TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Minisita alabudde abayizi mu matendekero g'ebyemikono

Minisita alabudde abayizi mu matendekero g'ebyemikono

Added 15th October 2018

Minisita alabudde abayizi mu matendekero g’ebyemikono

MINISITA w’ebyenjigiriza mu matendekero ga waggulu alaze obwennyamivu olw’abayizi mu matendekero g’ebyemikono abamu okubeera abagayaavu ne kibaviirako okugwa ebigezo abamu n’obutamalaako kkoosi.

Minisita JC Muyingo eyakiikiridde minisita w’ebyenjigiriza n’emizannyo Janet Museveni, ku mukolo gw’okufulumya ebyavudde mu bigezo by’abayizi mu matendekro gy’emikono n’omutwe abaatuula mu May/June, ku kitebe ky’ekitongole ky’ebigezo by’amatendekero gano eya Uganda Business and Technical Examination Board (UBTEB) e Ntinda yasabye abayizi emisomo okugikwasa amaanyi kubanga bwe babigwa oba ne batamalaako, battattana ebiseera byabwe eby’omu maaso.

Mu kufulumya ebyavudde mu bigezo, Onesmus Oyesigye omuwandiisi wa UBTEB, yagambye nti abayizi 491 ku bayizi 7,588 abeewandiisa okukola ebigezo tebaalabikako. Ate abayizi 2,037 balina okuddamu okusobola okutuukana n’obukugu obwetaagibwa.

Dr. Muyingo yalaze essanyu olw’abayizi abawala okweyongera mu masomo gy’ebyekikugu omuli okutambuza amazzi, okubajja, okuzimba n’ebirala ng’agamba nti kino kyakwongera okutwala eggwanga mu maaso n’okuzimba omwana omuwala n’abakyala okutwaliza awamu.

Abayizi abaatudde ebigezo beeyongedde okuva ku 6,730 mu 2017 okutuuka ku 7,588 mu 2018. Ku bano abayizi 5,060 be baafunye obukugu obwetaagisa Ku bayizi abo ebigezo by’abayizi 26 bye byasaziddwaamu lwa kwenyigira mu bubbi bw’ebigezo.

Dr. Muyingo yalabudde abayizi, abasomesa, abazadde n’abantu bonna obuteenyigira mu bubbi bwa bigezo naddala mu kiseera kino ng’abayizi ba P7, S4 ne S6 bagenda okukola ebigezo byabwe eby’akamalirizo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abakungu mu kibiina kya Gen.Muntu nga baslaa Cake okwaniriza Winnie Kiiza

Winnie Kiiza yegasse ku kib...

OMUBAKA omukyala owa Kasese, Winfred Kiiza yegaasse ku kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) n’aweza...

Bannayuganda muve mu tulo -...

PULEZIDENTI Museveni akunze Bannayuganda okuva mu ttulo bataandike okusala amagezi g’okunoonya obuggagga n’asaba...

Gavana Mutebile

COVID19 ayigirizza Bannayug...

GAVANA wa bbanka enkulu Tumusiime Mutebile agambye nti Bannayuganda bagenda kukendeeza ku kumala gasasaanya nsimbi...

Nunda yeesize Katonda ku ky...

JACKSON Nunda olukutudde ddiiru ne URA FC n’asuubiza okuddamu okwaka nga bwe yali nga tannafuna buvune mu KCCA...

Golola

Golola alidde ogwa Tooro Un...

OMUTENDESI Edward Golola olumuwadde omulimu gwa Tooro United FC n’akomyawo banne bwe baawangula ekikopo ky’Essaza...