
Kalittunsi wa lemon nga muto.
MU mboozi ez’enjawulo ze tufulumya, nzize nkulaga ebintu eby’enjawulo by’osobola okusimba n’ofunamu ssente ng’enkuba ekyatonnya. Leero ka nkuzigirire ku kalittunsi wa ‘Lemon’, ataliibwa nkuyege era ono yasimbibwa nnyo e Bunyoro.
Ekimu ku bifuula kalittunsi ono ow’enjawulo, mu butonde bwe mu kifo ky’okubeera n’amasanda agoonoona obutonde, Katonda yamuwa akawoowo k’enniimu akagoba enkuyege ate nga tekalina bulabe eri butonde.
Abangereza bwe baali bava e Bunyoro baasala kalittunsi ne bamutwala ewaabwe, era embaawo ze baggyamu ezimu baazikozesa mu kuzimba entindo n’ezimu ku ntebe eziri mu Palamenti yaabwe. Kalittunsi ono Abangereza baali bamulabyeko mu Australia, era e Bunyoro si be baamuleeta wabula baamusanga yasimbwayo.
Kalittunsi ono alina akawoowo k’enniimu, talina masanda goonoona ttaka nga bw’olaba ku kalittunsi owaabulijjo. Era osobola okumusimba n’oteeraliikirira nkuyege.
Akula mangu, avaamu ebintu ebirina emigaso egy’enjawulo.
Ebikoola osobola okukolamu obuwoowo.
Ebibajjo osobola okukolamu eddagala ly’ekifuba ate amatabi okolamu amanda aganuuna obutwa mu mubiri. l Ekitegeeza kalittunsi osobola okumulima n’akuyamba mu bulamu n’okukola ssente. Mu yiika weetaaga endokwa 100.
Togenda kukozesa bigimusa ku bantu.
Amajaani agava mu kalittunsi gayamba ku bantu abafuluuta olw’okwoza ekiwanga.
Kalittunsi agoba ensiri, era bw’oba omusimbye awaka omusujja obeera ogukendeezezza.
Osobola okumukozesa okunaaza ensolo zo awaka okuli embwa, kkapa n’endala obutafuna lusu.
Osobola okumukozesa mu kwoza ebiyigo, ekiyamba okutta obuwuka mu kaabuyonjo abantu ne batafuna yinfekisoni.
Wabula ku myaka musanvu, ojja kuba omusalamu embaawo ate ku myaka ena aba asobola okukuwa enku.
Amakoola gasobola okukuwa evvu ly’osobola okukozesa mu kukuuma ennyaanya ne zitavunda mangu ng’omaze okuzinoga. Tujja kwongera okusomesa ku ‘kalittunsi wa Lemon’ mu musomo gwa ‘The Great Sundowner’ nga November 01, 2018 ku wooteeri ya Equatorial mu Kampala.
Tujja kusomesa n’ebintu ebirala okuli okulima flax, okukola ennyama okuva mu ffene, emirimu gy’oyinza okukolera awaka n’ofuna ssente, okugatta omutindo ku masanda ga payini n’ebirala.
Omukenkufu asangibwa ku Equatorial Mall, edduuka nnamba 152 mu Kampala. Mufune ku 0702061652 / 0779519652. ate tayonoona ttaka.
Ku mwaka gumu otandika okumunogako amakoola. Buli kkiro ngigula 300/- ne nkamulamu obuwoowo. Bw’oba oyagadde nsobola okukusomesa bw’oyinza okubukamulamu era nabwo ne mbugula.
Osobola okumusimba ebbali w’ennimiro n’akola ng’olukomera. Mu mbeera eno akuyamba okugoba enkima olw’akawoowo akamuvaamu akazikoloza ate tekalina bulabe