizi babiri n’abaserikale b’ekitongole kya poliisi ekikola ku kukuhhaanya n’okwekenneenya ebizibiti baayambala ebyambalo ebyeru eby’abakuhhaanya obujulizi awaba wazziddwa omusango (SOCO).

Agamba nti kino baakigenderera okubuzaabuza abantu ba bulijjo butamanya bajulizi be baalina.

Lipoota eraga nti, Muhangi yeegaana eby’okwetaba mu lukiiko olwateekateeka okufa kwa Kaweesi ku Kati Kati ku Lugogo ByPass n’abaserikale abalala bwe baakwatibwa n’agamba nti tamanyi na musajja Kiiza Rwogamutyarize.

Agamba nti olukiiko lwe yalimu ku Kati Kati, lwali lw’abaasomerako ku Rukoni Secondary School mpozzi n’enkiiko z’embaga ya CP Frank Mwesigwa.

Lipoota eraga nti takwata nga wadde ku ssimu ya seetirayiti era yeegaanye n’ebyokupangisa pikipiki mu Ndeeba okuzikozesa mu kikwekweto kyonna.

Muhangi era yagambye nti tamanyi wooteeri yonna gye bayita Shellon e Kasubi n’agamba nti tamanyi Rwogamutyarize ne Frank Difas Nyindo.

Ku by’eddoboozi Muhangi yeegaanye n’agamba nti si lirye nti kyokka awuliramu eddoboozi ly’eyali mukama we Kayihura.

SSP NIXON AGASIRWE 47:

Ye yali omuduumizi w’ekitongole kya Special Operations Unit (SOU).

Yagambye nti yatandika okukolagana ne poliisi mu biseera bya Operation Wembley wakati wa 2001 ne 2006.

Mu 2007 yayingira mu poliisi nga SPC oluvannyuma n’akuzibwa ku ddaala lya AIP, emyaka bwe gyayitawo yakuzibwa n’atuuka ku ddaala lya SSP mu 2016 kwali kati.

Agamba nti okufa kwa Kaweesi yakutegeera nga March 17, 2017 ku makya okuva ku ACP Omara gwe yali naye mu kutendekebwa e Bwebajja ku Senior Command and Staff College.

Agamba nti ye ne Ndaboine gwe yali asula naye, baasaba olukusa okuva ew’omutendesi waabwe SSP Barbra Alungat okugenda e Kulambiro gye baasanga boofiisa abalala.

Agasirwe agamba nti nga March 19, 2017 yafuna amawulire okuva ewa musajja we Abdul Ssemujju amanyiddwa nga Minana (yakwatibwa ku misango emirala gy’avunaanibwa ne Agasirwe) ng’amugamba nti amanyi abatemu.

Yamugamba nti amawulire ku batemu alina kugawa Pulezidenti yekka.

Kayihura, Agasirwe ne Minana baasisinkana Pulezidenti mu maka ge e Nakasero, Minana n’ategeeza Pulezidenti nti, Lt. Godfrey Galabuzi Musisi ye yali apanze olukwe lwonna.

Agasirwe mu lipooti yegaana enkolagana yonna ne Rwogamutyarize n’eby’enkiiko zonna Rwogamutyarize z’alumiriza nti yazeetabamu nga bategeka okufa kwa Kaweesi n’agamba nti talina na maka Kololo nga Rwogamutyarize bwalumiriza.

Yagambye nti, ofiisi za SOU zaali Kololo mu November wa 2016 ekitongole ne kiggyibwawo ekizimbe mwe baali bakolera ne kiddizibwa nnannyini kyo n’agamba nti takozesangako ssimu ya seetirayiti wadde alina emu gye yali azuddeko mu bikwekweto by’azze akola.

MARTIN KIMBOWA, 25;

Yagambye nti, Kaweesi lwe yattibwa yalina omulimu ogwali gumuweereddwa ng’agukolako n’omusajja omulala gw’amanyiiko erya Jjajja, mutabani w’omugenzi Kato Zigoti.

Kimbowa agamba nti, nga March 16, 2017, yagenda ne Jajja e Nalufenya bwe baavaayo ne batambula mu bitundu ebiwerako bombi olwamala n’addayo ewuwe e Nabweru gye yali asula ku ssaawa nga 11:00 ez’olweggulo.

Agamba nti bwe yali ewuwe, Jajja yamukubira essimu n’amutegeeza nti waliwo ssente obukadde 20 ze baali babbye ku ddipo e Mubende era yali amwetaaga amuyambeko.

