TOP

Ab'e Kalungu bawabuddwa ku mirimu gy'emikono

Added 15th October 2018

Ab'e Kalungu bawabuddwa ku mirimu gy'emikono

ABAZADDE mu Kalungu bawabuddwa obutanyoomerera misomo gya byamikono kubaga gyanguyiza omuyizi okufuluma ng’alina obusobozi obwetandikirawo omulimu ogugwe.

N’abalina abaana abayambibwako abavujjirizi basabiddwa obuteetundako bintu bibaweebwa wabula babyeyambise olw’okukyusa obulamu bwabwe okwegobako obwavu. Amagezi gano gabaweereddwa aboogezi abaasibiridde entanda abayizi abaatikkiddwa n’okukwasibwa ebikozesebwa mu by’emikono.

Mu byabakwasiddwa mwabaddemu ebyalaani, ebyasaluuni n’ebyuma ebikozesebwa mu kukanika n’okubajja.

Byasakiddwa ekitongole ky’obwannakyewa ekya Uganda Eyenkya ekikulirwa Henry Paulo Miyingo ng’omukolo gwabadde ku ofiisi zaakyo e Kyamuliibwa mu Kalungu. Entanda yabasibiriddwa abavujjirizi, Alice Busingye ku lwa Rakai Health Services ne Rashid Bunya owa HRF n’abeebyenjigiriza David Bbaale Mukasa ne Heziron Kayinga n’abalala.

Ssentebe wa LCIII e Kyamuliibwa Erinest Munene yakkaatirizza nti wadde diguli zeetaagisa naye ebyemikono bikendeeza ku bbula ly’emirimu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...

Abazigu balumbye ekigo ne b...

Abazigu ababadde n'ebijambiya, emitayimbwa saako ennyondo bazinze ekigo kya Kabulamuliro Catholic Parish, ne bamenya...