TOP

Olugero lwa Daudi lulina kye luyigiriza Uganda

Added 14th October 2018

GYE BUVUDDEKO, olukiiko olugatta abakulira Enzikiriza mu Uganda, Mufti Sheikh Shaban Ramathan Mubaje, Ssaabasumba Dr. Cyprian Lwanga, Ssaabalabirizi Rt. Rev. Stanley Ntagali, Presiding Apostle Dr. Joseph Serwadda, Ssaabasumba Yona Lwanga yakiikirirwa, Ssaabasumba Dr. Daniel Matte naye yakiikirirwa, Msgr. Charles Kasibante, Ssentebe w'Akakiiko akafuzi aka IRCU ne Ssaabawandiisi Mw. Joshua Kitakule, twasisinkana Pulezidenti Museveni.

 Dr. Joseph Sserwadda

Dr. Joseph Sserwadda

Ensonga enkulu yali ya nteeseganya ezinaayamba okugatta eggwanga wamu n'embeera y'ebyokwerinda eriwo ensangi zino.

Bannaddiini ensonga zino baazoogerako bulungi ddala eri omukulembeze w'eggwanga era naye yasiima.

Nze bwe nafuna omukisa okwogera, Pulezidenti namujjukiza nti ye y'ensulo y'ekitiibwa mu ggwanga lino.

Noolwekyo ateekeddwa okubaako abantu b'akkiriza okumuwabula ku bikwata ku buvunaanyizibwa bwe obwo.

Mu nsisinkano nga zino Pulezidenti tatera kuseka era abeera ayogera akutunuuliza bumalirivu naye ku luno yamwenyezzanamu!

Najuliza Bayibuli (2 Samwiri 18:1-3), “Daudi yabala abantu be yali nabo, n'alondamu abakulira enkumi n'ebikumi. Ekibinja ekimu yakiteeka wansi wa Yowabu, ekirala wansi wa, Abishai mutabani wa Zeruiah, muganda wa Yowabu. Ekibinja ekirala yakissa mu mikono gya Ittai , Omugittite. Olwo Kabaka n'agamba abantu be nti waakugenda nabo mu lutalo.

Naye ne bamwanukula, 'Tojja naffe kubanga ffe bwe tudduka oba bwe tufa, abalabe baffe tebajja kukifaako, naye ate ggwe omu olimu ffe omutwalo mulamba. Noolwekyo sigala oweereze magezi agatuggya mu kibuga.

Kabaka Daudi (ng'amaliridde ng'abalwanyi bonna na nnamige bwe babeera) yeerema n'agamba nti ajja kugenda mu lutalo!

Ebintu abantu bye baamugamba kata bituukirire, anti ku mulundi guno Kabaka Daudi kata bamutte. 2 Samwiri 21: 15-17.

Abafirisuuti nate baalina olutalo ne Yisirayiri era Kabaka Daudi ng'ali wamu n'abaddu be ne bagenda okubalwanyisa.

Daudi yatandika okuyongobera, era mu kavuyo ako omu ku baana b'Abafirisuuti ayitibwa Ishbibenob, Mutabani wa Goliasi, eyalina effumu erizitowa kumpi laatiri asatu n'alowooza nti asobolera ddala okutta Daudi. Era yafubutuka amulumbe ng’anafuye nagalula amutte!

Naye Abisaai mutabani wa Zeruiah naye n’adduka mbiro era n'amujuna n'atta Omufirisuuti.

Olwo basajja ba Daudi ne bamugamba, 'Tokyaddamu kujja naffe mu lutalo sikulwa ng’ozikiza ettabaaza ya Yisirayiri'.

Kye nnabadde ngezaako okutegeeza kiri nti kya nsonga nnyo singa Pulezidenti agenda okwenoonyeza akalulu akake kubanga ekyo kimukakatako.

Naye kikyamu okugenda okunoonya akalulu akalala, nga kano ak'okuddibwamu nga bwe kyali e Bugiri, Arua n'awalala.

Nga bwe kyali ku Ishbibenob mutabani Wa Nnaggwano Goliasi, eyagenda mu lutalo okuwoolera eggwanga olwa Daudi okutta kitaawe. Bwe kityo n'abazzukulu ba Museveni bajja mu nkung'aana zino nga bamwetegekedde era nga bamweweredde.

Ekigendererwa kyabwe kiba kya kuswaza Pulezidenti, era akalulu bwe kawangulwa ab'oludda oluvuganya, owa NRM oba ekibiina si be baba bawanguddwa wabula Pulezidenti. Era obawulira nga beewaana nga bagamba nti Museveni twamukubye engwala!

N'obuwombeefu nkusaba ow’ekitiibwa, toddamu kwenyigira mu kalulu k'okuddibwamu nate. Ojja kuzikiza ettaala ya Uganda!

Nga mmaliriza, nsaba nti ekiseera wonna bw'aliba alowoozezza ku ky'okuwummula, Pulezidenti Museveni era alowooze ku ky'okwewaayo okuyamba n'okuwa abalala amagezi afuuke omuwabuzi omukulu ku byobufuzi bya Uganda ne Africa!

Mu ngeri eyo ettaala ya Uganda ejja kuba ekuumiddwa era ejja kusigala ng'eyaka. Eya Kabaka Daudi ne kaakano tezikiranga!

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ntambi ng'atwalibwa mu kkomera e Luzira.

Sylvia Ntambi owa Equal Opp...

Omulamuzi Pamela Lamunu  owa kkooti ewozesa abalyake n'abakenuzi e Kololo  asindise Muweebwa mu kkomera bwalemeddwa...

Kalenda okuli ebifaananyi bya Yiga

Olumbe lwa Pasita Yiga balu...

Mu lumbe lwa pasita Yiga abatunda eby'okulya, masiki n'abatunda t-shirt okuli ekifaananyi ky'omugenzi bali mu keetalo...

Kaadi y'embaga ya Ramond ne Joy.

Abadde agenda okukuba embag...

Kigambibwa nti omugenzi baamuddusizza mu ddwaaliro Iya IHK abasawo gye bakizuulidde nti omusaayi gubadde gumaze...

Paasita Yiga ng'ali n'abagoberezi be

Ebintu by'azze apanga okufu...

OMU ku baali abakubi b’endongo mu Revival Band yagambye nti, yagyegattako mu 2014 kyokka nga baalina ekizibu ky’okuba...

Pasita Yiga ng’abuulira enjiri.

Engeri Yiga gye yeeyubula o...

AUGUSTINE Yiga ‘Abizzaayo', yazaalibwa mu maka maavu, n'alaba embaawo nnya zokka, tebyamulobera kwetetenkanya kufuuka...