TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Aba famire y'omukyala eyattiddwa omulambo gwe ne gusuulibwa mu nnimiro bawadde ekiragiro

Aba famire y'omukyala eyattiddwa omulambo gwe ne gusuulibwa mu nnimiro bawadde ekiragiro

Added 15th October 2018

Aba famire y'omukyala eyattiddwa omulambo gwe ne gusuulibwa mu nnimiro bawadde ekiragiro

 Abantu mu kuziika Zalwango.

Abantu mu kuziika Zalwango.

ABAKUNGUBAZI abaagenze okuziika Barbra Zalwango abadde omukozi wa bbanka ya UBA eyafudde omulambo gwe ne gusangibwa mu nnimiro okumpi n’ekiggya basabye Poliisi okunoonyereza ng’etandikira ku mulimu gy’abadde akolera.

Poliisi yatandise okunoonyereza ku bigambibwa nti abasse Zalwango baamuwadde butwa obukambwe nga bagenderera n’okusaanyawo ebimu ku bitundu bye eby’omubiri. Wadde poliisi yabaddizza omulambo okuguziika, we bwazibidde eggulo ng’abooluganda tennabawa byavudde mu kukebera mulambo gwa Zalwango.

Mu kuziika ku Lwomukaaga, abakungubazi baanyiize olw’okusoma obubaka ng’obw’ababadde bakama be mu bbanka tebusomebwa. Aba bbanka baatuuse kikeerezi nga bagenze n’emagombe.

Kyategeezeddwa nti yadde aba bbanka tebaatuuse mu budde ne balemererwa n’okussa ekimuli ku ssanduuke y’abadde omukozi waabwe okumala emyaka 10, be baakoze ku by’entaana ne ssanduuke. Ekyayongedde okwewuunyisa abakungubazi, kwe kuba ng’aba minisitule y’ebyamazzi n’obutonde bw’ensi gye yamala omwaka gumu ng’atendekebwa bwe yali akyasoma ( Internship) baabaddewo era obubaka bwabwe ne busomwa era ne bassa n’ekimuli ku ssanduuko.

Jjajja w’omugenzi, OmulangiraJohn Chwa Nabakka okuziika nga kuwedde bwe yabuuziddwa lwaki ebintu byabadde bwe bityo, yagambye nti naye yalabidde awo. Wakati mu kwemulugunya, Rev. Ssebuko Erifaazi Bwabye ow’’e Mulajje eyakulembedde emikolo gy’okuziika yasabye Gavumenti okulwanyisa ebikolwa by’ettemuebitadde eggwanga ku bunkenke.

Omulambo gwa Zalwango gw’asangibwa gusuuliddwa okumpi n’ekiggya kya ba jjajjaabe e Katwe mu ggombolola y’e Nakisunga mu Disitulikiti y’e Mukono. Kino kyaddirira Zalwango okuva awaka e Lunnyo e Ntebe gye yaleka bba n’abaana ku Ssande ewedde ng’abategeezezza nga bwe yali agenda e Kakiri ku ffaamu y’emiti. Abooluganda bagamba nti bwe baddamu okumukubira essimu nga wayise eiseera, teyariiko. Poliisi bwe yatandika okunoonya n’abekika ne bba nga talabika baasalawo okugenda e Katwe.

Wabula ku Lwokuna omulambo gwa Zalwango gwasangiddwa mu nnimiro, era omutuuze eyali agenda okulima yalaba embwa eriko ky’esikaasikanya n’alowooza nti zaali zirya mbizzi ye eyali emaze ennaku ng’ebuze. Bwe yeetegereza nga zaali ku muntu n’ategeeza banne ne bagwa ku mulambo.

Poliisi okuva e Nkokonjeru Kisoga ne Lugazi yaggyawo omulambo ne gutwalibwa mu ddwaaliro e Kawolo abasawo ne bagwekebejja ne bafulumya lipooti nti yafa butwa era ne baguzzaayo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nuwashaba (ku kkono) lwe baamultwala ku kkooti okukola siteetimenti. Ku ddyo ye mwana Kyamagero eyattiddwa

Nuwashaba alaze bwe yafuna ...

OMUSAJJA gwe baakutte n’omutwe ku Palamenti ayogedde engeri gye yaweebwa ddiiru y’okusala omutwe gw’omwana n’alumiriza...

Nagirinya eyattibwa

Nagirinya: Ffayiro ye efuus...

OMULIRO ogwayokezza ofiisi y’akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango e Katwe, gukyatabudde abantu olw’engeri...

Nagirinya: Ffayiro ye efuus...

OMULIRO ogwayokezza ofiisi y’akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango e Katwe, gukyatabudde abantu olw’engeri...

Katikkiro, Charles Peter Mayiga ng’aliko by’ayogera ne Emmanuel Katongole mu kusabira Kitaka e Lubaga.

Kabaka atenderezza emirimu ...

SSAABASAJJA Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi atenderezza emirimu egikoleddwa Francis Xavier Kitaka eyafa...

Kyagulanyi ne Kibalama lwe baatongoza ekibiina kya NUP.

Bwino omulala ayiise ku bya...

BWINO omulala ayiise ng’abaali bakulira ekibiina kya NUP okuli eyali Pulezidenti waakyo, Moses Nkonge Kibalama...