TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bamugemereire ne Maj. Nakalema bagumizza abaagobwa ku ttaka e Mukono

Bamugemereire ne Maj. Nakalema bagumizza abaagobwa ku ttaka e Mukono

Added 13th October 2018

Akakiiko akakola ku gw’okubuuliriza ku ndoliito z’ettaka mu ggwanga akakulirwa omulamuzi Catherine Bamugemereire ssaako omukozi ku maka g’obwapulezidenti, Maj. Edith Nakalema basambye ensiko nga balambula ebintu by’abantu ebibalirirwamu obuwumbi bw’ensimbi ebyayonoonebwa omugagga Dick Banoba ng’abagoba ab’ebibvanja abakunukkiriza mu 300 ku ttaka lye.

 Kato ng'annyonnyola engeri ennyumba ye n'ebintu gye byayonoonebwamu eri ab'akakiiko.

Kato ng'annyonnyola engeri ennyumba ye n'ebintu gye byayonoonebwamu eri ab'akakiiko.

Okuva mu mwezi gwa May, Banoba nga yeeyambisa abavubuka be yaggyanga mu kibuga Kampala nga babagalidde ebissi omuli amajambiya, embazzi, ensuluulu, emiggo n’ebirala yatandika okulimba abatuuze ku kyalo Kirangira ekisangibwa mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono n’asanyaawo amayumba g’abantu, n’okusaawa emisiri gy’emmere n’agireka ku ttaka.

 Wakati mu maziga n’okwaziirana, abatuuze beekokkola olw’ekikolwa kya Banoba nga n’eby’embi, na buli kati bakyekokkola eky’okuba ng’ate Banoba yali akuumirwa basirikale ba poliisi mu kiseera ekyo abaali baduumirwa eyali akola nga DPC, Henry Abaho.

Abatuuze nga bakulembeddwamu ssentebe w’ekyalo Kirangira, Deogratias Golooba ku Lwokutaano baakedde kwaniriza oluseregende lw’emmotoka z’abakakiiko ssaako Maj. Nakyobe ne babalambuza okutandikira ku malaalo ga bannaabwe abaafa emyaka egisoba ne mu 30 ne babaziika ku ttaka Banoba kwe yabagoba nga tebeesiikidde na kanyeebwa.

Omulamuzi Bamugemereire ng'akwatidde Ssonko akazindaalo ng'ayogera.

Aba’akakiiko era baalambudde amayumba g’abantu agaamenyebwa, ennimiro ezaasaayibwa ssaako ekidiba ky’ebyennyanja Wilberforce Idewa ekibadde kyakonoonebwa abasajja ba Banoba bwe baakizinzeeko ne bata amazzi n’ebyennyanja ne bigenda.

Hosea Ssonko agamba nti akaddiyidde ku ttaka lino nga kati n’amaaso tegakyalaba, kyokka ng’emyaka gye egisinga obungi abadde mu kulwana ku nsonga za ttaka lino okulaba nga tebagobaganyizibwa mu bukyamu yattottoledde ab’akakiiko engeri Banoba gy’azze abatulugunya nga yeeyambisa woofiisi ez’amaanyi n’ebikonge mu gavumenti ssaako abakulu mu bitongole by’eby’okwerinda.

Ssonko yategeezezza nti oluvannyuma lwa Banoba okuvaayo n’abategeeza nti ye yali nnanyini ttaka kwe bali, yagenda okweyanjula gy’ali ng’amutwalidde n’obusuulu kyokka kyokka n’abugaana ng’agamba nti ye yali mugagga ng’ensimbi akyalya na ku za jjajjaawe.

Omulamuzi Bamugemereire n’abakakiko nga balambula ebikande ezaali ennimiro z’abatuuze ezasaayibwa n’emmere n’ebbibwa.

“Okuva kw’olwo azzenga atutulugunya mu ngeri ez’enjawulo ssaako okutusibisa mu makomera nga ne bannaffe nga basatu bafiira mu makomera. Eby’embi Banoba yagenda mu maaso n’okugobaganya ffamire zaabwe nga ne gye buli kati bali mu kubundabunda tebalina we babeera. Twekubidde enduulu mu wofiisi nnyingi naye kati tufunye ku ssuubi bwe tulabye omulamuzi Bamugemereire n’ab’akakiiko ke ssaako Maj. Nakalema, katusuubire nti munaatusangula ku maziga ge tufumbekeddemu emyaka emingi,” SSonko bwe yannyonnyodde.

Ye Umar Ssebuyungo yagambye nti abayaaye Banoba be yakozesa okwonoona ebintu by’abantu bafuuka eky’obulabe eri eby’okwerinda by’ekitundu ne disitulikiti y’e Mukono okutwalira awamu.

Ssebuyungo yagambye nti bano wakati nga bonoona ebintu by’abantu ate bakkakkananga ku baavangayo okutaakiriza ebintu byabwe nga babakuba kye yagambye nti kyali kikolwa kyattima nnyo.