Ku ssaawa 6:00 ez’oku makya nga March 17, 2017 yasimbula ewuwe okugenda e Mubende ne Jajja n batuukayo ku ssaawa 5:00 ez’emisana.

Agamba nti, amawulire g’okuttibwa kwa Kaweesi yagafuna ali mu kkubo agenda Mubende.

Mu budde obwo yali afuna amasimu okuva ewa Sobi ng’amusaba okuva mu poliisi amwegatteko mu ISO bwe kimulema wa kubonaabona ng’abaserikale abalala abaali bakwatiddwa.

Agamba nti, yakwatibwa ISO nga June 4, 2018 ne bamuggalira e Kyengera nti kyokka nga bakyamuggalidde, Rwogamutyarize ne Sobi baamutuukirira ne bamutegeeza nti yeenyigira mu nteekateeka n’okutambulira ku Kaweesi okutuusa lwe baamutta.

Lipoota eraga nti, Sobi yagamba Kimbowa okulumiriza Muhangi ne Kayihura nti be batta Kaweesi bwagaana ekinaamutuukako ajja ku kiraba.

Mbu Sobi yamugamba nti, waliwo ssente obuwumbi 4 Pulezidenti ze yali ataddewo okuzuula abatta Kaweesi. Kimbowa eby’okwenyigira mu kutta Kaweesi abyegaana.

LT. COL. PETER MUSHERURE 43:

Mujaasi wa UPDF akolera mu kitongole ekivunaanyizibwa ku mbeera y’abajaasi mu UPDF.

Yatandika okukola ne poliisi mu 2005 nga Kayihura afuuse omuduumizi waayo. Ye yali avunaanyizibwa ku byokwerinda bya Kayihura.

Agamba nti okumanya Kaweesi yali afuuliddwa omuyambi wa Kayihura.

Agamba nti okufa kwa Kaweesi okukutegeera zaali ssaawa nga 4:00 ez’oku makya. Yali mu maka ge mu Naalya Estates.

Omusajja omu gwe yategeezezza abaakakiiko nti ye Albert, agamba yeyamukubira essimu.

Agamba nti yatandikirawo okukubira abantu be amasimu Musa ne Muko Hassan okulaba oba basobola okubaako we batandikira okuyigga abatemu ne bamutegeeza nti olukwe lw’okutemula Kaweesi baalulukira mu maka ga Sheikh Kalule e Kiwaatule era Agasirwe yalulimu.

Musherure agamba nti Musa ne Muko Hassan baamugamba nti ebisingawo basobola kubigamba Kayihura era n’abakwataganya ne Kayihura nga bayita mu Ambrose Murunga era ye (Musherure) teyamanya bisingawo.

Yeegaanye eby’okutta Kaweesi n’agamba nti ku lumbe teyalinnyayo ne mu kuziika teyaliiyo.

ABEL KITAGENDA;

Wa myaka 35, agamba nti nga March 17, 2017 yafuna essimu okuva ewa AIP Ahimbisibwe nga bamulagira akwatagane naye (Ahimbisibwe) bagende e Kulambiro gye baali battidde Kaweesi wabula teyasobola kulaba Ahimbisibwe era ye talina mulimu gwe yakola we battira Kaweesi.

Agamba nti oluvannyuma yeenyigira mu bikwekweto e Bugiri, Tororo ne Malaba gye baakwatira abamu ku bateeberezebwa okwenyigira mu butemu.

Agamba nti ku biragiro bya Agasirwe yakwata Lt. Galabuzi Musisi.

Yagambye nti, bwe yawulira oluvuuvuumo nti baagala kumukwata olw’okutikka bannansi ba Rwanda ku mpaka ne babazza e Rwanda, n’okufa kwa Kaweesi, yadduka n’agenda e Dubai bwe yakomawo ISO n’emukwata.

Agamba nti mu kaduukulu Rwogamutyarize baamumutwalira mu maaso ge n’amulumiriza nti ye n’abalala beekobaana okutta Kaweesi.

Kitagenda yeegaana okubeerako mu lukiiko lwonna olw’okutta Kaweesi.

Yagambye nti, Rwogamutyarize emabegako yali yabawa amawulire nti waliwo ennyumba e Namugongo gye bakuhhaanyizaamu emmundu n’emmotoka ezizitambuza n’azibalaga nti kyokka bagenda okutuuka ku nnyumba nga waliyo baserikale abakuumi ab’ekitongole kya SWAT bwe baabakwata ne babagamba nti, Rwomugatyarize yeyali abakuhhaanyizza okubaako obubbi bwe bakola e Namugongo.

