TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kadaga asabye ababaka okukola amateeka agakuuma abali ku kyeyo

Kadaga asabye ababaka okukola amateeka agakuuma abali ku kyeyo

Added 16th October 2018

Kadaga asabye ababaka okukola amateeka agakuuma abali ku kyeyo

SIPIIKA Rebecca Kadaga asabye ababaka ba palamenti  mu nsi yonna okukola amateeka agakuuma abakazi abava mu mawanga gaabwe ne bagenda okusenga mu malala olw’ensonga ezitali zimu omuli eby’obufuzi , okukuba ekyeyo n’endala.

Kadaga agamba nti abakazi abo olumu batulugunyizibwa mu mawanga gye baba bagenze okugeza abakolera mu maka g’abantu batulugunyizibwa olumu kyokka nga batya okwogera olw’okuba baba bagwiira mu mawanga ago.

Bino webigyidde nga waliwo okwemulugunya okuva mu Bannayuganda abakolera ebweru naddala abakola obwa ‘hawusi gaalo’ mu mawanga g’e Buwarabu nga bagamba nti batulugunyizibwa .

Kadaga bino yabyogeredde  mu lukung’ana lw’ababaka ba palamenti abakyala abava mu kibiina ekigatta palamenti mu nsi yonna ekya ‘Inter parliamentary Union’  olwatudde e Geneva  mu Switzeland.

Kadaga yagambye nti palamenti esobola okukola ekisoboka okulaba ng’ekola amateeka agakuuma eddembe ly’obuntu  naddala ery’abo abava mu mawanga gye bazaalibwa ne bagenda mu malala olw’ensonga ezitali zimu.

Yagambye nti palamenti z’amawanga agatali gamu zisaanidde okukolaganira awamu okulaba ng’eddembe ly’abantu abatambula okuva mu ggwanga erimu okudda mu ddala terityoboolebwa.


Kadaga yagambye Uganda erimu abanoonyi b’obubudamu bangi era yassa emikono ku mateeka agakuuma eddembe lyabwe. Uganda yakikiriddwa ababaka okuli  Osoru Mourine (Arua munisipaali) Sebaggala Abdulatif (Kawempe  North), Kabagyeni Rose (Kisoro ) ne Anyakun Esther (Nakapiripirit ). Abalala kuliko  Akamba Paul (Busiki)  ne Mwijukye Francis 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Loodi Meeya Erias Lukwago ngakyazizza dayirekita wa Kampala omuggya, Dorothy Kisaka

Loodi meeya akyazzizza dayi...

  Ababiri basoose mu kafubo mu ofiisi za Loodi Meeya okumala essaawa bbiri nga bateesa. Lukwago yamwanjulidde...

Gav't etandise okugabira Ba...

GAVUMENTI etandise okugabira Bannakampala masiki eziyamba okutangira ssenyiga omukambwe kyokka abamu ku ba LC abaazikwasiddwa...

Kazinda ng'aleeteddwa mu kkooti

Kazinda ayolekedde okuyimbu...

EYALI omubalirizi omukulu mu ofiisi ya Katikkiro wa Uganda Geoffrey Kazinda ayolekedde okuyimbulwa mu kkomera e...

Kitatta ng'ali mu kaguli ka kkooti

Abudallah Kitatta ayimbuddw...

Hajji Abudallah Kitatta eyali omuyima wa bodaboda 2010 ayimbuddwa okuva mu kkomera gy'amaze emyaka 3.

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...