Mu beekokkola Banoba ye DPC w’e Mukono, Rogers Sseguya olw’ensonga nti ye yagaana okumuyamba mu bikolwa eby’okwonoona ebintu by’abantu ng’era bwatyo yakozesa omukisa bwe yali agenze okutendekebwa okumala emyezi 3 olwo ne yeeyambisa eyateekebwa mu woofiisi ng’akola nga DPC Henry Abaho n’amuwa obukuumi n’akola effujjo ku bantu.

Bamugemereire ng'alambula ebimu ku bintu ebyayonoonebwa n'amayumba, ku kkono ye nnyumba ya Kato eyakoonebwa.

Sseguya agamba nti era olwakomawo n’aziyiza Banoba okugenda mu maaso n’okutulugunya abatuuze ng’era kye yakola kwe kutandikanga okwebbirira obwebbirizi nga basajjabe bazinda ennyumba n’ennimiro eby’omutuuze omu ne babyonoona mu kiseera kitono ne badduka nga poliisi w’etuukira nga basanga miranga nga bbo ababikoze badduse dda.

Agamba nti Banoba azzenga amuggulako emisango egy’enjawulo egy’enjawulo mu kakiiko akakwasisa empisa aka poliisi aka Police Standards Unit (PSU) nga mu kiseera kino alina ffayiro 3 ezaamuggulwako nga baamuyise akole ne siteetimenti empya mu fayiro eyaakaggulwawo.

“Oluvannyuma lw’okulaba ng’ensonga z’okwonoona ebintu by’abantu zongera kugenda mu maaso, nayita aduumira poliisi mu Kampala n’emiriraano Moses Kafeero era yalagira wano wateekebwewo abapoliisi abakuuma abantu ekiseera kyonna. Bano weebali bakola kinnawadda era ekyalo mu kadde kano kirina ku buweerero,” Sseguya bwe yannyonnyodde akakiiko mu kafubo ke baabaddemu nga kye baggye batuuke mu Kirangira.

Ono era yagasseeko nti poliisi yakwata abasajja nga 61 abaalina amajambiya nga basaawa emmere y’abantu ne babatwala mu kkooti kyokka bano bateebwa nga tewali wadde okubasindikako mu kkomera.

Emu ku nnyumba ezaayonoonebwa nga ya David Kato.

Wabula mu kwanukula, Bamugemereire yagambye nti nabo ng’abakakiiko ensonga z’okubuuliriza ku ttaka lino tezibabeeredde nnyangu nga bazze babawawaabira mu woofiisi enkulu naye n’agamba nti wadde biri bwebityo, tebayinza kulemererwa kubuuliriza ku nsonga zino.

Ono era yalabudde Banoba okwewala okugenda mu maaso n’okwonoona ebintu by’abantu wadde ng’ate akakiiko k’ayisa ekiragiro ekimuyimiriza okutuuka nga bamaze okunoonyereza.

Bamugemereire yategeezezza nti ssinga anaddamu okuwulira ebikolwa bino ate mu kadde kano, tajja kulonzalonza kulagira akwatibwe aggulweko ogw’okunyomoola ebiragiro by’akakiiko.

Ye Maj. Nakalema yagambye nti oluvannyuma lw’abatuuze omuli ne Ssonko okumukubira essimu nga balaajana olw’embeera Banoba gy’abayisizzaamu, yategeeza Pulezidenti Museveni ku nsonga zaabwe era n’amulagira asabe ab’akakiiko bagendeyo m bwangu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusumba Ndalike

Omusumba avumiridde abeeraguza

OMUSUMBA Stephen Ndalike atwala ettwale ly'e Luzira mu Kkanisa y'Abadiventi avumiridde omuze gw'okweraguza ogweyongedde...

Omulabirizi  Bukomeko (ku ddyo), omulabirizi Wilson Mutebi, Minisita Nabakooba neKatuukiro wa Busoga, Joseph Muvawala.

Dr. Bukomeko ajaguzza omwak...

Omulabirizi wa Mityana, Dr. James Bukomeko alangiridde enkola, ey'okutandikawo ebintu ebivaamu ensimbi n'agamba...

Abakulembeze ba Rwampara ku mukolo.

Balaze ebiyinza okuvaako ab...

AKULIRA ebyenjigiriza mu disitulikiti y'e Rwampara, Muky. Kelen Tukamuhirwe ategeezezza nti ng'abayizi beetegeka...

Kkwiini ow'emyaka 94  ne bba Philip 99.

Ebintu 8 Kkwiini wa Bungere...

KKWIINI Elizabeth yagattibwa n'Omulangira Philip (mu kiseera kino ali ku ndiri mu ddwaaliro) nga November 20, 1947...

Fr. Anthony Kakumba Mwanje mu Mmisa eggulo.

'Mweyambise ekisiibo mudde ...

BWANNAMUKULU w'ekigo ky'e Kitovu  Fr. Anthony Kakumba Mwanje awabudde Abakristu ababadde beesambye Omukama olw'okwetaba...