COL. NDAHURA ATWOOKI 58,

Yagambye nti wiiki nga Kaweesi tannattibwa, yafuna amawulire ku bayeekera ba ADF abaali batandise okwezimba okuliraana ekitebe kya poliisi e Naggulu ne Namugongo.

Yasaba olukusa okuva ewa Kayihura abakwate wabula bwe yayitiramu amyuka omuduumizi wa CMI, Brig. Isoke n’amugamba nti okubakwata kijja kutaataaganya enteekateeka z’okufufuggaza ADF yonna okugisaanyaawo.

Agamba nti, yaddiza Kayihura amawulire n’ayongera amaanyi mu bukessi ku bayeekera nga bwe bagawa aba CMI okukola enteekateeka namutayiika ey’okuzingako ekibondo kyonna.

Ku Lwokusatu nga March 15, 2017 nga bali mu Policy and Advisory Committee (PAC) ku kitebe kya poliisi e Naggulu nga badayirekita b’ebitongole bya poliisi bonna mwebali, yabalabula ku bayeekera n’abasaba banyweze ebyokwerinda byabwe.

Agamba nti kw’olwo, lwe yasimbula okugenda e Masindi okuziika muganda we, Edward Kisembo.

Ku makya ga March 17, 2017 ku mawulire kwe yamanyira okutemulwa kwa Kaweesi era n’asimbulirawo okudda mu Kampala.

Yegaana eby’enkiiko ezapanga okutta Kaweesi n’okwenyigira mu lukwe ne ssente ezigambibwa nti yaziwa Christine Mbabazi eyali muninkini wa Kaweesi.

EMILIAN KAYIMA 44

Agamba nti, nga March 17, 2017, ku ssaawa nga 3:45 ez’oku makya yalaba obubaka ku mukutu ogugatta bannamawulire abasaka ebikwata ku misango ku WhatsApp nga bulaga nti Kaweesi yali atemuddwa.

Agamba nti, yakubira Erau ne Kaweesi ng’essimu zaabwe teziriiko kwe kukubira Mwesigwa n’amukakasa nti yali attiddwa. Agamba nti yasimbulirawo okugenda e Kulambiro okukwanaganya abamawulire.

Yagambye nti tamanyi muntu yenna gwe bayita Frank Difas Nyindo k’ebeere Shellon Hotel e Kasubi.

JOSEPH BAKALEKE:

Yagambye nti okufa kwa Kaweesi yakumanya ku ssaawa 3:00 ez’oku makya ng’ali mu ofiisi ye okuva ku bantu abaali bamukubira amasimu nga bamubuuza.

Yakuba ku ssimu z’abagenzi nga tewali akwata. Yeegaanye Rwomugatyarize n’enkiiko zonna olwa Indigo Club ne Kati Kati.

PATRICK MURAMIRA:

Agamba nti, Kaweesi yali mukwano gwe era yeyali ssentebe w’enkiiko z’embaga ye mu August wa 2015.

Okufa kwe yakumanya okuva ewa Bosco, Crime Preventer n’akubira Agasirwe n’agenda e Kulambiro.

Agamba nti yakwatibwa August 9, 2018 nga Lt. Galabuzi Musisi amulumiriza okwenyigira mu kutta Kaweesi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omutaka Walusimbi alagidde ...

OMUKULU w'ekika ky'effumbe Omutaka Yusuf Mbirozankya Kigumba Walusimbi alagidde olukiiko olufuzi olw'ekika kino...

Henry Ssekyewa eyattiddwa. Mu kifaananyi ekinene y'ennyumba ya Livingstone Zziwa eyasaanyiziddwaawo ng'abatuuze bamulumiriza okuba n'ekkobaane ku kufa kwa Ssekyewa

Bamusse mu bukambwe lwa nka...

ABATUUZE ku kyalo Nakikonge ekisangibwa mu ggombolola y'e Makulubita mu disitulikiti y'e Luweero baguddemu ekyekango...

Minisita Janet Museveni ala...

Minisita w'ebyenjigiriza mu ggwanga Janet Museveni naye atuuse e Makerere University  ku kizimbe ekikuklu ekya...

David Lukyamuzi

Owa KACITA abadde omusaale ...

Abasuubuzi mu Kikuubo baguddemu ekyekango munnaabwe David Lukyamuzi Wangi ate nga mukulembeze mu kibiina kya KACITA...

Nnankulu wa Kampala alaze p...

NANKULU wa Kampala Dorothy Kisaka ayanjulidde Banakampala ebiri muntekateeka ey'emyakka 5 gyasuubira okugoberera...