TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omulamuzi atuuzizza kkooti ekiro ku ttaka ly'ebiggya ebikaayanirwa

Omulamuzi atuuzizza kkooti ekiro ku ttaka ly'ebiggya ebikaayanirwa

Added 12th October 2018

OMUGAGGA w’e Lukaya mu Kalungu, Leonard Makya alumye n’ogwe ngulu obutawa bamulekwa bbeetu okumusuuza ekibanja omuli n’ebiggya by’abantu be.

 Omulamuzi Adyeri ng’aluηηamya abatuuze b’e Kisiiwuula e Lusango mu Bukulula Kalungu ku nkaayana z’ekibanja.

Omulamuzi Adyeri ng’aluηηamya abatuuze b’e Kisiiwuula e Lusango mu Bukulula Kalungu ku nkaayana z’ekibanja.

Mu March wa 2016, omulamuzi, Aisha Nabukeera yawa bawannyondo ba kkooti aba Icon Auctioneers & Court Bailiffs abaakulirwa, Fred Wafula ne bafumuula Ssaalongo Makya ku ttaka lino.

Enkizo yagiwa bamulekwa b’omugenzi, Masuudi Mutanda ng’asaabulula Makya bw’atalina bwannannyini ku ttaka lino eriwezaako yiika ttaano n’obutundu munaana era n’aliddiza bamulekwa ba Masuudi Mutanda abakulirwa Hussein Sseggujja.

Ssaalongo Makya omukinjaagi mu Lukaya yategeezezza nti ekibanja ekimutwalibwako mwe yaziika kitaawe omugenzi Bendicto Sserunkuuma eyakisenga mu 1914 n’abazaaliramu kati ng’emyaka asibye 67.

Omulamuzi, Christopher Tindyebwa Adyeri yatuuzizza kkooti ekiro ku kibanja kino okwekkaanya ebintu ebikiriko ne bannannyini byo. Wadde yabadde tasuubira kusangawo bantu bangi, yabeekanze era ne bamukubira n’emizira ng’atuuka.

Mu baabaddewo ye RDC Hajji Abubaker Lubega Kaddunnabbi n’omumyuka Hajati Sarah Nnanyanzi nabo abaazituulamu ne zitaggwa. Aba LC baakuliddwa owa Lusango LCII, Musa Kintu ng’abantu bazze n’essuubi ly’omulamuzi okutyemula omusango.

“Sizze kusala musango wadde okuguwozesa, awo tetunnatuukawo, wabula nnetuukidde olw’ekiragiro Makya kye yasaba nti abakozesa ekibanja kino bayimirizibwe”, Omulamuzi Adyeri bwe yakabatemye.

Yasomye amannya, Med Nyanzi, Siraje Kabanda, Diriisa Njoki, Naalongo Kaniifa, Juma Kyeyune, Hadijah Nnamiiro, Muky.

Kabejja ne Abdu Karimu nti Makya baavunaana. Agamba nti omusango gw’alina kusalibwa nga Septemba 20, 2018 mu nkizo za Makya kuba abawawaabirwa tebassaamu kwanukula kwabwe.

Yabategeezezza nti nkola ya kkooti mu kiseera kino, obutasalawo nsonga z’ettaka n’ebibanja nga tetuuseeko gye bisangibwa. Ssentebe Musa Kintu yamusabye abatangaaze ku bwannannyini bw’ekibanja obutuufu.

“Ekibanja kiba kikyo ng'okiguze, okisikidde, bakikuwadde oba nga wakyesenzaako nnannyini kyo n’atakufaako nga Ssemateeka wa 1995 y’akikusiηηaanamu ng’okimazeemu emyaka 12 kifuuka kikyo mu tteeka.

Yabeetondedde okutuuza kkooti ekiro naye olw’emirimu okumukwata ate nga tayagala kubayiwa.

Makya yamulambuzza amatongo g’agaali amaka ga bazadde be n’alumiriza bamulekwa okugakoonawo n’amwongerayo ku kiggya awaaziikibwa abafu abangi nga mulimu kitaawe, nnyina ne mukazi we.

Ssaalongo Makya yalumirizza bamulekwa okuziikulawo omufu ne bamutwala gy’atamanyi ng’omusango guli ku poliisi e Lusango.

Abawawaabirwa, Kabanda, Nyanzi baalaze lumonde, ebijanjaalo, muwogo nti bya mukama waabwe Sseggujja nti bo bapakasi be.

Omulamuzi Adyeri yabawadde olwa October 20, 2018 lw’annatyemula ku kiragiro kya kkooti n’abalabula nti ataakigondere waakusibwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...

Abazigu balumbye ekigo ne b...

Abazigu ababadde n'ebijambiya, emitayimbwa saako ennyondo bazinze ekigo kya Kabulamuliro Catholic Parish, ne bamenya...