TOP

Omujaasi eyasse abantu ebibye bibi

Added 15th October 2018

Omujaasi eyasse abantu ebibye bibi

 Innocent Habomulemi amasasi gaamukutte omukono ne ku kugulu. Wano yabadde mu ddwaaliro e Mulago eggulo.

Innocent Habomulemi amasasi gaamukutte omukono ne ku kugulu. Wano yabadde mu ddwaaliro e Mulago eggulo.

AMAGYE gakyayigga omujaasi Denis Okello ali ku ddaala lya Lance Corporal eyatolose mu nkambi e Bombo n’emmundu n’akuba amasasi mu bantu ku kyalo Kitungwa be yabadde akanda okumuwa ssente.

0Yattiddewo omu ate abalala babiri ne bagendera ku bisago. Yakubye amasasi agasukka mu 10 bwe yamaze n’aggyamu ebyambalo n’emmundu n’abisuulawo n’adduka.

Okello yadduse mu nkambi y’e Bombo ennaku nnya emabega, bajaasi banne ne bagezaako okumugoba bamukwate bamuzze mu nkambi n’abatiisa okubakuba amasasi n’ababulirako mu kitoogo emmanju w’enkambi.

Okuva lwe yabula, banne ne bakama be babadde tebaddangamu kumuwuliza okutuusa lwe yalumbye abatuuze b’e Kitungwa ku Lwokutaano ekiro. Atwala poliisi y’e Matugga Bright Stephen Kirya yagambye nti, Okello ku Lwokutaano ekiro, yavudde gy’abadde yeekukumye n’atandika okukola effujjo ku kyalo.

Yasookedde ku dduuka lya Yunusu Zaalimbiko. Ssaawa zaabadde nga 5:00 ez’ekiro ekikeesa Olwomukaaga Okello we yalumbidde Zaalimbiko ne mukyala we mu dduuka ng’omwami asiika muwogo.

Okello yasoose kukuba masasi mu bbanga agamu ne gakwata omuti ekyaddiridde kusaba bamuwe ssente zonna ze baabadde bakoze bwe baba baagala obulamu. Zaalimbiko agamba nti, yakutte ssente zonna n’azimuwa. Bwe yavudde awo, n’alumba abaabadde mu kibanda kya firimu n’alagira buli eyabaddemu okumuwa buli ky’alina. Abantu olwalabye emmundu buli omu n’anoonya w’ayita okutaasa obulamu.

Bwe yalabye badduka kwe kusumulula ebyasi ne bikwatako abantu babiri Dan Mwesigwa 16, ne Innocent Habomulemi ne batwalibwa mu ddwaaliro e Mulago ng’embeera mbi. Yatambudde nga bw’akuba amasasi mu bbanga okutuusa lwe yagudde ku muvuzi wa bodaboda eyabadde annyuka ng’adda awaka Godfrey Kirumira.

Abatuuze abaawulidde ebyabaddewo ng’asisinkanye Kirumira baagambye nti, yamugambye nti “ku bulamu ne ssente oyagalako ki” Kirumira n’amuddamu nti bulamu, omujaasi kwe kumulagira amuwe ssente zonna ze yabadde nazo naye kye yakoze. Kyokka olwabadde okumukuba omugongo n’amukuba amasasi agaamuttiddewo.

Amyuka omwogezi wa UPDF, Lt. Col. Deo Akiiki yagambye nti, n’okutuusa kati tebannamanya wa Okello gye yaddukidde wabula basindise abakugu mu kuyigga abantu abali mu mbeera ng’eya Okello okumuzza mu nkambi avunaanibwe.

Yagasseeko nti, tebamumanyiiko mbeera yonna ya butabufu bwa mutwe kyokka n’agamba nti tomanya omuntu ekintu kiyinza okumutuukako essaawa yonna. Yasabye abantu bonna abamulabyeko okutegeeza aboobuyinza.

EMMUNDU BAGIZUDDE Oluvannyuma lw’okutta Kirumira, abatuuze baakubidde poliisi essimu kyokka we yatuukidde Okello yabadde amazeemu omusubi.

Nga bakyekebejja omulambo gwa Kirumira, waliwo omusajja eyabadde awejjawejja eyabatuukiridde n’abategeeza nti omujaasi yabadde amusonzeemu emmundu n’abalagirira gye yabadde akutte.

Mu kumuwondera, baamubuliddwa kyokka ne bazuula emmundu ekika kya AK47 ne magaziini z’amasasi ssatu ne yunifoomu y’amagye gye yabaddemu. Abatuuze nga bakulembeddwaamu Keneth Muwonge bagambye nti obubbi obw’emmundu buyitiridde mu kitundu kino nga kino kivudde ku bantu abalina emmundu ate okutigomya abatuuze. Mu bbanga lya mwezi gumu, eno mu byalo ababbi b’emmundu baabadde baakajjayo emirundi ebiri nga guno gwakusatu.

Ssentebe w’e Gombe, Haruna Kamya awanjagidde gavumenti okukangavvula abantu abatta bannaabwe nga baweebwa ebibonerezo ebikakali kubanga balumya abantu ne babasiba akaseera katono ne bayimbulwa.

FAMIRE YA KIRUMIRA ELAAJANYE Magret Nakku nnyina wa Kirumira eyattiddwa yagambye nti, mutabani we abadde alina obuvunaanyizibwa okuli okubalabirira n’okuweerera abaana be basatu, kati basigadde tebaliiko mwasirizi.

Yasabye Gavumenti okubadduukirira kubanga eyasse omuntu waabwe, mujaasi wa Gavumenti. Nakku yagambye nti, abaana ba Kirumira bonna basoma, kati tebasigazza agenda kubaweerera.

Kirumira alese abaana basatu okuli Ldyia Nabisere, Kevin Kakande 4, ne Esther Najjingo. Alese nnamwandu Phiona Nakaayi.

ABAJAASI ABASSE ABANTU l July 15, 2018: Omujaasi Bernard Okumu mu nkambi ye Kakiri yatta mukazi we Annet Kabirungi 35, oluvannyuma lw’okufuna obutakkaanya n’anobera mu bazadde be e Kabale. Bwe yakomawo yamutemaatema.

l June 16, 2016: Sgt. Isaac Obua owa UPDF mu nkambi e Makindye yatta abantu musanvu omwali n’abaana. Oluvannyuma baamutta.

l July 7, 2016: Omuserikale L/C Joseph Ariona yakuba banne babiri amasasi agaabattirawo n’abulawo n’emmundu. Be yatta kwaliko Bangirana ne Kabugo.Yabattira mu nkambi y’amagye e Kasajjagirwa e Katwe - Butego mu Masaka.

l December 10, 2012: Herbert Rwakihembo 31, eyali yaakava e Somalia yatta abantu basatu e Luzira okwali mukyala we Irene Namayumba Nakibirango, Zaina Nassolo ne Loyce Kawendebe. Yasibwa emyaka 30. l May 16, 2010: Alex Kityo okuva mu CMI yatta omukazi Justine Kimutaye 28 eyali atendekebwa obwapoliisi e Kibuli. Kigambibwa omujaasi ono yali agenderedde kutta mukazi we Irene Kyemusato.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu

Namasole wa Ssekabaka Mwang...

OLWALEERO Mariam Nampewo omusika wa Majeeri Lunkuse Namasole wa Mwanga II lwe bamuyingizza mu Lubiri lwe e Mpererwe...

Poliisi erung'amizza ku bib...

OMWOGEZI wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategeezezza nti poliisi ssi yaakukoma kuvunaana bantu abazzizza obusango...